LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 4/15 lup. 24-28
  • Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okukkiriza Obuvunaanyizibwa Katonda bw’Atuwadde
  • “Musooke Munoonyenga Obwakabaka”
  • Weekebere mu Bwesimbu
  • Ebyokulabirako mu Baibuli eby’Okugoberera
  • Nyiikirira Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • ‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • “Mwake n’Omwoyo”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/15 lup. 24-28

Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?

“Era nga bwe mutambula, mweyongere . . . bwe mutyo n’okusingawo.”​—1 BAS. 4:1.

1, 2. (a) Bintu ki eby’ekitalo abantu abaaliwo mu kiseera kya Yesu bye baalaba? (b) Lwaki ekiseera kyaffe nakyo kikulu nnyo?

WALI olowoozezza ku ngeri gye wandiwuliddemu singa waliwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi? Oyinza okulowooza ku ky’okuwonyezebwa Yesu, bw’otyo n’owona obulumi obuva ku bulwadde bw’oyolekagana nabwo. Oba oyinza okulowooza ku ssanyu lye wandifunye okulaba ku Yesu n’okuwulira ku ddoboozi lye​—okusobola okumuyigirako oba okumulaba ng’akola ebyamagero. (Mak. 4:1, 2; Luk. 5:3-9; 9:11) Nga yandibadde nkizo ya maanyi okubaawo nga Yesu akola ebintu ebyo byonna! (Luk. 19:37) Teri mulembe gwali guzzeemu kulaba ku bintu ng’ebyo, era Yesu bye yakola ku nsi “ng’ayitira mu ssaddaaka ye” tebigenda kuddibwamu nate.​—Beb. 9:26; Yok. 14:19.

2 Kyokka ekiseera kyaffe nakyo kikulu nnyo. Lwaki? Tuli mu kiseera ekyogerwako mu Byawandiikibwa ‘ng’ekiseera eky’enkomerero’ era ‘ng’ennaku ez’oluvannyuma.’ (Dan. 12:1-4, 9; 2 Tim. 3:1) Mu kiseera kino, Sitaani mwe yasuulirwa okuva mu ggulu. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kusibibwa era asuulibwe “mu bunnya.” (Kub. 12:7-9, 12; 20:1-3) Era mu kiseera kino kyennyini, tulina enkizo ey’ekitalo okulangirira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ mu nsi yonna, nga tubuulira abantu ku ssuubi ly’Olusuku lwa Katonda olunaatera okuggya​—omulimu ogutagenda kuddibwamu nate​—Mat. 24:14.

3. Bwe yali anaatera okulinnya mu ggulu, kiki Yesu kye yalagira abagoberezi be okukola, era kyandizingiddemu ki?

3 Bwe yali anaatera okulinnya mu ggulu, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Omulimu ogwo gwandizingiddemu okuyigiriza abantu mu nsi yonna. Na kigendererwa ki? Okufuula abantu abayigirizwa​—okwongera ku muwendo gw’abagoberezi ba Kristo​—ng’enkomerero tennajja. (Mat. 28:19, 20) Tulina kukola ki okusobola okutuukiriza obulungi omulimu Kristo gwe yatuwa?

4. (a) Ebigambo bya Peetero ebiri mu 2 Peetero 3:11, 12 biraga ki? (b) Kiki kye tulina okwegendereza?

4 Lowooza ku bigambo by’omutume Peetero bino: “Mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda, nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa.” (2 Peet. 3:11, 12) Ebigambo bya Peetero ebyo biraga obukulu bw’okusigala nga tutunula mu nnaku zino ez’oluvannyuma okukakasa nti tunyiikirira okukola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda. Ebikolwa ng’ebyo bizingiramu okubuulira amawulire amalungi. Nga kituwa essanyu lingi okulaba ng’ab’oluganda okwetooloola ensi bakola n’obunyiikivu omulimu guno ogw’okubuulira Kristo gwe yatuwa! Mu kiseera kye kimu, tulina okwegendereza okulaba nti ebizibu bye twolekagana nabyo mu nsi ya Sitaani awamu n’okwegomba kw’omubiri kwe twasikira tebituleetera kuddirira mu buweereza bwaffe eri Katonda. N’olwekyo, ka twetegereze ebimu ku bintu ebinaatuyamba okweyongera okugoberera Kristo.

Okukkiriza Obuvunaanyizibwa Katonda bw’Atuwadde

5, 6. (a) Lwaki Pawulo yasiima bakkiriza banne ab’omu Yerusaalemi, era yabalabula ku ki? (b) Lwaki obuvunaanyizibwa Katonda bw’atuwadde tusaanidde okubutwala ng’ekintu ekikulu?

5 Mu bbaluwa ye eri Abakristaayo b’omu Yerusaalemi, omutume Pawulo yasiima bakkiriza banne olw’obugumiikiriza bwe baayoleka nga bayigganyizibwa. Yagamba nti: “Mujjukirenga ennaku ezaayita ze mwafuniramu ekitangaala ne mugumiikiriza ensiitaano ey’amaanyi nga mubonaabona.” Yee, Yakuwa yajjukira obwesigwa bwabwe. (Beb. 6:10; 10:32-34) Ebigambo bya Pawulo ebyo ebyoleka okusiima birina okuba nga byazzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo abo Abebbulaniya. Kyokka, mu bbaluwa y’emu eyo, Pawulo era yabalabula ku muzze ogwandibaleetedde okuddirira mu buweereza bwabwe eri Katonda. Yakiraga nti Abakristaayo baalina okwewala okwekwasa obusongasonga obwandibalemesezza okukwata amateeka ga Katonda.​—Beb. 12:25.

6 Naffe leero tusaanidde okwewala okwekwasa obusongasonga obuyinza okutulemesa okukkiriza buvunaanyizibwa Katonda bw’atuwadde. Tulina okutwala obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo ng’ekintu ekikulu n’okufuba okulaba nti tetuddirira mu buweereza bwaffe eri Katonda. (Beb. 10:39) Kikulu okukijjukira nti okusobola okufuna obulamu oba okubufiirwa kisinziira nnyo ku ngeri gye tutwalamu obuweereza bwaffe obutukuvu.​—1 Tim. 4:16.

7, 8. (a) Kiki ekinaatuyamba obutaddirira mu buweereza bwaffe eri Katonda? (b) Bwe tukizuula nti tutandise okuddirira, kiki kye tusaanidde okujjukira ku Yakuwa ne Yesu?

7 Bintu ki ebinaatuyamba obuteekwasa busongasonga obuyinza okutulemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bw’atuwadde? Ekisookera ddala kwe kufumiitirizanga bulijjo ku makulu agali mu bweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Katonda. Bwe twakola obweyamo obwo, twasuubiza Yakuwa okukulembeza by’ayagala mu bulamu bwaffe era twagala okutuukiriza ekisuubizo ekyo. (Soma Matayo 16:24.) N’olwekyo, buli luvannyuma lwe kiseera tulina okwebuuza: ‘Nkyali mumalirivu okutuukiriza obweyamo bwange eri Katonda nga bwe kyali nga nnaakabatizibwa? Oba ŋŋenze nziririra emyaka bwe gigenze giyitawo?’

8 Bwe tukizuula nti tutandise okuddirira, kiba kirungi ne tujjukira ebigambo bya nnabbi Zeffaniya. Yagamba nti: “Emikono gyo gireme okuddirira. Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow’amaanyi anaalokola: alikusanyukira n’essanyu.” (Zef. 3:16, 17) Ebigambo bino ebizzaamu amaanyi okusookera ddala byali bikwata ku Baisiraeri ab’edda abaali bakomawo mu Yerusaalemi okuva mu buwambe e Babulooni. Naye era bisobola n’okuzzaamu amaanyi abantu ba Katonda leero. Okuva bwe kiri nti omulimu gwe tukola gwa Yakuwa, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa n’Omwana we batuwagira era batuzzaamu amaanyi nga tufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bw’atuwadde. (Mat. 28:20; Baf. 4:13) Bwe tufuba okukola omulimu gwa Katonda n’obunyiikivu, ajja kutuwa emikisa mingi era ajja kutuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.

“Musooke Munoonyenga Obwakabaka”

9, 10. Nsonga ki Yesu gye yayogerako mu lugero olukwata ku kijjulo ekinene, era lutuyigiriza ki?

9 Bwe yali ku kijjulo mu maka g’omu ku bafuzi b’Abafalisaayo, Yesu yagera olugero olukwata ku kijjulo ekinene. Mu lugero olwo, yayogera ku mukisa ogwaweebwa abantu ab’enjawulo ogwandibasobozesezza okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Era yalaga bulungi kye kitegeeza omuntu ‘okubaako kye yeekwasa.’ (Soma Lukka 14:16-21.) Mu lugero olwo, Yesu yakiraga nti abagenyi abayitibwa beekwasa obusongasonga ne balema okubaawo ku kijjulo. Omu yagamba nti yali ayagala kugenda kulaba nnimiro gye yali yaakagula. Omulala yagamba nti yali aguze ente era nga yali ayagala kugenda kuzeekenneenya. Ate omulala yagamba nti: “Nnaakawasa, n’olwekyo sisobola kujja.” Obwo bwonna bwali busongasonga. Omuntu agula ennimiro oba ebisolo asooka kubyekenneenya, n’olwekyo kiba tekimwetaagisa kupapa kuddamu kubyekenneenya ng’amaze okubigula. Ate nsonga ki ddala eyandiremesezza omuntu eyaakawasa okugenda ku kijjulo ng’ekyo ekyali ekikulu ennyo? Tekyewuunyisa nti eyali abayise yanyiiga nnyo!

10 Abantu ba Katonda bonna balina ekintu ekikulu kye bayiga mu lugero lwa Yesu olwo. Kintu ki ekyo? Tetusaanidde kuleka bintu byaffe ku bwaffe, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu lugero lwa Yesu, kutulemesa kuteeka buweereza bwaffe eri Katonda mu kifo ekisooka. Singa Omukristaayo tateeka bintu bibye ku bubwe mu kifo kituufu, ekyo kisobola okumuleetera okugenda ng’addirira mpolampola mu buweereza bwe. (Soma Lukka 8:14.) Ekyo okusobola okukyewala, tulina okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Kale musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe.” (Matt. 6:33) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba ng’abaweereza ba Katonda​—abato n’abakulu​—bakolera ku bigambo ebyo! Mu butuufu, bangi bakoze kyonna ekisoboka okulaba nti baba n’obulamu obwangu basobole okwongera ku biseera bye bamala mu buweereza bwabwe. Bakirabye bulungi nti okusooka okunoonya obwakabaka kivaamu essanyu erya nnamaddala n’obumativu.

11. Kyakulabirako ki ekiri mu Baibuli ekiraga obukulu bw’okuweereza Katonda n’obunyiikivu era n’omutima gwaffe gwonna?

11 Okusobola okutegeera obulungi obukulu bw’okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda, lowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Kabaka Yowaasi owa Isiraeri. Olw’okutya nti Abasuuli baali bayinza okuwangula Abaisiraeri, Yowaasi yagenda eri nnabbi Erisa ng’akaaba. Nnabbi oyo yamulagira okulasa akasaale ng’akayisa mu ddirisa akoolekeze Busuuli, ekyayoleka nti Yakuwa yandibasobozesezza okuwangula eggwanga eryo. Kino kirina okuba nga kyazzaamu nnyo kabaka oyo amaanyi. Oluvannyuma Erisa yagamba Yowaasi okulasa obusaale bwe ku ttaka. Yowaasi yalasa ku ttaka emirundi essatu gyokka. Kino kyanyiiza nnyo Erisa, kubanga okulasa obusaale ku ttaka emirundi etaano oba mukaaga kyanditegeezezza ‘okukuba Obusuuli okutuusa lwe yandibuzikirizza.’ Kati Yowaasi yandiwangudde Obusuuli emirundi esatu gyokka. Olw’okuba Yowaasi teyayoleka bunyiikivu, n’obuwanguzi bwe bwali butono. (2 Bassek. 13:14-19) Kino kituyigiriza ki? Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi singa tukola omulimu gwe n’obunyiikivu era n’omutima gwaffe gwonna.

12. (a) Bintu ki ebinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda wadde nga twolekagana n’ebizibu? (b) Okuba n’eby’okukola ebingi mu buweereza bwo kikuganyula kitya?

12 Ebizibu bye tufuna mu bulamu biyinza okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe eri Katonda. Ab’oluganda bangi boolekagana n’ebizibu eby’eby’enfuna. Abalala baggwaamu amaanyi olw’obulwadde obw’amaanyi obubalemesa okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe eri Yakuwa. Wadde kiri kityo, buli omu ku ffe asobola okubaako ky’akolawo okusigala nga munyiikivu era ng’agoberera Kristo mu bujjuvu. Weetegereze amagezi awamu n’ebyawandiikibwa ebiri mu kasanduuko akaliko omutwe ogugamba nti “Bintu Ki Ebinaakuyamba Okweyongera Okugoberera Kristo?” Lowooza ku ngeri gy’oyinza okussa mu nkola amagezi ago. Bw’onookola bw’otyo ojja kufuna emikisa mingi. Bwe tubeera n’eby’okukola ebingi mu buweereza bwaffe, kijja kutuyamba obutasagasagana, kijja kufuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu, era kijja kutuwa essanyu lingi n’emirembe. (1 Kol. 15:58) Ate era okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna kituyamba ‘okukuumira ebirowoozo byaffe ku kujja kw’olunaku lwa Yakuwa.’​—2 Peet. 3:12.

Weekebere mu Bwesimbu

13. Tuyinza tutya okukakasa obanga tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna?

13 Kikulu okukijjukira nti okuweereza n’omutima gwaffe gwonna tekisinziira ku bungi bwa biseera bye tumala mu buweereza bw’ennimiro. Embeera zaffe za njawulo. Omuntu ne bw’amala essaawa emu oba bbiri mu buweereza bw’ennimiro asobola okusiimibwa Yakuwa bwe kiba nga ddala ekyo obulamu bwe kye bumusobozesa okukola. (Geraageranya Makko 12:41-44.) N’olwekyo, okusobola okukakasa nti tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, tulina okwekebera mu bwesimbu okulaba obanga ddala ekyo kye tukola kye kiggya mu busobozi bwaffe ne mu mbeera zaffe. Ng’abagoberezi ba Kristo, twagala okukakasa nti endowooza yaffe etuukana n’eyiye. (Soma Abaruumi 15:5; 1 Kol. 2:16) Kiki Yesu kye yakulembezanga mu bulamu bwe? Yagamba ekibiina ky’abantu abaali e Kaperunawumu nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda . . . kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:43; Yok. 18:37) Ng’olowooza ku bunyiikivu Yesu bwe yayoleka mu buweereza bwe, tunula mu mbeera zo olabe obanga naawe osobola okugaziya ku buweereza bwo.​—1 Kol. 11:1.

14. Tusobola tutya okugaziya ku buweereza bwaffe?

14 Bwe tutunula mu mbeera zaffe tuyinza okukiraba nti tusobola okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza bwaffe. (Mat. 9:37, 38) Ng’ekyokulabirako, abavubuka bangi abamalirizza emisomo gyabwe bagaziyizza ku buweereza bwabwe nga baweereza nga bapayoniya, era ekyo kibaleetedde essanyu lingi. Naawe wandyagadde okufuna ku ssanyu eryo? Ab’oluganda abamu basazeewo okugenda mu bitundu ebirala ebiri mu nsi yaabwe oba mu nsi endala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Abalala bafubye okuyiga ennimi endala basobole okuyamba abantu aboogera ennimi engwira. Wadde kiyinza obutaba kyangu okugaziya ku buweereza bwaffe, okukikola kivaamu emikisa mingi, era kiyinza okuyamba abantu bangi ‘okutegeerera ddala amazima.’​—1 Tim. 2:3, 4; 2 Kol. 9:6.

Ebyokulabirako mu Baibuli eby’Okugoberera

15, 16. Byakulabirako ki ebisobola okutuyamba okuba abagoberezi ba Kristo abanyiikivu?

15 Abamu ku abo abaafuuka abatume ba Kristo baakola ki ng’abayise okumugoberera? Ng’eyogera ku Matayo, Baibuli egamba nti: “[Y]aleka buli kimu, n’ayimuka n’amugoberera.” (Luk. 5:27, 28) Ate kyali kitya ku Peetero ne Andereya be yasanga nga bavuba, tusoma nti: “Amangu ago [ba]aleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.” Oluvannyuma Yesu yalaba Yakobo ne Yokaana abaali ne kitaabwe nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Baakola ki nga Yesu abayise? “Amangu ago [ba]aleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera.”​—Mat. 4:18-22.

16 Ekyokulabirako ekirala kye kya Sawulo, oluvannyuma eyafuuka omutume Pawulo. Wadde nga yali ayigganya nnyo abagoberezi ba Kristo, yaleka ekkubo lye ebbi n’afuuka ‘ekibya ekironde’ okuwa obujulirwa ku linnya lya Kristo. “Amangu ago [Pawulo yatandika] okubuulira mu makuŋŋaaniro nti Yesu ye Mwana wa Katonda.” (Bik. 9:3-22) Wadde nga yayolekagana n’ebizibu bingi nga kw’otadde n’okuyigganyizibwa, Pawulo teyaddirira mu buweereza bwe.​—2 Kol. 11:23-29; 12:15.

17. (a) Kiki ky’oyagala okukola bwe kituuka ku kugoberera Kristo? (b) Mikisa ki gye tufuna olw’okukola Yakuwa by’ayagala n’omutima gwaffe gwonna n’amaanyi gaffe gonna?

17 Awatali kubuusabuusa, twagala okukoppa ebyokulabirako by’abayigirizwa abo nga tusitukiramu okugoberera Kristo mu bujjuvu. (Beb. 6:11, 12) Mikisa ki gye tufuna bwe tufuba okugoberera Kristo mu bujjuvu? Tufuna essanyu erya nnamaddala mu kukola Katonda by’ayagala era tufuna obumativu obuva mu kukkiriza enkizo endala ez’obuweereza n’obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Zab. 40:8; soma 1 Abassessaloniika 4:1.) Yee, bwe tufuba okugoberera Kristo, tufuna emikisa mingi omuli emirembe mu mutima, obumativu, okusiimibwa Katonda, era tuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwawo.​—1 Tim. 4:10.

Ojjukira?

• Mulimu ki omukulu ogwatuweebwa, era tusaanidde kugutwala tutya?

• Muze ki gwe tusaanidde okwewala, era lwaki?

• Lwaki tusaanidde okwekebera mu bwesimbu?

• Bintu ki ebinaatuyamba okweyongera okugoberera Kristo?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Bintu Ki Ebinaakuyamba Okweyongera Okugoberera Kristo?

▪ Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, era ofumiitirize ku ebyo by’osoma.​—Zab. 1:1-3; 1 Tim. 4:15.

▪ Saba Katonda bulijjo akuwe omwoyo gwe gukuyambe era gukuwe obulagirizi.​—Zek. 4:6; Luk. 11:9, 13.

▪ Kolagana n’abo abatwala omulimu gw’okubuulira ng’ekintu ekikulu.​—Nge. 13:20; Beb. 10:24, 25.

▪ Tegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu.​—Bef. 5:15, 16.

▪ Fuba okujjukiranga akabi akali mu ‘kwekwasa’ obusongasonga​—Luk. 9:59-62.

▪ Fubanga bulijjo okufumiitiriza ku bweyamo bwe wakola nga weewaayo eri Katonda era n’emikisa egy’ekitalo egiva mu kuweereza Yakuwa n’okugoberera Kristo n’omutima gwo gwonna.​—Zab. 116:12-14; 133:3; Nge. 10:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share