LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 12/15 lup. 23-26
  • Ekisibo kya Katonda mu Korea Kikuze Nkiraba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekisibo kya Katonda mu Korea Kikuze Nkiraba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tugenda e Korea
  • Okuba nti Twasibwako Kibazzizzaamu Nnyo Amaanyi
  • Twolekagana n’Embeera Enzibu
  • Katonda Awa Omulimu Gwaffe Omukisa
  • Okwagala Okwa Nnamaddala Okumanyira ku Ki?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 12/15 lup. 23-26

Ekisibo kya Katonda mu Korea Kikuze Nkiraba

Byayogerwa Milton Hamilton

“Kya nnaku okubategeeza nti gavumenti ya Korea esazizzaamu viza zonna ezaawebwa abaminsani era nammwe tejja kubakkiriza kugenda mu ggwanga eryo. . . . N’olwekyo, mujja kugira nga muweereza mu Japan.”

NZE ne mukyala wange twafuna obubaka obwo okuva e Brooklyn, mu New York, mu Amerika, ng’omwaka 1954 gunaatera okuggwako. Emabegako mu mwaka ogwo, twali tumaze okutendekebwa mu mugigi ogwa 23 ogw’Essomero lya Giriyadi mu New York. We twafunira ebbaluwa eyo, twali tukyaweereza mu Indianapolis, mu ssaza ly’e Indiana.

Nze ne mukyala wange Liz (mu kusooka eyali ayitibwa Liz Semock) twali mu ssomero limu. Twafumbiriganwa mu 1948. Liz yali ayagala nnyo obuweereza obw’ekiseera kyonna naye nga tayagala kuweereza mu nsi ndala yonna okuggyako Amerika. Yajja atya okukyusa endowooza ye?

Liz yakkiriza ne tugenda ffembi mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okugenda mu Ssomero lya Giriyadi. Olukuŋŋaana olwo lwaliwo mu lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu Yankee Stadium, e New York, mu 1953. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, twajjuza foomu ezisaba okugenda mu Giriyadi. Twali tuli awo nga batuyise okugenda mu mugigi oguddako ogwali ogw’okutandika mu Febwali 1954.

Twategeezebwa nti twali tugenda kuweereza mu Korea wadde ng’olutalo olwali lumaze emyaka esatu nga luyinda mu ggwanga eryo lwali lwakaggwa mu 1953, era nga lulitaaguddetaagudde nnyo. Nga bwe twali tulagiddwa mu bbaluwa, twasooka kugenda kuweerereza mu Japan. Twatuukayo mu Jjanwali 1955, oluvannyuma lw’okutambulira ku mmeeri okumala ennaku 20 nga tuli wamu n’abaminsani abalala mukaaga, nga nabo baali basindikiddwa mu Korea. Lloyd Barry, eyali omulabirizi w’ettabi ly’e Japan mu kiseera ekyo, ye yatwaniriza nga tutuuse ku mwalo ku ssaawa 12:00 ez’oku makya. Awo we twava ne tugenda mu maka g’abaminsani e Yokohama. Ku olwo lwennyini, lwe twatandika okubuulira.

Tugenda e Korea

Oluvannyuma twafuna viza ezitukkiriza okugenda e Korea. Nga Maaki 7, 1955, twalinnya ennyonyi ku kisaawe e Haneda mu Tokyo, era mu ssaawa ssatu twali tutuuse ku kisaawe e Yoido mu kibuga Seoul. Twayanirizibwa Abajulirwa b’omu Korea abasukka mu 200 era olw’essanyu eringi, twakaaba. Mu kiseera ekyo, Korea yonna yalimu ababuulizi 1000 lwokka. Okufaananako abazungu abalala bangi, naffe twali tulowooza nti abantu b’omu nsi eziri mu Asiya ow’ebuvanjuba bonna bafaanagana era beeyisa mu ngeri y’emu. Mu bbanga ttono nnyo twali tukirabye nti si bwe kyali. Abakoleya balina olulimi olwabwe, walifu eyaabwe, enfumba, ennyambala, n’enkula eyaabwe, era waliwo n’ebintu ebirala ebibaawula ku balala gamba ng’enzimba.

Ekintu ekyasooka okutuzibuwalira ennyo kwali kuyiga Lukoleya. Tewaali bitabo biyinza kutuyamba kuluyiga. Twakizuula nti engeri ebigambo gye byatulwamu mu Lukoleya ya njawulo nnyo ku yaffe ey’Olungereza. Omuntu okusobola okuyiga enjatula entuufu, alina okusooka okuyiga walifu y’Olukoleya.

Twakola ensobi nnyingi. Ng’ekyokulabirako, lumu Liz yabuuza omukazi gwe yali ayogera naye obanga alina Baibuli. Omukyala oyo eyalabika nga yeewuunyizza nnyo yagenda mu nnyumba n’aleeta ekibiriiti. Liz yali amusabye kuleeta sungnyang (obuti bw’ekibiriiti) mu kifo kya sungkyung, “Baibuli.”

Nga wayise emyezi mitono, twasabibwa okutandikawo amaka g’abaminsani mu kibuga Pusan ekiri ku mwalo. Twapangisa ennyumba ya bisenge bisatu ebitono ne tusula omwo wamu ne bannyinnaffe abalala babiri abaali basindikiddwa okuweereza naffe. Mu nnyumba eyo temwali mazzi wadde kabuyonjo ey’omunda. Ekiro lwokka amazzi lwe gaasobolanga okuyita mu lupiira ne gatuuka ku mwaliiro ogw’okubiri. N’olwekyo, twalina okuzuukukanga mu mpalo ekiro okugasena. Okusobola okunywa amazzi ago twalinanga kusooka kugafumbako oba kugateekamu ddagala.

Waaliwo n’ebizibu ebirala. Amasannyalaze gaalinga matono nnyo nga tetusobola kukozesa kyuma kyoza ngoye wadde ppaasi. Olukuubo lwe twakozesanga ng’effumbiro era nga tufumbira ku sitoovu. Mu bbanga ttono, buli omu yali asobola bulungi okufumba emmere ng’oluwalo lwe lutuuse. Nga twakamalayo emyaka essatu, nze ne Liz twafuna obulwadde bw’ekibumba. Mu biseera ebyo, abaminsani abasinga baalwala obulwadde obwo. Bwatulumira emyezi egiwera, era twatawanyizibwa n’endwadde endala.

Okuba nti Twasibwako Kibazzizzaamu Nnyo Amaanyi

Okumala emyaka 55 egiyise, ekyondo kya Korea kibaddemu nnyo obugulumbo bw’eby’obufuzi. Waliwo ekitundu ekitakkirizibwamu bajaasi ekikola ng’ensalo wakati wa Korea ey’ebukiika kkono n’ey’ebukiiko ddyo. Ekitundu ekyo kiri mayiro 35 okuva e Seoul, ekibuga ekikulu ekya Korea ey’ebukiika ddyo. Mu 1971, Frederick Franz okuva ku kitebe ekikulu mu Brooklyn yatukyalira. Nnamuwerekeko ng’agenda mu kitundu ekyo ekitakkirizibwamu bajaasi ekikuumibwa obutiribiri okusinga ekitundu ekirala kyonna ku nsi. Emirundi mingi, abakungu b’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte basisinkanye abakungu ba gavumenti ezo zombi mu kitundu ekyo.

Kya lwatu, tetwenyigira mu bya bufuzi bya nsi eno, nga mw’otwalidde ne Korea. (Yok. 17:14) Olw’okuba tebakwata bya kulwanyisa kulwana na bantu bannaabwe, Abajulirwa abasukka 13,000 mu Korea basibiddwa mu makomera era emyaka gye bamazeeyo bw’ogigatta awamu giwerera ddala 26,000. (2 Kol. 10:3, 4) Ab’oluganda bonna abavubuka mu nsi eyo bakimanyi nti balina okwolekagana n’ekizibu ekyo, naye tekibatiisa. Kya nnaku nti Abakristaayo gavumenti ebatwala nga “bamenyi ba mateeka” olw’obutabaako ludda lwonna lwe bawagira mu by’obufuzi.

Edda mu 1944 nga kya Ssematalo II ayinda, nange nnasibibwa emyaka ebiri mu kkomera ly’e Lewisburg, mu ssaza ly’e Pennsylvania mu Amerika, olw’okugaana okuyingira mu magye. N’olwekyo, mmanyi ebizibu baganda baffe abo abavubuka ab’omu Korea bye basanze mu makomera, wadde nze saabonaabona kutuuka awo. Okukimanya nti n’abamu ku ffe abaminsani abali mu Korea twasibwako olw’ensonga eyo y’emu, kizzizzaamu nnyo baganda baffe abo amaanyi.​—Is. 2:4.

Twolekagana n’Embeera Enzibu

Mu 1977, twalina okulaga nti ddala tetuliiko ludda lwa bya bufuzi lwe tuwagira. Ab’obuyinza baali balowooza nti ffe abaminsani ffe twali tuleetera abavubuka Abakoreya okugaana okuyingira mu magye. Bw’etyo gavumenti yasalawo nti abaminsani abafuluma eggwanga baali tebajja kukkirizibwa kudda. Ekyo kyaliwo okuva mu 1977 okutuukira ddala mu 1987. Singa twafulumako mu Korea mu kiseera ekyo, tetwandikkiriziddwa kudda. N’olwekyo, tetwagendako waffe mu bbanga eryo lyonna.

Twayogera n’abakungu ba gavumenti emirundi mingi nga tugezaako okubannyonnyola nti ffe abagoberezi ba Kristo tetwenyigira mu bya bufuzi. Ekiseera kyatuuka ne bakiraba nti ekiragiro kye baawa kyali tekirina kye kigenda kukyusa, era baakimenyawo​—nga wayise emyaka kkumi. Mu myaka egyo abaminsani abamu baalina okufuluma Korea basobole okujjanjabibwa, naye ffe abalala twasigala, era tuli basanyufu okuba nti twakola tutyo.

Mu myaka gya 1980, abantu abatayagala Bajulirwa ba Yakuwa baagambanga nti ab’oluganda abaali ku kakiiko akaddukanya omulimu gwaffe be baakubirizanga abavubuka okugaana okuyingira mu magye. Olw’ensonga eyo, ab’obuyinza baayita buli omu ku ffe abaali ku kakiiko ako okubaako bye batubuuza. Nga Jjanwali 22, 1987, omuwaabi wa gavumenti yakizuula nti tetwalina musango gwonna era kino kyatuyamba nnyo mu biseera ebyaddirira.

Katonda Awa Omulimu Gwaffe Omukisa

Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gweyongera okuziyizibwa mu Korea olw’okuba tetuwagira bya bufuzi. Ekyo kyatuleetera okuzibuwalirwa okufuna ebifo we tutegekera enkuŋŋaana ennene. N’olwekyo, Abajulirwa baasalawo ne beezimbira Ekizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene mu Pusan, era ekizimbe ekyo kye kyasookera ddala mu Asiya ow’ebuvanjuba. Nze nnawa emboozi y’okuwaayo ekizimbe ekyo nga Apuli 5, 1976, era waaliwo abantu 1,300.

Abajaasi b’Amerika nkumi na nkumi babadde batwalibwa okuweereza mu Korea okuviira ddala mu 1950. Bangi ku bo bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa oluvannyuma lw’okuddayo mu Amerika. Abamu ku bo batuwandiikira, era tuli basanyufu nnyo okuba nti twabayamba okuyiga amazima.

Kya nnaku nti omwagalwa wange Liz yanfaako nga Ssebutemba 26, 2006. Yandekera ekiwuubaalo kya maanyi. Mu myaka gyonna 51 gye yamala wano, yali musanyufu nnyo mu buweereza bwe era teyeemulugunyako wadde omulundi n’ogumu. Tewali na lumu lwe yalaga nti yandyagadde okuddayo mu Amerika, mu nsi gye yali yagamba nti taligivaamu!

Na buli kati nkyaweereza mu maka ga Beseri mu Korea. Ab’omu maka ga Beseri abaali babalirwa ku ngalo, kati bali nga 250. Nze omu ku abo omusanvu abali ku Kakiiko k’Ettabi akalabirira omulimu gwaffe wano.

Korea twagisanga nsi njavu nnyo, naye kati y’emu ku nsi ezisinga okuba engagga. Erimu Abajulirwa abasukka mu 95,000, era nga kumpi 40 ku buli kikumi baweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba abawagizi. Bino byonna bimpadde essanyu lya maanyi okuba nti mpeerezza Katonda nga ndi mu ggwanga lino ne ndaba ekisibo kya Katonda nga kikula.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Nga twakatuuka mu Korea ne baminsani bannaffe

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]

Nga tuweereza mu Pusan

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Mu 1971, nga ndi Franz mu kitundu awatakkirizibwa bajaasi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Nga ndi ne Liz ng’anaatera okufa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Ettabi lya Korea gye mpeereza kati

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share