LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 38
  • Siima Ekirabo eky’Obulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Siima Ekirabo eky’Obulamu
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Bayibuli Eyogera ki ku Kuggyamu Embuto?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Abortion
    Zuukuka!—2017
  • Okussa Ekitiibwa mu Kirabo ky’Obulamu
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 38
Essomo 38. Omwami n’omukyala nga basitudde omwana waabwe.

ESSOMO 38

Siima Ekirabo eky’Obulamu

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Olw’okuba tuli balamu, waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola ebituleetera essanyu. Ne bwe tuba tulina ebizibu, wabaawo ebintu ebimu mu bulamu ebitusanyusa. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’obulamu? Ensonga esinga obukulu eyandituleetedde okusiima ekirabo eky’obulamu y’eruwa?

1. Lwaki obulamu osaanidde okubutwala nga bwa muwendo?

Obulamu tusaanidde okubutwala nga bwa muwendo kubanga buva eri Yakuwa, Kitaffe atwagala ennyo. Yakuwa ye “nsibuko y’obulamu,” kubanga ye yatonda ebintu byonna ebiramu. (Zabbuli 36:9) “Y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” (Ebikolwa 17:25, 28) Yakuwa atuwa bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli balamu. Ate era by’atuwa bitusobozesa okunyumirwa obulamu.​—Soma Ebikolwa 14:17.

2. Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti tusiima ekirabo eky’obulamu kye yatuwa?

Yakuwa akulabiridde okuviira ddala ng’okyali mu lubuto lwa maama wo. Omuweereza wa Yakuwa eyali ayitibwa Dawudi, yagamba nti: “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange.” (Zabbuli 139:16) Obulamu bwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo. (Soma Matayo 10:29-31.) Yakuwa awulira bubi bw’alaba omuntu asaanyaawo obulamu bw’omulala, oba obubwe.a (Okuva 20:13) Ate era tekisanyusa Yakuwa bwe tukola ebintu ebissa obulamu bwaffe oba obw’abalala mu kabi. Bwe tufaayo ku bulamu bwaffe era ne tussa ekitiibwa mu bulamu bw’abalala, tuba tulaga nti tusiima ekirabo eky’obulamu.

YIGA EBISINGAWO

Weetegereze ebimu ku ebyo by’osobola okukola okulaga nti osiima ekirabo eky’obulamu.

3. Faayo ku bulamu bwo

Abo abaamala okwewaayo eri Yakuwa bakozesa obulamu bwabwe bwonna okumuweereza. Baba ng’abaawaayo emibiri gyabwe nga ssaddaaka eri Katonda. Soma Abaruumi 12:1, 2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki ekyandikukubirizza okufaayo ku bulamu bwo?

  • Biki by’oyinza okukola okulaga nti ofaayo ku bulamu bwo?

Omukyala ali olubuto ng’ayogera n’omusawo.

4. Weegendereze ebintu ebiyinza okukuviirako okufuna ebisago oba okufa

Bayibuli etukubiriza okwewala ebintu ebiteeka obulamu bwaffe mu kabi. Laba VIDIYO, osobole okumanya engeri gy’oyinza okwewala okussa obulamu bwo mu kabi.

VIDIYO: Weewale Ebintu Ebissa Obulamu Bwo mu Kabi (8:34)

Soma Engero 22:3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ggwe n’abalala gye muyinza okwewala ebintu ebissa obulamu mu kabi . . .

  • awaka.

  • ku mulimu.

  • ng’ozannya emizannyo.

  • ng’ovuga ekidduka oba nga bakuvuga.

Omusajja ali mu mmotoka nga yeesiba omusipi.

5. Ssa ekitiibwa mu bulamu bw’omwana atannazaalibwa

Omukyala ali olubuto ng’akutte ku lubuto lwe.

Kabaka Dawudi yakiraga nti Yakuwa afaayo ku bulamu bw’omwana ali mu lubuto. Soma Zabbuli 139:13-17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Mu maaso ga Yakuwa, obulamu bw’omuntu butandika ku lunaku lw’azaalibwa, oba ku lunaku nnyina lw’afuna olubuto?

Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri gaawanga obukuumi bamaama n’abaana abatannazaalibwa. Soma Okuva 21:22, 23, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Yakuwa yatwalanga atya omuntu eyaviirangako omwana atannazaalibwa okufa, wadde nga yabanga takigenderedde?

  • Yakuwa awulira atya singa omuntu mu bugenderevu aviirako omwana atannazaalibwa okufa?b

  • Endowooza Katonda gy’alina ku nsonga eyo ogitwala otya?

Laba VIDIYO.

VIDIYO: Obulamu Butwale nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala (5:00)

Omukazi atwala obulamu nga bwa muwendo, naye ayinza okuwulira nti ateekeddwa okuggyamu olubuto. Soma Isaaya 41:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Omukazi bw’aba ng’apikirizibwa okuggyamu olubuto, ani gw’asaanidde okusaba okumuyamba? Lwaki ogamba bw’otyo?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Omukazi bw’asalawo okuggyamu olubuto liba ddembe lye, kubanga omwana ali mu lubuto aba wuwe.”

  • Kiki ekiraga nti obulamu bwa maama n’obw’omwana atannazaalibwa Yakuwa abutwala nga bwa muwendo?

MU BUFUNZE

Ekirabo eky’obulamu Yakuwa kye yatuwa Bayibuli etukubiriza okukyagala, okukissaamu ekitiibwa, n’okukikuuma. Ekyo kizingiramu obulamu bwaffe n’obw’abalala.

Okwejjukanya

  • Lwaki obulamu bw’omuntu bwa muwendo nnyo eri Yakuwa?

  • Yakuwa awulira atya bw’alaba omuntu asaanyaawo obulamu bwa munne mu bugenderevu?

  • Lwaki osiima ekirabo eky’obulamu?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Tuyinza tutya okusiima Yakuwa olw’okutuwa ekirabo eky’obulamu?

Oluyimba 141​—Obulamu Kyamagero (2:41)

Laba engeri ekibuuzo kino gye kiddibwamu: Katonda asobola okusonyiwa omukazi eyaggyamu olubuto?

“Bayibuli Eyogera Ki ku Kuggyamu Embuto?” (Kiri ku mukutu)

Laba okumanya engeri Katonda gy’atwalamu obulamu gye kyandikutte ku by’okwesanyusaamu bye tulondawo.

“Emizannyo Egiteeka Obulamu mu Kabi​—Osaanidde Okugizannya?” (Awake!, Okitobba 8, 2000)

Laba engeri Bayibuli gy’eyinza okuyamba omuntu alina ekirowoozo ky’okwetta.

“Njagala Kwetta​—Bayibuli Esobola Okunnyamba Bwe Nfuna Ekirowoozo ky’Okwetta?” (Kiri ku mukutu)

a Yakuwa afaayo nnyo ku abo ababa bennyamidde. (Zabbuli 34:18) Ategeera obulumi bwe baba nabwo, oluusi obubaviirako okufuna ekirowoozo ky’okwetta, era ayagala okubayamba. Okusobola okulaba engeri Yakuwa gy’ayinza okuyambamu abantu ng’abo, laba ekitundu ekirina omutwe, “Njagala Kwetta​—Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Nfunye Ekirowoozo ky’Okwetta?” ekiri wansi w’omutwe, Laba Ebisingawo, mu ssomo lino.

b Omuntu eyaggyamu olubuto tasaanidde kulumirizibwa mutima kisusse. Yakuwa asobola okumusonyiwa. Okumanya ebisingawo, laba ekitundu, “Bayibuli Eyogera Ki ku Kuggyamu Embuto?” ekiri wansi w’omutwe, Laba Ebisingawo mu ssomo lino.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share