Olufuluma lw’Abayizi b’Essomero lya Giriyadi Olwa 126
Engeri gy’Oyinza Okuba Omuminsani Omulungi
ABANTU bangi baakuŋŋaana ku mukolo ogw’enjawulo ogwali ku Watchtower Educational Center ekiri e Patterson, mu New York. Ku Lwomukaaga nga Maaki 14, 2009, lwe lunaku abayizi mu ssomero lya Giriyadi ab’omugigi ogwa 126 lwe baamaliriza emisomo gyabwe. Abayizi bano baali banaatera okuweerezebwa mu nsi 22 okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.—Matayo 24:14.
Abayizi bano baali baakamaliriza emisomo gyabwe egya Baibuli egyakulungula emyezi etaano, era egyandibasobozesezza okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe ng’abaminsani. Ku lunaku lwe baamaliririzaako emisomo gyabwe baafuna akakisa akalala okuwuliriza okubuulirira okwandibayambye okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe.
Anthony Morris okuva ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa era nga ye yakola nga ssentebe ku mukolo guno, yagamba nti Essomero lya Giriyadi eritendeka abaminsani lyatandika mu 1943. Okuva mu kiseera ekyo, abaminsani bakoze omulimu gwa maanyi nnyo ogw’okubuulira mu nsi yonna.
Wadde ng’abawandiisi n’Abafalisaayo baanyoomanga abatume ba Yesu nga babatwala ng’abantu ‘abataayigirizibwa nnyo era aba bulijjo,’ omwogezi yagamba nti abaziyiza abo baalina okukitegeera nti abatume abo okwogera n’obuvumu kyava ku kuba nti baabeeranga ne Yesu. (Ebikolwa 4:13) Okutendekebwa abatume abo kwe baafuna kwabasobozesa okwogera n’obuvumu.
Robert Ciranko, omuyambi ku Kakiiko Akawandiisi akali wansi w’Akakiiko Akafuzi yawa emboozi erina omutwe ogugamba nti “Totunuulira Ndabika ya Kungulu.” Yagamba nti mu kiseera ekitali kya wala abayizi bano baali bagenda okusanga abantu ab’amawanga ag’enjawulo. Kyokka, tekyandibabeeredde kizibu kubuulira abantu ng’abo singa baba n’endowooza ng’eya Yakuwa. Okusinziira ku lulimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, ebigambo ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 10:34, bitegeeza nti Katonda tatunuulira ndabika ya kungulu. Abantu bonna asobola okubakkiriza. (Ebikolwa 10:35) Ow’oluganda Ciranko era yagamba nti, “Bwe munaabeera n’endowooza ng’eya Katonda era buli omu ne mumutwala ng’omuntu asobola okukkirizibwa mu maaso ge, mujja kutuukiriza bulungi obuweereza bwammwe.”
“Mufunye Ebinaabayamba Okutuukiriza Obuweereza Bwammwe”
Samuel Herd okuva ku Kakiiko Akafuzi yatandika emboozi ye ng’agamba nti, “Abamu eŋŋamira bagitwala ng’ekisolo ekirabika obubi, naye esobola okugumira embeera ey’omu ddungu.” Mu ngeri y’emu, n’abaminsani abapya balina buli kimu ekisobola okubayamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe mu bitundu gye baba basindikiddwa. Waliwo ebintu bitaano ebisobola okubayamba.
1. Okwagala Yakuwa. (Matayo 22:37, 38) Abayizi bamaze okukiraga nti bamalirivu okuweereza Yakuwa.
2. Okumanya kwe balina okukwata ku Kigambo kya Katonda. Eŋŋamira etereka emmere yaayo mu masavu agabeera mu bbango lyayo. Wadde kiri kityo, terekera awo kulya nga yeeyinulira ku masavu ago. Mu ngeri y’emu, abaminsani tebasaanidde kweyinulira ku ebyo byokka bye bayize mu Ssomero lya Giriyadi, naye balina okweyongera okweriisa mu by’omwoyo.
3. Okwagala abantu. (Matayo 22:39) Abaminsani baagala nnyo abantu.
4. Omwoyo gwa kyeyagalire. (Zabbuli 110:3) Omuminsani bw’aggwaamu amaanyi, Yakuwa amuyamba okuddamu amaanyi.—Isaaya 40:29.
5. Amaanyi g’omu buvubuka. Ng’eŋŋamira bwesitula oyo agituddeko n’emuyisa mu ddungu, n’abaminsani kiyinza okubeetaagisa “okusitula” Bakristaayo bannaabwe ababa banafuye mu by’omwoyo. Ekyo kyetaagisa amaanyi mangi, naye abaminsani baba n’amaanyi g’omu buvubuka.
Ebirala Ebyali mu Programu
Michael Burnett omusomesa mu ssomero lya Giriyadi yagamba nti, amaloozi ge gamu ku bintu ebirungi Yakobo bye yaweereza omufuzi w’e Misiri ng’ekirabo. (Olubereberye 43:11) Amaloozi galimu ekiriisa kingi. Abayizi bano balidde amaloozi mangi ag’eby’omwoyo mu kutendekebwa kwe bafunye. Ekimu ku ebyo bye batalina kwerabira, kwe kuba abamativu n’ebyo Yakuwa by’abawa, era n’okwagala ekitundu gye baba basindikiddwa.
Mark Noumair naye nga musomesa mu ssomero lya Giriyadi yagamba nti, Ekigambo kya Katonda kiringa ‘ensawo ejudde amagezi.’ (Yobu 28:18, NW) Tulina okubikkula ensawo eno ne tukozesa amagezi agagirimu. Singa obuweereza bwabwe tebuba nga bwe babadde basuubira, abaminsani basaanidde okulowooza ku mutume Pawulo. Abayigirizwa ba Yesu baamusindika mu kibuga ky’ewaabwe gye yaweerereza okumala emyaka mwenda. Mu kifo ky’okugamba nti ye ‘ng’ekibya ekironde’ asaanidde okuweerereza mu kifo ekirala, Pawulo yakola n’obunyiikivu yonna gye baabanga bamusindise. (Ebikolwa 9:15, 28-30) Kiyinza obutaba kyangu okukkiriza ekyo Yakuwa ky’aba akusaliddewo. Omuntu omulala eyakkiriza ekyo Yakuwa kye yali asazeewo ye Yonasaani. Bwe yakitegeera nti Yakuwa ye yali alonze Dawudi okuba Kabaka, Yonasaani yali mwetegefu okumuwagira.
Mu kitundu ekyalina omutwe, “Abaweereza ba Katonda Boogera n’Obuvumu,” abayizi baawa ebyokulabirako bye baafuna nga babuulira mu kiseera kye baamala ku ssomero. Bangi ku bo baafuna abayizi ba Baibuli. Ekitundu ekyaddirira ekyalina omutwe, “Bategekebwa Ekibiina kya Yakuwa,” kyalimu okubuuza ebibuuzo abaminsani basatu abamaze ekiseera ekiwanvu mu buweereza obwo. Buli omu yannyonnyola engeri gye yatendekebwamu okukolagana obulungi n’ekibiina kya Katonda.
“Beera Omuminsani Omusanyufu”
Gerrit Lösch, nga naye ali ku Kakiiko Akafuzi yawa emboozi eyalina omutwe “Beera Omuminsani Omusanyufu” era nga kino kye kyali ekitundu ekisinga obukulu mu programu. Yagamba nti, waliwo ebintu bingi abantu bye bakola nga balowooza nti “birungi” naye nga tebireeta ssanyu lya nnamaddala. (Engero 14:13; Omubuulizi 2:10, 11) Essanyu ery’olubeerera liva mu kukola Katonda by’ayagala, wadde ng’oluusi tekiba kyangu. Omusomo gwa Giriyadi gubadde gwa maanyi nnyo naye gubadde gwa muganyulo nnyo eri abaminsani.
Waliwo ebintu bingi ebireetera Abakristaayo ab’amazima okuba abasanyufu. Basinza Katonda omusanyufu. (Zabbuli 33:12; 1 Timoseewo 1:11) Bali mu lusuku olw’eby’omwoyo, era Baibuli esuubiza nti mangu ddala ensi eno ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Bategedde ekigendererwa ky’obulamu era nga kwe kuweereza Yakuwa n’okumutendereza. Ate era, Yakuwa ne Yesu babaagala nnyo.
Omwogezi yayongera n’agamba nti, “ojja kuba muminsani musanyufu, bw’onooyiga okubeera omumativu.” Okwagala abalala n’okwagalibwa nakyo kireeta essanyu. N’olwekyo, buusa amaaso ensobi z’abalala mu kifo ky’okuzikuliriza. Kolera abalala ebirungi, yamba abanafu, era yogerako nabo ku bintu ebirungi. (Zabbuli 41:1, 2; Ebikolwa 20:35) Era ojja kufuna essanyu bw’oneemalira ku mulimu gw’okubuulira.—Lukka 11:28.
Ow’oluganda Lösch, yafundikira ng’agamba nti, “weeyongere okuba omuminsani omusanyufu, nga weesanyusaamu mu ngeri ey’ekigero naye nga weemalira nnyo ku kutendereza Yakuwa, Katonda, omusanyufu era ne ku kuyamba abalala nabo okuba abasanyufu.”
Bwe yamala okubatuusaako okulamusa okuva mu nsi ezitali zimu, Ow’oluganda Anthony Morris yakwasa abayizi dipuloma zaabwe. Oluvannyuma lw’ekyo, oyo eyali akiikiridde abayizi ab’omugigi ogwa 126 yasoma ebbaluwa abayizi gye baali bawandiikidde Akakiiko Akafuzi. Mu bbaluwa eyo abayizi baayoleka okusiima kwabwe olw’okutendekebwa kwe baafuna mu Ssomero lya Giriyadi.
Ng’afundikira, ssentebe yagamba nti “ennyingo n’ebinywa,” bifaananako enkola n’enteekateeka “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” zaakozesa okuliisa abantu ba Yakuwa mu by’omwoyo n’okubawa obulagirizi. (Abakkolosaayi 2:18, 19; Matayo 24:45) Singa abo ababa bafulumye mu ssomero lya Giriyadi bakolera wamu n’abo Katonda b’alonze okumukiikirira, bajja kusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe.—2 Timoseewo 4:5.
[Akasanduuko akali ku lupapula 31]
EBIKWATA KU BAYIZI
Ensi mwe baava: 6
Ensi mwe baasindikibwa: 22
Omuwendo gw’abayizi: 56
Omuwendo gw’abafumbo: 28
Okutwalira awamu buli omu alina emyaka: 32.8
Okutwalira awamu buli omu mu mazima amazeemu emyaka: 17.9
Okutwalira awamu buli omu mu buweereza obw’ekiseera kyonna amazeemu emyaka: 13.5
ENSI MWE BAASINDIKIBWA
Abayizi bano baasindikibwa mu Benin, Bolivia, Bulgaria, Burkina Faso, Cameroon, Costa Rica, Ghana, Guatemala, Honduras, Kenya, Liberia, Madagascar, Mozambique, Nicaragua, Panama, Paraguay, Peru, Romania, Sierra Leone, South Africa, Togo, ne mu Uganda.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Abayizi b’Essomero lya Giriyadi ab’Omugigi ogwa 126
Ennyiriri zibalibwa okuva wansi okudda waggulu era amannya g’abo abali mu nnyiriri gasengekeddwa okuva ku kkono okudda ku ddyo.
(1) Kirchhoff, K.; Nichols, C.; Guzmán, Y.; Coil, H.; Becker, O.; De Simone, A. (2) Manzanares, A.; Bouvier, E.; Peddle, J.; Mason, H.; Braz, J. (3) Lee, J.; Forte, A.; Boucher, T.; Marsh, A.; Leighton, S.; Glover, M. (4) Kambach, H.; Jones, T.; Ferreira, A.; Morales, J.; Chicas, S.; Davis, B.; Dormanen, E. (5) Dormanen, B.; Nichols, J.; Pacho, T.; Titmas, L.; Bouvier, E.; Kirchhoff, A. (6) Leighton, G.; Pacho, A.; Van Campen, B.; Manzanares, A.; Rivard, A.; Lee, Y.; Titmas, L. (7) Boucher, M.; Coil, K.; Marsh, C.; Guzmán, J.; Jones, W.; Kambach, J. (8) Glover, A.; Ferreira, G.; Mason, E.; Forte, D.; Davis, N.; Chicas, O.; Rivard, Y. (9) Braz, D.; Van Campen, D.; Morales, A.; De Simone, M.; Becker, M.; Peddle, D.