LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/1 lup. 7
  • Yesu Ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • ‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Ddala Yesu Ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/1 lup. 7

Yesu Ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?

Abantu bye batera okuddamu:

▪ “Yee, Yesu ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”

▪ “Yesu ye yali Katonda nga yeeyolekedde mu mubiri.”

Yesu yayogera ki?

▪ “Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.” (Yokaana 14:28) Yesu yakiraga nti ye ne Kitaawe baali tebenkana.

▪ “Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.” (Yokaana 20:17) Yesu teyeeyita Katonda, era yalaga nti Katonda Muntu wa njawulo.

▪ “S[s]aayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera.” (Yokaana 12:49) Ebyo Yesu bye yayigiriza tebyali bibye wabula byava eri Kitaawe.

YESU yagamba nti ye Mwana wa Katonda, so si Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Bwe kiba nti Yesu ye Katonda, kati olwo yasabanga ani bwe yali ku nsi? (Matayo 14:23; 26:26-29) Tekisoboka kuba nga Yesu yali yeefuula bwefuuzi nti alina gw’ayogera naye!

Babiri ku bayigirizwa ba Yesu bwe baamusaba abawe ebifo eby’okumwanjo mu Bwakabaka bwe, yaddamu nti: “Okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera.” (Matayo 20:23) Awo Yesu yali alimba bulimbi bwe yabagamba nti teyalina buyinza kubawa bifo ebyo? N’akatono! Ng’omuntu omwetoowaze, yali akiraga nti Katonda ye yekka alina obuyinza okusalawo ku nsonga ng’ezo. Yesu yagamba nti waaliwo n’ebintu ye ne bamalayika bye baali batamanyi, nga Kitaawe yekka y’abimanyi.​—Makko 13:32.

Ekiseera Yesu we yabeerera ku nsi we wokka we yabeerera wansi wa Kitaawe? Nedda. N’oluvannyuma lw’okuttibwa n’okuzuukizibwa, Yesu ayogerwako mu Baibuli ng’ali wansi wa Katonda. Omutume Pawulo atujjukiza nti “Omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Baibuli egamba nti mu biseera eby’omu maaso, ‘ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, n’Omwana yennyini alissibwa wansi w’oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeeranga byonna mu byonna.’​—1 Abakkolinso 15:28.

Kyeyoleka bulungi nti Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Eyo ye nsonga lwaki Kitaawe yamwogerako nga “Katonda wange.”​—Okubikkulirwa 3:2, 12; 2 Abakkolinso 1:3, 4.a

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba olupapula 201-204 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]

Yesu yagamba nti waaliwo n’ebintu ye ne bamalayika bye baali batamanyi, nga Kitaawe yekka y’abimanyi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share