Totunuulira Bintu Bitasaana!
“Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, era [onkuumire] mu makubo go.”—ZAB. 119:37.
1. Lwaki amaaso kirabo kya muwendo nnyo?
AMAASO gaffe kirabo kya muwendo nnyo. Gatusobozesa okulaba ebintu ebirungi bingi ebitwetoolodde. Amaaso gatuyamba okulaba mikwano gyaffe oba okulaba ebintu eby’akabi ne tubyewala. Era gatuyamba okulaba ebintu ebirabika obulungi, obutonde obwewuunyisa, n’obukakafu obulaga okubeerawo kwa Katonda n’ekitiibwa kye. (Zab. 8:3, 4; 19:1, 2; 104:24; Bar. 1:20) Olw’okuba ebintu bye tulaba biyingira mu birowoozo byaffe, amaaso gaffe gatuyamba nnyo okusobola okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa n’okwongera okumukkiririzaamu.—Yos. 1:8; Zab. 1:2, 3.
2. Lwaki tusaanidde okwegendereza ebintu bye tulaba, era ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bituyigiriza ki?
2 Kyokka era ebintu bye tulaba biyinza okuba eby’akabi gye tuli. Akakwate akali wakati w’amaaso gaffe n’ebirowoozo byaffe ka maanyi nnyo ne kiba nti ebyo amaaso gaffe bye galaba tuyinza okutandika oba okweyongera okubyagala. Era olw’okuba tuli mu nsi efugibwa Sitaani Omulyolyomi era ejjudde eby’obugwenyufu, tuyinza okwesanga nga tulabye ebifaananyi oba nga tuwulirizza ebintu eby’obulimba ebiyinza okwonoona ebirowoozo byaffe—ne bwe tuba nga tubirabyeeko oba nga tubiwuliddeko katono. (1 Yok. 5:19) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omuwandiisi wa Zabbuli yasaba Katonda ng’agamba nti: “Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, era [onkuumire] mu makubo go.”—Zab. 119:37.
Engeri Amaaso Gaffe gye Gayinza Okutubuzaabuza
3-5. Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga akabi akali mu kuleka okwegomba kw’amaaso okututwaliriza?
3 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mukazi eyasooka, Kaawa. Sitaani yamugamba nti amaaso ge ‘gandizibuse’ bwe yandiridde ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi.’ Kaawa ‘eky’okuzibuka’ amaaso kirina okuba nga kyamubuguumiriza nnyo. Yeeyongera okwagala okulya ku kibala ekyali kigaaniddwa bwe “yalaba ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n’omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi.” Kaawa bwe yeeyongera okutunuulira omuti, kyamuviirako okumenya etteeka lya Katonda. N’omwami we, Adamu, yamwegattako mu bujeemu buno, ekyaviirako olulyo lw’omuntu okugwa mu mitawaana.—Lub. 2:17; 3:2-6; Bar. 5:12; Yak. 1:14, 15.
4 Mu kiseera kya Nuuwa, bamalayika abamu nabo baatwalirizibwa ebintu bye baalaba. Nga woogera ku bamalayika bano, Olubereberye 6:2 wagamba nti: “Abaana ba Katonda [ow’amazima] ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.” Okutunuulira abawala b’abantu nga babeegomba, kyaleetera bamalayika abajeemu okwagala okwetaba nabo, ekintu ekitaali kya mu butonde. Kino kyaviirako bamalayika abo okuzaala abaana abaali abatemu. Obubi bw’omuntu obwaliwo mu kiseera ekyo bwaviirako abantu bonna okuzikirizibwa, okuggyako Nuuwa n’ab’omu maka ge.—Lub. 6:4-7, 11, 12.
5 Nga wayise ebyasa by’emyaka, omusajja Omuisiraeri ayitibwa Akani bwe yalaba ebimu ku bintu ebyali binyagiddwa mu kibuga Yeriko, yabibba. Katonda yali alagidde nti ebintu byonna ebyali mu kibuga ekyo bizikirizibwe, okuggyako ebintu ebimu ebyali birina okutwalibwa mu ggwanika lya Yakuwa. Abaisiraeri baalabulwa nti: “Mwewalire ddala ebintu ebirina okuzikirizibwa, muleme okufuna okwegomba” n’okutwala ebimu ku bintu okuva mu kibuga. Olw’okuba Akani yajeema, abantu ba Isiraeri baawangulwa mu kibuga Ayi, era bangi ku bo battibwa. Akani teyakkiriza nti yali abbye ebintu okutuusa lwe kyazuulibwa. Akani yagamba nti: “Bwe nnalaba [ebintu,] . . . ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala.” Okwegomba kw’amaaso kwamuleetera okuzikirizibwa, wamu ne “byonna bye yalina.” (Yos. 6:18, 19, NW; 7:1-26) Akani yeegomba ebintu ebyali bigaaniddwa.
Twetaaga Okwefuga
6, 7. Olumu ku ‘nkwe’ za Sitaani lw’atera okukozesa okutubuzaabuza lwe luluwa, era bannabizineesi balukozesa batya?
6 Ne leero, abantu bagezesebwa mu ngeri y’emu nga Kaawa, bamalayika abajeemu, ne Akani gye baagezesebwamu. Mu ‘nkwe’ zonna Sitaani z’akozesa okubuzaabuza abantu, “okwegomba kw’amaaso” kwe kusingayo okuba okw’amaanyi. (2 Kol. 2:11; 1 Yok. 2:16) Bannabizineesi ab’ennaku zino bakimanyi bulungi nti abantu bakwatibwako nnyo ebintu bye balaba. Omukugu mu by’obusuubuzi mu Bulaaya yagamba nti: “Omuntu asikirizibwa nnyo ng’alabye ku kintu. Kino oluusi kimuleetera n’okubuusa amaaso ekintu ky’amanyi nti kye kituufu.”
7 Tekyewuunyisa nti bannabizineesi batera okukozesa ebifaananyi ebisikiriza era ebireetera abantu okwagala ebintu bye baba balanga! Omwekenneenya omu mu Amerika eyanoonyereza ku ngeri okulanga ebintu gye kikwata ku bantu yagamba nti “tekikoma ku kukwata ku ngeri omuntu gy’alowoozaamu, naye era kimusikiriza okubaako ky’akolawo.” Nga bagezaako okusikiriza abantu, bannabizineesi batera okukozesa ebifaananyi ebireetera omuntu okulowooza ku kwetaba. N’olwekyo, kikulu nnyo okwegendereza ebyo bye tulaba n’ebyo bye tuyingiza mu birowoozo ne mu mitima gyaffe.
8. Baibuli eraga etya obukulu bw’okufuga amaaso gaffe?
8 Abakristaayo ab’amazima nabo basobola okutwalirizibwa okwegomba kw’amaaso n’okw’omubiri. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwegendereza bye tulaba ne bye twegomba. (1 Kol. 9:25, 27; soma 1 Yokaana 2:15-17.) Yobu, omusajja eyatuukirira, y’omu ku abo abaali bamanyi nti waliwo akakwate ka maanyi wakati w’ebyo bye tulaba ne bye twegomba. Yagamba nti: “N[n]alagaana endagaano n’amaaso gange; kale n[n]andiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?” (Yob. 31:1) Yobu teyakoma ku kwewala kukwata ku bakazi mu ngeri etasaana, naye era yali afuba okwewala okulowooza ku kintu ng’ekyo. Yesu yakiraga nti ebirowoozo by’omuntu birina okukuumibwa nga biyonjo bwe yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Mat. 5:28.
Ebintu Ebitasaana Bye Tusaanidde Okwewala
9. (a) Lwaki tusaanidde okuba abeegendereza nga tukozesa Internet? (b) Biki ebiyinza okuva mu kutunuulira ebintu eby’obugwenyufu wadde okumala akaseera akatono?
9 Mu nsi y’akakyo kano, kyeyongedde okuba ekyangu ‘okutunuulira’ ebintu eby’obugwenyufu, naddala okuyitira ku mikutu gya Internet. Tekikyatwetaagisa kunoonya mikutu egyo wabula kati gye gitunoonya! Mu ngeri ki? Akalango okuli ekifaananyi eky’obugwenyufu kayinza okujja ku kompyuta yo. Oba akabokisi kayinza okulabika ku kompyuta yo era ng’olukaggula kavaamu ekifaananyi eky’obugwenyufu kyokka nga kaakolebwa mu ngeri nti tekiba kyangu kukaggala. Omuntu ne bw’akuba obukubi eriiso ku kifaananyi ng’ekyo nga tannaba kukiggyako, kiba kimaze okukosa ebirowoozo bye. Bwe kityo okutunuulira ebintu eby’obugwenyufu wadde okumala akaseera akatono kiba kya kabi. Omuntu asigala alumizibwa omuntu we ow’omunda era asigala n’olutalo olw’okulaba nti ebintu eby’obugwenyufu by’aba alabye biva mu birowoozo bye. Ate era omuntu “atunuulira” ebintu ng’ebyo mu bugenderevu aba mu kabi ka maanyi era kiba kimwetaagisa okweggyamu okwegomba okwo okubi.—Soma Abeefeso 5:3, 4, 12; Bak. 3:5, 6.
10. Lwaki kyangu abaana okulaba ebintu eby’obugwenyufu, era biki ebiyinza okuva mu kulaba ebintu ng’ebyo?
10 Olw’okuba abaana baagala nnyo okumanya, kino kiyinza okubaleetera okulaba ebintu eby’obugwenyufu. Ekyo bwe kibaawo, endowooza ekyamu ezikwata ku kwetaba ziyinza okusimba amakanda mu mitima gyabwe. Alipoota emu egamba nti kino kiyinza n’okubaleetera ‘okuba n’endowooza enkyamu ku bakazi, okufuna omuze ogw’okulaba ebintu eby’obugwenyufu, okutaataaganya emisomo gyabwe, era kiyinza okwonoona enkolagana gye balina ne mikwano gyabwe awamu n’ab’omu maka gaabwe.’ N’ekisinga obubi, kiyinza okukosa obufumbo bwabwe mu biseera eby’omu maaso.
11. Waayo ekyokulabirako ekiraga akabi akali mu kulaba ebintu eby’obugwenyufu.
11 Bwe yali ayogera ku bulamu bwe, ow’oluganda omu yagamba nti: “Mu mize emibi gye nnalina nga sinnayiga mazima, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu gwe muze ogwasingayo okumbeerera omuzibu okweggyako. N’okutuusa leero, ebifaananyi ebyo bye nnalaba bitera okuggya mu birowoozo byange naddala bwe wabaawo ekintu kye ndabye oba obuyimba bwe mpulidde ne bubinzijjukiza. Kino kye kizibu kye nnwanagana nakyo buli lunaku.” Ow’oluganda omulala bwe yali akyali muto, bazadde be bwe bataabanga waka, yalabanga ebifaananyi eby’obugwenyufu ebyabanga mu magazini za kitaawe ataali mukkiriza. Yawandiika nti: “Ebifaananyi ebyo byakosa nnyo ebirowoozo byange ebyali bikyali ebito. Kati wayise emyaka 25, naye ebimu ku bifaananyi ebyo bikyali mu birowoozo byange. Wadde nga nfubye okubyeggyamu, bikyagaanye okunvaamu. Kino kireetera omuntu wange ow’omunda okunnumiriza wadde nga nfuba obutabirowoozaako.” Nga kiba kya magezi okwewala okulaba ebintu ebitasaana ebiyinza okwonoona ebirowoozo byaffe! Naye omuntu asobola atya okwewala endowooza enkyamu? Alina okufuba ennyo ‘okuwangula buli kirowoozo n’akifuula kiwulize eri Kristo.’—2 Kol. 10:5.
12, 13. Bintu ki ebitasaana Abakristaayo bye balina okwewala okulaba, era lwaki?
12 Ekintu ekirala “ekitasaana” kye tulina okwewala bye by’okwesanyusaamu ebikubiriza okwagala ebintu n’eby’obusamize, oba ebiraga ebikolwa eby’ettemu, okuyiwa omusaayi, n’okutta. (Soma Zabbuli 101:3.) Abazadde Abakristaayo Yakuwa abasuubira okulonda n’obwegendereza ebyo bye bakkiriza okulabibwa mu maka gaabwe. Kya lwatu nti teri Mukristaayo wa mazima ayinza kwenyigira mu bya busamize mu bugenderevu. Wadde kiri kityo, abazadde balina okwegendereza firimu, programu za ttivi, emizannyo gya kompyuta, n’ebitabo by’abaana ebikubiriza obusamize mu ngeri enneekusifu.—Nge. 22:5.
13 Ka tube bakulu oba bato, ffenna tulina okwewalira ddala okulaba emizannyo gya kompyuta egiraga ebikolwa eby’ettemu n’okuyiwa omusaayi. (Soma Zabbuli 11:5.) Tuteekwa okwewala okussa ebirowoozo byaffe ku kintu kyonna Yakuwa ky’akyawa. Kijjukire nti Sitaani ayagala okwonoona ebirowoozo byaffe. (2 Kol. 11:3) Ate era okumalira ebiseera ebingi ku by’okwesanyusaamu, ne bwe bitaba bibi, kiyinza okutumalako ebiseera bye twandikozesezza mu kusinza kw’amaka, okusoma kwa Baibuli buli lunaku, ne mu kweteekerateekera enkuŋŋaana.—Baf. 1:9, 10.
Goberera Ekyokulabirako kya Yesu
14, 15. Kiki kye weetegereza ku kikemo eky’okusatu Sitaani kye yaleetera Kristo, era Yesu yasobola atya okukiziyiza?
14 Kya nnaku nti tetusobola kwewalira ddala kulaba bintu bitasaana mu nsi eno embi. Ne Yesu olumu yeesanga ng’alagiddwa ebintu ng’ebyo. Mu kikemo eky’okusatu Sitaani kye yaleetera Yesu ng’ayagala okumulemesa okukola Katonda by’ayagala, “Omulyolyomi [yamutwala] ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo.” (Mat. 4:8) Lwaki Sitaani yamulaga ebintu ebyo? Tewali kubuusabuusa nti yali yagala kumukwasa ng’akozesa akakodyo kano ak’amaanyi, okwegomba kw’amaaso. Yali asuubira nti Yesu bwe yandirabye ku bugagga obuli mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi kyandimuleetedde okwekkiriranya asobole okwefunira ettutumu mu nsi. Yesu yakola ki?
15 Yesu teyassa birowoozo bye ku bintu ebyali bimusuubiziddwa. Teyakkiriza kwegomba okwo okubi kuyingira mu mutima gwe. Era teyasooka na kufumiitiriza ku ebyo Omulyolyomi bye yali amusuubizza okusobola okubigaana. Yesu yabigaanirawo. Yamulagira nti: “Genda Sitaani!” (Mat. 4:10) Yesu kye yassaako ebirowoozo bye y’enkolagana ye ne Yakuwa era bye yaddamu byalaga nti ekigendererwa kye kwe kukola Katonda by’ayagala. (Beb. 10:7) N’ekyavaamu, Yesu yasobola okuziyiza akatego ka Sitaani ako.
16. Bintu ki bye tuyigira ku kyokulabirako Yesu kye yateekawo mu kuziyiza ebikemo bya Sitaani?
16 Tulina bingi bye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu. Ekisooka, tewali n’omu Sitaani gw’atasobola kukema. (Mat. 24:24) Eky’okubiri, ebintu bye tulaba biyinza okutuleetera okufuna okwegomba okulungi oba okubi. Eky’okusatu, Sitaani akola kyonna ky’asobola okukozesa “okwegomba kw’amaaso” okutuwugula. (1 Peet. 5:8) N’eky’okuna, naffe tusobola okuziyiza Sitaani, naddala singa tubaako kye tukolawo mu bwangu.—Yak. 4:7; 1 Peet. 2:21.
Ba n’Eriiso ‘Eriraba Awamu’
17. Lwaki tekiba kya magezi kumala kutuuka mu mbeera nzibu ne tulyoka tusalawo eky’okukola?
17 Obweyamo bwe tukola nga twewaayo eri Yakuwa buzingiramu n’okwewala ebintu ebitasaana. Bwe tweyama okukola Katonda by’ayagala, tuba tufaananako omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.” (Zab. 119:101) Tekiba kya magezi kumala kutuuka mu mbeera nzibu ne tulyoka tusalawo eky’okukola. Ebintu Ebyawandiikibwa bye bivumirira bitulagiddwa bulungi. Era kati enkwe za Sitaani tuzimanyi bulungi. Yesu yakemebwa ddi okufuula amayinja emigaati? Bwe yali ng’amaze okusiiba ennaku 40 era ‘ng’enjala emuluma.’ (Mat. 4:1-4) Sitaani asobola okumanya ddi we tubeerera abanafu era ne we kitubeerera ekyangu okugwa mu bikemo. N’olwekyo, kino kye kiseera okussaayo ennyo omwoyo ku nsonga zino. Tetusaanidde kubaako kintu kyonna kye twekwasa! Singa buli lunaku tujjukira obweyamo bwe twakola eri Yakuwa, kijja kutuyamba okuba abamalirivu okwewala ebintu ebitasaana.—Nge. 1:5; 19:20.
18, 19. (a) Njawulo ki eri wakati w’eriiso ‘eriraba awamu’ n’eryo “ebbi.” (b) Lwaki kikulu nnyo okulowoozanga ku bintu ebirungi, era kubuulirira ki okutuweebwa mu Abafiripi 4:8 ku nsonga eno?
18 Buli lunaku, twolekagana n’ebintu bingi ebisikiriza okulaba ebiyinza okutuwugula, era nga bigenda byeyongera obungi buli lukya. Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Yesu yatukubiriza okuba n’eriiso ‘eriraba awamu.’ (Mat. 6:22, 23) Eriiso ‘eriraba awamu’ liba ku kigendererwa kimu kyokka—kya kukola Katonda by’ayagala. Ku luuyi olulala, eriiso “ebbi” liba lya nkwe, lyegombi, era liba ku bintu ebitasaana.
19 Kijjukire nti ebintu bye tulaba biyingira mu birowoozo byaffe era ebintu ebiri mu birowoozo byaffe bikwata ku mutima gwaffe. N’olwekyo kikulu nnyo okulowoozanga ku bintu ebirungi. (Soma Abafiripi 4:8.) Ka ffenna tube ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyasaba nti: “Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu.” Bwe tunaakolera ku saala eyo, tujja kuba bakakafu nti Yakuwa ajja ‘kutukuumira mu makubo ge.’—Zab. 119:37; Beb. 10:36.
Kiki Kye Tujjukira Ku . . .
• kakwate akali wakati w’amaaso gaffe, ebirowoozo byaffe, n’omutima gwaffe?
• kabi akali mu kulaba ebintu eby’obugwenyufu?
• bukulu bw’okuba n’eriiso ‘eriraba awamu’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Bintu ki ebitasaana Abakristaayo bye balina okwewala okulaba?