LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 12/15 lup. 21-22
  • Empandiika ya Cuneiform ne Baibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Empandiika ya Cuneiform ne Baibuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Ebiwandiiko Ebimaze Ebbanga Eddene
  • Ebirimu Bikwatagana n’Ebiri mu Baibuli
  • Amannya Agali mu Biwandiiko by’Abasuuli n’Abababulooni
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 12/15 lup. 21-22

Empandiika ya Cuneiform ne Baibuli

ENNIMI bwe zaamala okutabulwatabulwa e Baberi, abantu baatandikawo empandiika ezitali zimu. Abantu ng’Abasumeri n’Abababulooni ab’omu Mesopotamiya baakozesanga empandiika eyitibwa cuneiform. Ekigambo ekyo kiva mu kigambo ky’Olulatini ekitegeeza ‘ekintu ekifaanana ng’embazzi’ era kitegeeza akabonero akensonda essatu akawandiikibwanga n’akafumu ku bbumba ebbisi.

Abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda baazuula ebiwandiiko bya cuneiform nga byogera ku bantu n’ebyafaayo ebisangibwa mu Baibuli. Kiki kye tumanyi ku mpandiika eyo ey’edda? Era ebiwandiiko ebyo biraga bitya nti Baibuli yeesigika?

Ebiwandiiko Ebimaze Ebbanga Eddene

Abeekenneenya bagamba nti mu kusooka abantu b’omu Mesopotamiya baawandiikanga nga bakozesa bifaananyi oba bubonero. Ng’ekyokulabirako, oli bwe yabanga awandiika ekigambo ente yakubangawo kafaananyi ka mutwe gwayo. Olw’obwetaavu bw’okutereka ebiwandiiko, waatandikibwawo empandiika eyitibwa cuneiform. Ekitabo ekiyitibwa NIV Archaeological Study Bible kigamba: “Kati obubonero bwali busobola okukiikirira ebigambo n’ennyingo zaabyo.” Kya ddaaki, obubonero nga 200 obw’empandiika eno eya cuneiform bwali busobola okukozesebwa “okuwandiika buli kimu kyonna kye baagala.”

Ekiseera kya Ibulayimu we kyatuukira, awo nga mu 2,000 E.E.T., empandiika eno eya cuneiform yali ekozesebwa nnyo. Mu bbanga ery’emyaka 2000 egyaddako, ennimi nga 15 zaatandika okukozesa empandiika eyo. Kumpi ebiwandiiko byonna ebya cuneiform ebizuuliddwa byali bya mayinja ag’ebbumba. Mu myaka 150 egiyise, amayinja ng’ago mangi gazuuliddwa e Uli, Uruk, Babulooni, Nimrud, Nippur, Ashur, Nineeve, Mari, Ebla, Ugarit, ne Amarna. Ekitabo ekiyitibwa Archaeology Odyssey kigamba nti: “Abakugu bateebereza nti amayinja agaliko empandiika ya cuneiform agali wakati w’akakadde kamu n’obubiri ge gazuuliddwa era nti amayinja ng’ago 25,000 n’okusingawo ge gazuulibwa buli mwaka.”

Abeekenneenya ebiwandiiko bya cuneiform mu nsi yonna balina omulimu omunene ogw’okubivvuunula. Kiteeberezebwa nti “mu kiseera kino ku buli biwandiiko kkumi ebya cuneiform, kimu kyokka kye kisomeddwa waakiri omulundi gumu mu kiseera kino.”

Ebiwandiiko bya cuneiform ebizuuliddwa nga biri mu nnimi bbiri oba ssatu biyambye nnyo mu kutegeera empandiika eyo. Abakugu baakizuula nti ebintu bye bimu byali biwandiikiddwa mu nnimi za njawulo. Kino baasobola okukitegeera olw’okuba amannya, ebitiibwa, ennyiriri z’obuzaale bw’abafuzi, n’ebigambo eby’okwewaana byaddibwangamu emirundi mingi.

Emyaka gya 1850 we gyatuukira, abakugu baali basobola okusoma olulimi Olukadiya, oba Olubabulooni olutabuddwamu Olusuuli, olwali mu mpandiika ya cuneiform olwakozesebwanga abasuubuzi ab’edda ab’omu Kyondo kya Buwalabu. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Okuyiga okuvvuunula ebiwandiikiddwa mu Lukadiya kyayamba nnyo mu kutegeera ennimi zonna eziri mu mpandiika ya cuneiform.” Ebiwandiiko ebyo bikwata bitya ku Byawandiikibwa?

Ebirimu Bikwatagana n’Ebiri mu Baibuli

Baibuli egamba nti Yerusaalemi kyafugibwanga bakabaka Abakanani okutuusa Dawudi lwe yakiwamba, awo nga mu 1070 E.E.T. (Yos. 10:1; 2 Sam. 5:4-9) Naye ekyo abeekenneenya abamu baali bakibuusabuusa. Kyokka, mu 1887 omukazi omulimi yazuula ejjinja ery’ebbumba e Amarna, mu Misiri. Kyazuulibwa nti ebiwandiiko 380 oluvannyuma ebyasangibwa mu kifo ekyo gaali mabaluwa bakabaka b’e Misiri (Amenhotep III ne Akhenaton) n’ab’omu Kanani ge beewandiikiranga. Amabaluwa mukaaga gaali gava wa ‘Abdi-Heba, eyali omufuzi wa Yerusaalemi.

Magazini eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti: “Eky’okuba nti ejjinja eryazuulibwa e Amarna lyogera ku Yerusaalemi ng’ekibuga so si ng’ekintu eky’obwannannyini, era nti ‘Abdi-Heba yali . . . gavana ng’alina amaka mu Yerusaalemi wamu n’abaserikale Abamisiri 50, kiraga nti Yerusaalemi bwali bakabaka.” Magazini eyo era yagamba: “Okusinziira ku mabaluwa agaazuulibwa e Amarna, tuli bakakafu nti ekibuga ekyo ddala kyaliyo era kyali kimanyiddwa bulungi mu biseera ebyo.”

Amannya Agali mu Biwandiiko by’Abasuuli n’Abababulooni

Abasuuli, n’oluvannyuma Abababulooni, baawandiikanga ebyafaayo ku mayinja ag’ebbumba, ku bibumbe ne ku bintu ebirala. N’olwekyo, abakugu bwe basoma Olukadiya olwali mu mpandiika ya cuneiform, baakizuula nti amannya agoogerwako mu biwandiiko ebyo ne mu Baibuli mwegali.

Ekitabo ekiyitibwa The Bible in the British Museum kigamba: “Bwe yali ayogera eri ekibiina ekyali ekipya ekiyitibwa Society of Biblical Archaeology mu 1870, Dr. Samuel Birch yanokolayo [mu biwandiiko ebiri mu mpandiika ya cuneiform amannya ga] bakabaka Abaebbulaniya gamba nga Omuli, Akabu, Yeeku, Azaliya . . . , Menakemu, Peka, Koseya, Keezeekiya ne Manase, bakabaka wa Bwasuli nga Tigulasupireseri . . . [III], Salugoni, Sennakeribu, Esalukaddoni ne Asulubanipali, . . . n’Abasuuli nga Benikadadi, Kazayeeri ne Lezini.”

Ekitabo ekiyitibwa The Bible and Radiocarbon Dating kigeraageranya ebyafaayo bya Isiraeri ne Yuda ebiri mu Baibuli n’ebiwandiiko by’edda eby’empandiika ya cuneiform. Biki ebyavaamu? “Bonna awamu, bakabaka 15 oba 16 aba Yuda ne Isiraeri boogerwako mu biwandiiko by’amawanga amalala agaaliwo mu biseera ebyo, era ng’amannya gaabwe n’ebiseera we baabeererawo bikwatagana bulungi n’ebyo ebiri mu [kitabo kya Baibuli ekya] Bassekabaka. Amannya gonna agasangibwa mu biwandiiko ebyo gaali gawandiikibwa dda mu kitabo kya Bassekabaka.”

Ekiwandiiko ky’empandiika ya cuneiform ekiyitibwa Cyrus Cylinder ekyazuulibwa mu 1879 kigamba nti Kuulo yalagira abawambe okuddayo mu nsi zaabwe ng’awamba Babulooni mu 539 E.E.T. Mu abo abaddayo mwe mwali Abayudaaya. (Ezer. 1:1-4) Abeekenneenya bangi mu kyasa 19 baali babuusabuusa obanga ekiragiro ekyo ekyogerwako mu Baibuli ddala kyaliyo. Naye ebiwandiiko eby’empandiika ya cuneiform eby’omu biseera Buperusi we yafugira ensi yonna, ng’omwo mwe muli ne Cyrus Cylinder, biwa obukakafu obw’enkukunala nti ebiri mu Baibuli bituufu.

Mu 1883 ebiwandiiko ebisukka mu 700 eby’empandiika ya cuneiform byazuulibwa e Nippur, kumpi ne Babulooni. Birimu amannya g’abantu 2,500, nga 70 ku bo Bebbulaniya. Munnabyafaayo Edwin Yamauchi agamba nti biraga nti “baakolanga endagaano n’abalala, baakolanga bizineesi, baalinga bajulizi, baasoloozanga emisolo, oba baalinga bakungu ba bakabaka.” Obukakafu obwo obulaga nti mu biseera ebyo Abayudaaya baagenda mu maaso n’okukola emirimu ng’egyo okumpi ne Babulooni bukulu nnyo kubanga bulaga nti nga Baibuli bwe yalagula, “ensigalira” y’Abaisiraeri bwe yaddayo e Buyudaaya, bangi baasigalayo mu buwaŋŋanguse e Bwasuli n’e Babulooni.​—Is. 10:21, 22, NW.

Mu myaka olukumi ng’Embala Eno Tennatandika, empandiika ya cuneiform n’eya walifu zombi zaali zikozesebwa. Naye Abasuuli n’Ababulooni baatuuka ekiseera ne bava ku mpandiika ya cuneiform ne batandika okukozesa eya walifu.

Waliwo amayinja nkumi na nkumi agaterekeddwa mu myuziyamu agatannaba kwekenneenyezebwa. Ago agamaze okusomebwa abakugu gawa obukakafu obw’enkukunala nti ebiri mu Baibuli bituufu. Ani amanyi obukakafu obulala obuliva mu ago agatannasomebwa we bwenkana?

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Photograph taken by courtesy of the British Museum

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share