LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/1 lup. 12-14
  • Ensonga Ttaano Lwaki Tulina Kutya Katonda so si Bantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensonga Ttaano Lwaki Tulina Kutya Katonda so si Bantu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abagoberezi ba Kristo ab’Amazima Balina Okuyigganyizibwa
  • Ensonga Lwaki Tulina Kutya Katonda, so si Bantu
  • Osobola Okuvvuunuka Okutya Abantu
  • Kulaakulanya Omutima Ogutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Tyanga Yakuwa era Okwatenga Ebiragiro Bye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Beera wa Magezi—Tya Katonda!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Sanyukira mu Bulamu obw’Okutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/1 lup. 12-14

Ensonga Ttaano Lwaki Tulina Kutya Katonda so si Bantu

OMUVUBUKA yeewuunya okuwulira ekintu kye yali tasuubira. Yali ayogedde n’Abajulirwa ba Yakuwa babiri ne bamuyigiriza ekintu ekyali ekipya ennyo gy’ali. Yali amaze ebbanga ddene nga yeebuuza ensonga lwaki Katonda aleka abantu okubonaabona, naye kati yali ategedde bulungi Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyo. Yali tamanyi nti Baibuli erimu ebintu eby’omuwendo ennyo bwe bityo.

Abajulirwa abo baali baakagenda, omukazi nnyini nnyumba kwe yali apangisa n’ayingira nga yenna aswakidde n’amubuuza nti, “Abo baani ababadde wano?”

Kino omuvubuka oyo kyamwewuunyisa nnyo era yabulwa eky’okuddamu.

Omukazi oyo yamukayukira nti: “Nze mbamanyi bulungi, era bw’onoddayo okubakkiriza okujja wano, ng’onoonya gy’olaga!”

Yakuba oluggi n’agenda.

Abagoberezi ba Kristo ab’Amazima Balina Okuyigganyizibwa

Ekyatuuka ku muvubuka ono tekyewuunyisa. Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kigamba nti: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Abakristaayo ab’amazima abantu abasinga tebabaagala era kino si kipya. Lwaki? Omutume Yokaana yagamba Bakristaayo banne nti: ‘Tumanyi nga tuli ba Katonda, naye ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ Setaani Omulyolyomi era ayogerwako ‘ng’empologoma ewuluguma, ng’enoonya gw’eneerya.’ (1 Yokaana 5:19; 1 Peetero 5:8) Eky’okutya abantu ke kamu ku bukodyo Setaani mw’asinga okuyitira okulemesa abantu okufuuka abagoberezi ba Kristo ab’amazima.

Ne Yesu Kristo eyakola ebirungi ebingi era ataalina kibi kyonna yasekererwa era yayigganyizibwa. Yagamba nti: “Bankyayira bwereere.” (Yokaana 15:25) Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, yagamba abagoberezi nti: “Ensi bw’ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga.”​—Yokaana 15:18, 20.

Kino kireetera bangi okutya okuyingira mu kusinza okw’amazima. Ng’eyogera ku bantu lumu abaali bawuliriza Yesu, Baibuli gamba: “Tewaali yamwogerako lwatu kubanga baatya Abayudaaya.” (Yokaana 7:13; 12:42) Abakulembeze b’eddiini baatiisatiisa okugoba mu kkuŋŋaaniro omuntu yenna eyandikkiririzza mu Kristo. Bwe kityo, okutya abantu kwalemesa abantu bangi okufuuka Abakristaayo.​—Ebikolwa 5:13.

Baibuli egamba nti oluvannyuma lw’Obukristaayo okusimba amakanda, ekibiina ekyali mu Yerusaalemi ‘kyayigganyizibwa nnyo.’ (Ebikolwa 8:1) Mu butuufu, Abakristaayo baayigganyizibwa mu bwakabaka bwa Ruumi bwonna. Abasajja abaali ab’amannya mu Ruumi baagamba omutume Pawulo nti: “Ebigambo by’enzikiriza eno, tumanyi nti [b]iwerebwa wonna wonna.” (Ebikolwa 28:22) Yee, Abakristaayo ab’amazima baali bayigganyizibwa buli wamu.

Na buli kati, eky’okutya abantu Setaani akyakikozesa ng’akakodyo okulemesa abantu bangi okufuuka abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala. Abantu bangi abayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa bayigganyizibwa oba bajeregebwa bannaabwe ku masomero, ku mirimu, ne mu bitundu gye babeera. Bayinza okutya okufiirwa ebitiibwa, emikwano, oba obuyambi obuba bubaweebwa. Mu byalo, abalimi bayinza okutya nti bannaabwe tebajja okubayambako nga bakungula ebirime byabwe oba nga bakuuma ebisolo byabwe. Wadde kiri kityo, abantu bukadde n’abukadde basazeewo okwesiga Katonda n’okutambulira ku Kigambo kye, nga Yesu Kristo bwe yakola. Yakuwa abawadde emikisa mingi olw’okukola batyo.

Ensonga Lwaki Tulina Kutya Katonda, so si Bantu

Baibuli etukubiriza kutya Katonda, so si bantu. Egamba nti: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.” (Zabbuli 111:10) Kuno si kwe kutya kwe tufuna nga tulabye ekintu ekitutiisa, wabula kuba kutya kunyiiza oyo eyatuwa obulamu. Okutya okw’engeri eyo kulina akakwate n’okwagala. Naye, lwaki tusaanidde kutya Katonda so si abantu? Ka tulabe ensonga ttaano.

Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna. Yakuwa asingira wala nnyo abantu bonna amaanyi. Bwe tutya Katonda, tuba tulaga nti tuli ku ludda lw’Omuyinza w’Ebintu Byonna, oyo atunuulira ‘amawanga ng’ettondo eriri mu nsuwa.’ (Isaaya 40:15) Olw’okuba ye muyinza w’ebintu byonna, Katonda asobola okufufuggaza ‘eky’okulwanyisa kyonna ekiweesebwa okulwanyisa’ abantu be abeesigwa. (Isaaya 54:17) Ate era olw’okuba y’ajja okusalawo abagwanidde okuweebwa obulamu obutaggwawo, tetusaanidde kuleka kintu kyonna kutulemesa kuyiga bimukwatako na kukola by’ayagala.​—Okubikkulirwa 14:6, 7.

Katonda ajja kutuyamba era ajja kutukuuma. Engero 29:25 wagamba nti: “Okutya abantu kuleeta ekyambika: naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.” Okutya abantu mutego kubanga kusobola okutulemesa okubuulira abalala nti tukkiririza mu Katonda. Katonda atukakasa nti asobola okutulokola: “Totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: n[n]aakuwanga amaanyi; weewaawo, n[n]aakuyambanga; weewaawo, n[n]aakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”​—Isaaya 41:10.

Katonda ayagala nnyo abantu abamusemberera. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 8:37-39) Bwe tuyiga okwesiga Katonda n’okumugondera, tujja kufuna omukwano ogwa nnamaddala n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Ng’eyo eba nkizo ya maanyi!

Kiraga nti tusiima byonna Katonda by’atukoledde. Yakuwa ye Mutonzi waffe, era y’asobozesa obulamu okubaawo. Ng’oggyeko ekyo, yatuwa ebintu ebikulu ebyetaagisa mu bulamu, ssaako n’ebyo ebitusanyusa. Mu butuufu, Katonda ye Nsibuko ya buli kirabo ekirungi. (Yakobo 1:17) Dawudi, omusajja eyali omwesigwa era amanyi obulungi ekisa kya Katonda n’okwagala kwe yawandiika nti: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli . . . singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika obungi.”​—Zabbuli 40:5.

Abamu abatuziyiza bayinza okukyusa. Osobola okuyamba abantu abakuziyiza ng’onywerera ku kutya Katonda n’okumwagala. Lowooza ku b’eŋŋanda za Yesu. Mu kusooka baali tebamukkiririzaamu, era baali bagamba nti: “Alaluse.” (Makko 3:21; Yokaana 7:5) Kyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe, bangi ku bo baafuuka bakkiriza. Baganda ba Yesu, Yakobo ne Yuda, be bamu ku abo abaawandiika ebitabo ebiri mu Baibuli. Waliwo ne Sawulo eyayigganya ennyo Abakristaayo, oluvannyuma eyafuuka omutume Pawulo. Bwe tusigala nga tuli beesigwa, kiyinza okuyamba abamu ku batuyigganya okukiraba nti bye tuyigiriza okuva mu Baibuli ge mazima.​—1 Timoseewo 1:13.

Ng’ekyokulabirako, omuwala omu ow’omu Afirika ayitibwa Aberash yasaba nnyo Katonda asobole okuzuula amazima. Bwe yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, ab’eŋŋanda ze n’abakulembeze b’eddiini baamuyigganya nnyo. Waliwo n’ab’eŋŋanda ze abaali batandise okuyiga Baibuli, naye ekyo kyabatiisa ne balekera awo. Kyokka ye Aberash yeeyongera okusaba Katonda amuwe amaanyi n’obuvumu, era oluvannyuma yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kiki ekyavaamu? Ab’eŋŋanda ze munaana mulamba baasalawo okuddamu okuyiga Baibuli, era na kati bagenda mu maaso n’okuyiga kwabwe.

Osobola Okuvvuunuka Okutya Abantu

Okusobola okuvvuunuka okutya abantu, fuba okunyweza omukwano gwo ne Katonda. Kino osobola okukikola ng’osoma Baibuli era ng’ofumiitiriza ku byawandiikibwa gamba nga Abaebbulaniya 13:6, awagamba nti: “Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: omuntu alinkola ki?” Teweerabira nsonga ezo lwaki kirungi era kya magezi okutya Katonda mu kifo ky’okutya abantu.

Ate era jjukira nti waliwo emikisa mingi egiva mu kutambulira ku ebyo by’oyiga mu Baibuli. Ojja kufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bintu ebikulu bye weebuuza mu bulamu. Ojja kufuna amagezi agajja okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu by’osanga mu bulamu. Ojja kuba n’essuubi ery’okuba omulamu mu biseera by’omu maaso, wadde ng’embeera eriwo kati mbi nnyo. Ate era osobola okutuukirira Katonda omuyinza w’ebintu byonna mu kusaba ekiseera kyonna.

Omutume Yokaana yawandiika nti: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) Kino kye kiseera okuba omunywevu n’okutambulira mu kutya Katonda. Mu kifo ky’okuleka okukkiriza kwo okuddirira olw’okutya abantu, osobola okusalawo okukola nga Katonda bw’akukubiriza: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Engero 27:11) Ng’eyo eba nkizo ya kitalo!

Jjukira nti tewali muntu ayinza kukuwa ekyo Katonda ky’agenda okuwa abo abamutya: “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”​—Engero 22:4.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Olw’okuba Aberash yalaga obuvumu, ab’eŋŋanda ze munaana kati bayiga Baibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share