LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 9/15 lup. 25-29
  • Yakuwa Akumanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Akumanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kitaawe w’Abo Ababa n’Okukkiriza
  • Yoleka Okukkiriza Kwo ng’Olindirira Yakuwa
  • Enjawulo eri Wakati w’Obwetoowaze n’Amalala
  • Tulina Okuba Abeetoowaze bwe Tuba ab’Okugondera Yakuwa
  • Yakuwa Amanyi Ababe
  • Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Baajeemera Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 9/15 lup. 25-29

Yakuwa Akumanyi?

“Yakuwa amanyi ababe.”​—2 TIM. 2:19.

1, 2. (a) Kintu ki Yesu kye yali atwala ng’ekikulu mu bulamu bwe? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

LUMU Omufalisaayo yabuuza Yesu nti: “Tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” Yesu yamuddamu nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Mat. 22:35-37) Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. Engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe yalaga nti yali ayagala nnyo okukola Yakuwa by’ayagala. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali anaatera okufa, yali asobola okwogera ku buwulize bwe eri Katonda, ng’agamba nti: “Nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.”​—Yok. 15:10.

2 Leero bangi bagamba nti baagala Katonda. Tewali kubuusabuusa nti naffe bwe tutyo bwe tugamba. Naye waliwo ebibuuzo ebikulu buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza: ‘Yakuwa ammanyi? Yakuwa antwala atya? Yakuwa antwala ng’omu ku bantu be?’ (2 Tim. 2:19) Nga nkizo ya maanyi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna!

3. Lwaki abamu kibazibuwalira okukkiriza nti basobola okuba abantu ba Yakuwa, naye kiki ekiyinza okubayamba okukyusa endowooza yaabwe?

3 Kyokka, n’abantu abamu abaagala Yakuwa kibazibuwalira okukkiriza nti basobola okuba mikwano gye. Abamu bawulira nga tebasaana mu maaso ga Yakuwa, bwe kityo balowooza nti tebasobola kuba bantu be. Naye nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda ye atunuulira mutima! (1 Sam. 16:7) Omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’ayagala Katonda, Katonda aba amanyi omuntu oyo.” (1 Kol. 8:3) Oteekwa okwagala Yakuwa bw’aba ow’okukumanya. Lowooza ku kino: Lwaki osoma magazini eno? Lwaki ofuba okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna? Bw’oba nga weewaayo eri Katonda era n’obatizibwa, kiki ekyakukubiriza okukola ekyo? Bayibuli egamba nti Yakuwa, Oyo akebera emitima, aleeta ebyegombebwa gy’ali. (Soma Kaggayi 2:7; Yokaana 6:44.) N’olwekyo, ba mukakafu nti oweereza Yakuwa olw’okuba ye yakuleeta gy’ali. Tasobola kwabulira abo be yaleeta gy’ali kasita basigala nga beesigwa gy’ali. Katonda abatwala nga ba muwendo nnyo era abaagala nnyo.​—Zab. 94:14.

4. Lwaki enkolagana gye tulina ne Katonda tusaanidde okugitwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo?

4 Yakuwa bw’amala okutuleeta gy’ali, twetaaga okufuba okusobola okusigala mu kwagala kwe. (Soma Yuda 20, 21.) Kijjukire nti Bayibuli eraga nti omuntu asobola okuwaba n’ava ku Katonda. (Beb. 2:1; 3:12, 13) Ng’ekyokulabirako, bwe yali tannayogera bigambo ebiri mu 2 Timoseewo 2:19, omutume Pawulo yayogera ku Kumenayo ne Fireeto. Kirabika mu kusooka abasajja abo ababiri baali baweereza ba Yakuwa, naye oluvannyuma ne bava mu mazima. (2 Tim. 2:16-18) Abamu mu kibiina ky’e Ggalatiya abaali bamanyiddwa Katonda nabo oluvannyuma baava mu mazima. (Bag. 4:9) Tusaanidde okutwala enkolagana gye tulina ne Katonda ng’ekintu eky’omuwendo ennyo.

5. (a) Ezimu ku ngeri ze twetaaga okuba nazo okusobola okumanyibwa Katonda ze ziruwa? (b) Byakulabirako ki bye tugenda okulaba?

5 Waliwo engeri ze twetaaga okuba nazo bwe tuba ab’okumanyibwa Yakuwa. (Zab. 15:1-5; 1 Peet. 3:4) Ezimu ku ngeri ezo kwe kukkiriza n’obwetoowaze. Tugenda kulaba ebyokulabirako by’abasajja babiri Yakuwa be yayagala ennyo olw’okuba baayoleka engeri ezo. Era tujja kulaba n’ekyokulabirako ky’omusajja eyali alowooza nti amanyiddwa Katonda naye olw’okuba yalina amalala, Yakuwa yamugaana. Waliwo ebintu bye tusobola okuyiga okuva mu byokulabirako ebyo.

Kitaawe w’Abo Ababa n’Okukkiriza

6. (a) Ibulayimu yakiraga atya nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa? (b) Kitegeeza ki okuba nti Yakuwa yali amanyi Ibulayimu?

6 Ibulayimu yalina ‘okukkiriza’ okw’amaanyi mu Yakuwa. Mu butuufu, ayitibwa “kitaawe w’abo bonna ababa n’okukkiriza.” (Lub. 15:6; Bar. 4:11) Olw’okuba yalina okukkiriza, Ibulayimu yaleka ensi ye, mikwano gye, n’ebintu bye n’agenda mu nsi ey’ewala. (Lub. 12:1-4; Beb. 11:8-10) Ibulayimu yakuuma okukkiriza kwe nga kunywevu. Kino tukirabira ku ekyo Ibulayimu kye yakola nga wayiseewo emyaka mingi bwe yagondera ekiragiro kya Yakuwa okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. (Beb. 11:17-19) Olw’okuba Ibulayimu yakiraga nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa, Katonda yatwala Ibulayimu nga wa muwendo; Katonda yali amanyi Ibulayimu. (Soma Olubereberye 18:19.) Kino kitegeeza nti Yakuwa teyakoma ku kukimanya bumanya nti Ibulayimu gy’ali; yali amutwala nga mukwano gwe.​—Yak. 2:22, 23.

7. Kiki Ibulayimu kye yali amanyi ku bisuubizo bya Yakuwa, era ekyo kyamukwatako kitya?

7 Kyo kituufu nti Ibulayimu we yafiira, yali tannafuna busika mu nsi Yakuwa gye yali amusuubizza. Era teyalaba kutuukirizibwa kw’ekisuubizo ekikwata ku zzadde lye okufuuka “ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja.” (Lub. 22:17, 18) Wadde ng’ebisuubizo ebyo tebyatuukirira mu kiseera kye, Ibulayimu yasigala ng’alina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Yali mukakafu nti Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye. Yee, engeri Ibulayimu gye yatambuzaamu obulamu bwe yalaga nti yalina okukkiriza. (Soma Abebbulaniya 11:13.) Naffe Yakuwa atumanyi ng’abantu abalina okukkiriza ng’okwa Ibulayimu?

Yoleka Okukkiriza Kwo ng’Olindirira Yakuwa

8. Ebimu ku bintu abantu abasinga obungi bye baagala ennyo bye biruwa?

8 Tuyinza okuba nga tulina ebintu bye twagala ennyo, gamba ng’okuyingira obufumbo, okuzaala abaana, n’okuba abalamu obulungi. Si kikyamu okwagala ebintu ebyo. Naye abasinga obungi ku ffe tuyinza obutafuna bintu ebyo. Singa waliwo ekintu kye twagala ennyo naye nga tetusobola kukifuna mu kiseera kino, kiki kye twandikoze? Engeri gye tweyisaamu mu mbeera eyo esobola okulaga obanga tulina okukkiriza okw’amaanyi.

9, 10. (a) Kiki abamu kye bakoze okusobola okufuna ebyo bye baagala? (b) Kiki ky’osaanidde okujjukira bwe kituuka ku kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda?

9 Nga kiba kya busirusiru okuva ku bulagirizi bwa Katonda nga tugezaako okufuna bye twagala. Ekyo kisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, abamu basazeewo okufuna obujjanjabi obukontana n’emisingi gya Bayibuli. Abalala basazeewo okukola emirimu egitabasobozesa kubeerako wamu na ba mu maka gaabwe oba okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ate kiri kitya ku kutandika okwogerezaganya n’omuntu atali mukkiriza? Singa Omukristaayo asalawo okwogerezeganya n’omuntu atali mukkiriza, ddala aba akiraga nti ayagala okumanyibwa Yakuwa? Yakuwa yandiwulidde atya singa Ibulayimu yalekera awo okuba omugumiikiriza ku bikwata ku kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda? Ate kiri kitya singa Ibulayimu yasalawo okuddayo mu bulamu bwe yalimu n’okwekolera erinnya mu kifo ky’okulindirira Yakuwa? (Geraageranya Olubereberye 11:4.) Yandisigadde ng’amanyiddwa Yakuwa?

10 Bintu ki by’oyagala ennyo? Olina okukkiriza okw’amaanyi okunaakuyamba okulindirira Yakuwa akuwe ebintu ebyo? (Zab. 145:16) Nga bwe kyali eri Ibulayimu, ebimu ku bisuubizo bya Katonda biyinza obutatuukirira mu kiseera mwe twandyagalidde bituukirire. Naye bwe tweyongera okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi nga Ibulayimu, Yakuwa tajja kutwerabira. Ajja kutuwa emikisa.​—Beb. 11:6.

Enjawulo eri Wakati w’Obwetoowaze n’Amalala

11. Kiki Koola kye yali akoze okumala emyaka mingi?

11 Musa ne Koola beeyisa mu ngeri ya njawulo bwe kyatuuka ku kussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ne mu ebyo bye yabanga asazeewo. Engeri gye beeyisaamu erina kinene kye yakola ku ngeri Yakuwa gye yabatwalamu. Koola yali Muleevi Omukokasi. Oboolyawo yafuna omukisa okulaba engeri ey’ekitalo Yakuwa gye yanunulamu Abaisiraeri n’abayisa mu Nnyanja Emmyufu. Koola era yawagira ekyo Yakuwa kye yakola okubonereza Abaisiraeri abajeemu ku Lusozi Sinaayi, ate era yali omu ku abo abaasitulanga ssanduuko y’endagaano. (Kuv. 32:26-29; Kubal. 3:30, 31) Yali amaze emyaka mingi nga mwesigwa eri Yakuwa, era ng’ekyo kyali kireetedde Abaisiraeri bangi okumussaamu ekitiibwa.

12. Nga bwe kiragibwa ku lupapula 28, amalala gaaleetera gatya Koola okufiirwa enkolagana gye yalina ne Katonda?

12 Naye Abaisiraeri bwe baali ku lugendo nga bagenda mu Nsi Ensuubize, Koola yatandika okulowooza nti engeri Katonda gye yali akulemberamu abantu be teyali ntuufu. Abasajja abalala 250 abaali abakulu mu ggwanga lya Isiraeri badda ku ludda lwa Koola nga nabo baagala wabeewo enkyukakyuka. Koola ne banne bateekwa okuba nga baali balowooza nti baalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Baagamba Musa nti: “Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo.” (Kubal. 16:1-3) Nga baalina amalala era nga baali beekakasa ekisukkiridde! Musa yabagamba nti: “Mukama anaalaga ababe bwe bali.” (Soma Okubala 16:5.) We bwakeerera, Koola ne bajeemu banne bonna baali bafu.​—Kubal. 16:31-35.

13, 14. Musa yakiraga atya nti yali mwetoowaze?

13 Obutafaananako Koola, Musa “yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu abaali ku nsi yonna.” (Kubal. 12:3) Yayoleka obuwombeefu n’obwetoowaze ng’akolera ddala ebyo Yakuwa bye yamulagira okukola. (Kuv. 7:6; 40:16) Bayibuli terina weeragira nti Musa yawakanyanga ekyo Yakuwa kye yabanga amugambye okukola oba nti kyamunyiizanga okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yalagira Musa okuzimba weema entukuvu, yamubuulira kalonda yenna akwata ku ngeri y’okugizimbamu. Muno mwe mwali langi ya wuzi awamu n’omuwendo gw’eŋŋango ezandikozeseddwa mu kukola emitanda gya weema. (Kuv. 26:1-6) Singa omulabirizi mu kibiina kya Yakuwa akuwa obulagirizi ku ngeri y’okukolamu ekintu naye ng’owulira nti ebyo by’akugamba biyitiridde obungi, oluusi oyinza okuwulira nga weenyiyiddwa. Kyokka, Yakuwa ye mulabirizi atuukiridde era awa abaweereza be obuvunaanyizibwa nga mukakafu nti bajja kusobola okubutuukiriza. Bw’atugamba eby’okukola, ka bibe bingi bitya, akikola ku lwa bulungi bwaffe. Yakuwa bwe yamugamba okukola ebintu ebiwerako, Musa teyanyiiga ng’alowooza nti Yakuwa yali amunyoomye oba nti yali amuggyeko eddembe lye. Mu kifo ky’ekyo, Musa yakakasa nti abo abaali bakola omulimu bagukolera ddala nga Katonda bwe yali alagidde. (Kuv. 39:32) Nga Musa yayoleka obwetoowaze! Yali akimanyi nti omulimu gwali gwa Yakuwa era nti yali amukozesa bukozesa okukola omulimu ogwo.

14 Musa era yakiraga nti yali mwetoowaze ne bwe yali ng’ayolekagana n’embeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, abantu bwe beemulugunya nti tebaalina mazzi, Musa yalemererwa okwefuga n’atatukuza Katonda mu maaso g’ekibiina ky’abaana ba Isiraeri. N’ekyavaamu, Yakuwa yagamba Musa nti teyanditutte bantu ba Katonda mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 20:2-12) Musa ne muganda we, Alooni, baali bamaze emyaka mingi nga bagumiikiriza Abaisiraeri abaali beemulugunya. Naye olw’ensobi eyo emu gye yakola, Musa teyali wa kulaba ku kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kye yali amaze ebbanga eddene ng’alindirira! Musa yeeyisa atya? Wadde ng’ekyo kyamumalamu nnyo amaanyi, Musa yayoleka obwetoowaze n’akkiriza ekyo Yakuwa kye yali asazeewo. Yali akimanyi nti Yakuwa Katonda mutuukirivu era nti amakubo ge gonna ga bwenkanya. (Ma. 3:25-27; 32:4) Tewali kubuusabuusa kwonna nti Musa yali amanyiddwa Yakuwa.​—Soma Okuva 33:12, 13.

Tulina Okuba Abeetoowaze bwe Tuba ab’Okugondera Yakuwa

15. Ekyokulabirako kya Koola omusajja eyalina amalala kituyigiriza ki?

15 Okusobola okumanyibwa Yakuwa tulina okukkiriza enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu kibiina Ekikristaayo era tulina n’okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Koola ne banne beeyawula ku Katonda olw’okuba baali beekakasa ekisukkiridde, baalina amalala, era tebaalina kukkiriza. Wadde nga Koola yali akitwala nti Musa, omusajja eyali akaddiye, bye yali abagamba okukola byali bibye ku bubwe, ekituufu kiri nti Yakuwa ye yali akulembera abantu be. Ekyo Koola yalemererwa okukitegeera, bwe kityo n’agaana okugondera abo Katonda be yali akozesa. Kyandibadde kya magezi Koola okulindirira Yakuwa amuyambe okutegeera ensonga lwaki ebintu byali bikolebwa mu ngeri gye byali bikolebwamu oba okumulindirira akole enkyukakyuka bwe kyandibadde kyetaagisa. Ku nkomerero ya byonna, Koola yayonoona erinnya eddungi lye yali akoze mu myaka emingi gye yamala ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa!

16. Okukoppa ekyokulabirako kya Musa eky’obwetoowaze kisobola kitya okutuyamba okumanyibwa Yakuwa?

16 Ebyo bye tusoma ku Koola birina kinene kye biyigiriza abakadde leero awamu n’abalala mu kibiina Ekikristaayo. Tulina okuba abeetoowaze bwe tuba ab’okulindirira Yakuwa n’okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Naffe tukiraga nti tuli beetoowaze era nti tuli bawombeefu nga Musa? Tukikkiriza nti Yakuwa y’akozesa abo abatwala obukulembeze mu kibiina ne kiba nti tuli beetegefu okukolera ku bulagirizi bwonna bwe batuwa? Tusobola okwefuga nga waliwo ekintu ekitumazeemu amaanyi? Bwe kiba kityo, naffe tujja kusobola okumanyibwa Yakuwa. Yakuwa ajja kutwagala nnyo singa tuba bawulize era singa tuba beetoowaze.

Yakuwa Amanyi Ababe

17, 18. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli bantu ba Yakuwa?

17 Kikulu nnyo okulowooza ku byokulabirako by’abo Yakuwa be yaleeta gy’ali era be yali amanyi nga mikwano gye. Ibulayimu ne Musa baali tebatuukiridde era baalina obunafu nga naffe bwe tulina. Kyokka, Yakuwa yali abamanyi era ng’abatwala ng’abantu be. Ku luuyi olulala, ekyokulabirako kya Koola kiraga nti tusobola okuva ku Yakuwa n’alekera awo okutumanya, bwe kityo ne tulekera awo okuba nga tusiimibwa mu maaso ge. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Yakuwa antwala atya? Kiki kye njize okuva mu byokulabirako bye tulabye mu kitundu kino?’

18 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa atwala abaweereza be abeesigwa b’aleese gy’ali ng’abantu be. N’olwekyo, weeyongere okukulaakulanya okukkiriza, obwetoowaze, n’engeri endala ennungi ezisobola okukuyamba okwongera okuba ow’omuwendo eri Katonda waffe. Okumanyibwa Yakuwa nkizo ya maanyi nnyo. Abo abasiimibwa Yakuwa, balina obulamu obumatiza kati era bajja kufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso.​—Zab. 37:18.

Okyajjukira?

• Kitegeeza ki okumanyibwa Yakuwa?

• Oyinza otya okukoppa ekyokulabirako kya Ibulayimu eky’okukkiriza?

• Ebyokulabirako bya Koola ne Musa bituyigiriza ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Okufaananako Ibulayimu, naffe tukkiriza nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye byonna?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Koola teyali mwetoowaze era teyali muwulize

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Yakuwa akumanyi ng’omuntu omuwombeefu era omuwulize?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share