LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 5/15 lup. 17-21
  • Weesige Yakuwa Katonda ‘ow’Ebiro n’Ebiseera’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weesige Yakuwa Katonda ‘ow’Ebiro n’Ebiseera’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBINTU YAKUWA BYE YATONDA
  • OBUNNABBI OBWATUUKIRIZIBWA
  • KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO
  • WEESIGE YAKUWA, KATONDA ATUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE MU KISEERA EKITUUFU
  • LINDIRIRA YAKUWA
  • Obwakabaka Bwa Katonda Bufuga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yigira ku Bunnabbi Obuli mu Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 5/15 lup. 17-21

Weesige Yakuwa Katonda ‘ow’Ebiro n’Ebiseera’

“Awaanyisa ebiro n’ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka.”​—DAN. 2:21.

WANDIZZEEMU OTYA?

Ebintu Yakuwa bye yatonda n’obunnabbi obwatuukirira biraga bitya nti ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu?

Okukimanya nti Yakuwa ye Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera’ kitukubiriza kukola ki?

Lwaki ebintu ebiriwo mu nsi n’ebyo abantu bye bateekateeka okukola tebiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye?

1, 2. Kiki ekiraga nti Yakuwa ategeera bulungi ebiseera?

EDDA ennyo nga Yakuwa Katonda tannaba na kutonda bantu, yateekawo ebintu ebiyamba mu kupima ebiseera. Ku lunaku olw’okuna bwe yali ng’atonda ebintu, Katonda yagamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery’eggulu, byawulenga emisana n’ekiro: bibenga [o]bubonero, n’ebiro, n’ennaku n’emyaka.” (Lub. 1:14, 19, 26) Era bwe kityo bwe kyali ddala nga Yakuwa bwe yagamba.

2 Kyokka ebiseera kye kintu ekikyalemye bannasayansi okunnyonnyola obulungi. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Tewali n’omu asobola kunnyonnyola ‘biseera’ kye ki.” Naye ye Yakuwa ebiseera abitegeera bulungi okuva bwe kiri nti ye ‘yatonda eggulu, era ye yabumba ensi n’agikola.’ Ate era Yakuwa ‘y’alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n’ebigambo ebitannakolebwa okuva mu biro eby’edda.’ (Is. 45:18; 46:10) Kati ka twetegereze engeri ebintu Yakuwa bye yatonda awamu n’obunnabbi obutuukiriziddwa gye biraga nti Yakuwa ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa ne mu Kigambo kye, Bayibuli.

EBINTU YAKUWA BYE YATONDA

3. Byakulabirako ki ebiraga nti ebitonde ebiri mu bwengula bitambulira ku biseera?

3 Mu bwengula mulimu ebintu bingi ebitambulira ku biseera. Ng’ekyokulabirako, enjuba n’emmunyeenye bitambulira ku biseera ne kiba nti tusobola n’okumanya ekifo we bijja okubeera ku ggulu nga tebinnaba na kutuukawo. Ekyo kituyamba okumanya ebiseera n’okumanya oluuyi lwe tuba twolekedde nga tutambula. Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatonda ebintu ebyo, ekyo kiraga nti alina amaanyi mangi era tusaanidde okumutendereza.​—Soma Isaaya 40:26.

4. Okuba nti ebitonde ebirina obulamu bikolera ku biseera, kiraga kitya nti Katonda alina amagezi mangi nnyo?

4 Ebitonde ebirina obulamu nabyo bikolera ku biseera. Ebimera bingi n’ebisolo biringa ebirina essaawa eyabitonderwamu munda. Eyo ye nsonga lwaki ebinyonyi bingi bimanyi ekiseera eky’okusengukiramu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. (Yer. 8:7) Abantu nabo balinga abalina essaawa eyabatonderwamu munda. Emibiri gyaffe gisobola okumanya obanga obudde bwa kiro oba bwa misana. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu abadde amanyiiridde okukola emisana nga yeebaka kiro akyusa n’atandika okukola ekiro nga yeebaka misana, omubiri gwe kiyinza okugutwalira ekiseera okumanyiira embeera eyo. Mu butuufu, waliwo ebintu bingi Yakuwa bye yatonda ebiraga nti ye Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera,’ era nti alina amagezi mangi n’amaanyi mangi nnyo. (Soma Zabbuli 104:24.) Olw’okuba Yakuwa alina amagezi mangi n’amaanyi mangi, tuli bakakafu nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye.

OBUNNABBI OBWATUUKIRIZIBWA

5. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera ebinaabaawo mu kiseera eky’omu maaso? (b) Lwaki Yakuwa asobola okutubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso n’ekiseera we binaabeererawo?

5 Wadde ng’ebintu Yakuwa bye yatonda bituyamba okumanya “engeri ze ezitalabika,” waliwo ebintu ebimu bye bitasobola kutuyamba kumanya. Ng’ekyokulabirako, ebintu bye yatonda tebisobola kutuyamba kumanya ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Bar. 1:20) Okusobola okumanya ebintu ebyo, tuba tulina okwekenneenya Ekigambo kya Katonda, Bayibuli. Mu Bayibuli mulimu obunnabbi bungi obwatuukirira mu kiseera ekituufu! Yakuwa asobola okutubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso olw’okuba abimanyi bulungi. Ate era obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira mu kiseera ekituufu olw’okuba Yakuwa asobozesa ebintu okubaawo mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kye era abisobozesa okubaawo mu kiseera kye ekigereke.

6. Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala tutegeere obunnabbi obuli mu Bayibuli?

6 Yakuwa ayagala abantu be bategeere obunnabbi obuli mu Kigambo kye era babuganyulwemu. Wadde nga Katonda tatunuulira biseera nga ffe bwe tubitunuulira, bw’aba ayogera ku kiseera ekintu ekimu we kinaabeererawo, akozesa ebigambo bye tusobola okutegeera. (Soma Zabbuli 90:4.) Ng’ekyokulabirako, ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku “bamalayika abana” ‘abategekeddwa essaawa n’olunaku n’omwezi n’omwaka.’ Ffenna tutegeera bulungi ebigambo essaawa, olunaku, omwezi, n’omwaka. (Kub. 9:14, 15) Okwetegereza obunnabbi obwatuukirizibwa mu kiseera kyennyini Katonda kye yali ataddewo, kijja kunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera’ awamu ne mu Kigambo kye, Bayibuli. Ka tulabeyo ebyokulabirako.

7. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Yeremiya obukwata ku Yerusaalemi ne Yuda, kiraga kitya nti Yakuwa ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu?

7 Ka tusooke twetegereze ekintu ekyaliwo mu kyasa eky’omusanvu E.E.T. “Mu mwaka ogw’okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda,” Omukuumi w’Ebiseera Omukulu yabuulira Yeremiya ekyo ekyali kigenda okutuuka ku bantu ba Yuda. (Yer. 25:1) Yakuwa yagamba nti Abababulooni baali bagenda kuzikiriza Yerusaalemi era baggye Abayudaaya mu nsi ya Yuda babatwale mu buwambe e Babulooni. Nga bali eyo, Abayudaaya baali ba ‘kuweereza kabaka w’e Babulooni okumala emyaka nsanvu.’ Mu mwaka gwa 607 E.E.T., Abababulooni baazikiriza Yerusaalemi era ne batwala Abayudaaya mu buwambe e Babulooni. Naye kiki ekyali kigenda okubaawo oluvannyuma lw’emyaka 70? Nnabbi Yeremiya yagamba nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Emyaka nsanvu bwe [giriggwaako nga muli e Babulooni], ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino.” (Yer. 25:11, 12; 29:10) Obunnabbi obwo bwatuukirira mu kiseera kyennyini ekyalagulwa, Abameedi n’Abaperusi bwe bakkiriza Abayudaaya okuva e Babulooni okuddayo mu Yuda mu mwaka gwa 537 E.E.T.

8, 9. Obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kujja kwa Masiya n’okuteekebwawo kw’Obwakabaka obw’omu ggulu bulaga butya nti Yakuwa ye Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera’?

8 Lowooza ku bunnabbi obulala obwayogerwa ng’ebula emyaka ng’ebiri Abayudaaya bave e Babulooni. Ng’ayitira mu nnabbi Danyeri, Katonda yagamba nti Masiya yali wa kulabika nga wayise emyaka 483 oluvannyuma lw’ekiragiro ky’okuddamu okuzimba Yerusaalemi okuyisibwa. Kabaka wa Bumeedi ne Buperusi yayisa ekiragiro ekyo mu mwaka gwa 455 E.E.T. Nga wayise emyaka 483 gyennyini, mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu ow’e Naazaleesi, bwe yali abatizibwa, yafukibwako omwoyo omutukuvu bw’atyo n’afuuka Masiya.a​—Nek. 2:1, 5-8; Dan. 9:24, 25; Luk. 3:1, 2, 21, 22.

9 Kati lowooza ku bunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bayibuli yalaga nti Kristo yandifuuse Kabaka mu ggulu mu 1914. Yayogera ku ‘kabonero’ ak’okubeerawo kwa Yesu era n’eraga nti mu kiseera ekyo wandibaddewo okubonaabona kungi ku nsi olw’okuba Sitaani yandibadde asuuliddwa ku nsi. (Mat. 24:3-14; Kub. 12:9, 12) Ate era Bayibuli etuyamba okumanya ekiseera kyennyini “ebiseera ebigereke eby’amawanga” we byandigwereddeko, Kristo n’atandika okufuga nga Kabaka mu ggulu. Ebiseera ebyo byaggwaako mu 1914.​—Luk. 21:24; Dan. 4:10-17.b

10. Bintu ki ebijja okubaawo mu kiseera kyennyini Yakuwa kye yateekawo?

10 Mu kiseera ekitali kya wala, “ekibonyoobonyo ekinene” Yesu kye yayogerako kijja kutandika. Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bujja kutandika. Tewali kubuusabuusa nti ebintu ebyo byonna bijja kubaawo mu kiseera kyennyini Yakuwa kye yateekawo. Yesu we yabeerera ku nsi, Yakuwa yali yamala dda okuteekawo ‘olunaku n’ekiseera’ ebintu ebyo we binaabeererawo.​—Mat. 24:21, 36; Kub. 20:6.

KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO

11. Bwe tuba nga tukikkiriza nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, kiki kye tusaanidde okukola?

11 Bwe tuba nga tukikkiriza nti Kristo yatandika okufuga era nti tuli mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ kiki kye tusaanidde okukola? (Dan. 12:4) Abantu bangi bakiraba nti buli lukya embeera y’ensi yeeyongera okwonooneka, naye tebakkiriza nti embeera eriwo etuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma. Abamu balowooza nti embeera y’ensi ejja kweyongera bweyongezi kwonooneka, ate abalala balowooza nti abantu basobola okuleetawo ‘emirembe n’obutebenkevu.’ (1 Bas. 5:3) Ate kiri kitya eri ffe? Tukikkiriza nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa? Bwe tuba ng’ekyo tukikkiriza, tujja kufuba okukozesa ebiseera byaffe okuweereza Yakuwa n’okuyamba abalala okumumanya. (2 Tim. 3:1) Tulina okufuba okukozesa obulungi ebiseera byaffe.​—Soma Abeefeso 5:15-17.

12. Kiki kye tuyigira ku ebyo Yesu bye yayogera ku kiseera kya Nuuwa?

12 Si kyangu kukozesa bulungi biseera leero, okuva bwe kiri nti mu nsi mulimu ebintu bingi ebisobola okutuwugula. Yesu yagamba nti: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kuliba.” Embeera yali etya mu kiseera kya Nuuwa? Katonda yali yagamba Nuuwa nti ensi ey’omu kiseera ekyo yali egenda kuzikirizibwa. Katonda yali agenda kukozesa Amataba okuzikiriza abantu ababi bonna. Nuuwa, eyali “omubuulizi w’obutuukirivu,” yabuulira abantu obubaka bwa Katonda. (Mat. 24:37; 2 Peet. 2:5) Kyokka abantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa “baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, . . . ne batafaayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.” Eyo ye nsonga lwaki Yesu yalabula abagoberezi be ng’agamba nti: “Mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” (Mat. 24:38, 39, 44) N’olwekyo, tusaanidde okuba nga Nuuwa, so si ng’abantu abaaliwo mu kiseera kye. Naye kiki ekinaatuyamba okubeera abeetegefu?

13, 14. Nga bwe tulindirira okujja kw’Omwana w’omuntu, kiki kye tusaanidde okujjukira ku Yakuwa ekinaatuyamba okwongera okumuweereza n’obwesigwa?

13 Wadde ng’Omwana w’omuntu ajja kujjira mu kiseera mwe tutamusuubirira, tusaanide okukijjukira nti Yakuwa ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu. Ebintu ebiriwo mu nsi n’ebyo abantu bye bateekateeka okukola tebiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye mu kiseera kye ekituufu. (Soma Danyeri 2:21.) Engero 21:1 wagamba nti: “Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng’emigga: agukyusa gy’ayagala yonna.”

14 Yakuwa asobola okukkiriza ebintu ebimu okubaawo mu nsi, ekigendererwa kye kisobole okutuukirira mu kiseera kye ekituufu. Ng’ekyokulabirako, enkyukakyuka nnyingi ez’amaanyi ezibaddewo mu nsi zisobozesezza obunnabbi bwa Bayibuli okutuukirira, naddala obwo obukwata ku kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Lowooza ku ebyo ebibaddewo mu nsi ezitali zimu ezaali zifugibwa obufuzi bwa bannakyemalira. Obufuzi obwo bwe bwavaawo, ekyo kyasobozesa amawulire amalungi okutandika okubuulirwa mu nsi nnyingi omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa. N’olwekyo, ka tufube okukozesa obulungi ebiseera byaffe okuweereza Yakuwa, Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera.’

WEESIGE YAKUWA, KATONDA ATUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE MU KISEERA EKITUUFU

15. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa nga waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu kibiina?

15 Okusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nnaku zino ez’oluvannyuma, tulina okwesiga Yakuwa nga tuli bakakafu nti atuukiriza ebisuubizo bye mu kiseera ekituufu. Olw’okuba embeera y’ensi egenda ekyukakyuka, oluusi kiyinza okutwetaagisa okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tubuuliramu. Ebiseera ebimu, ekibiina kya Yakuwa kiyinza okubaako enkyukakyuka ze kikola okusobola okutuyamba okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Tusobola okulaga nti twesiga Yakuwa, Katonda ‘ow’ebiro n’ebiseera,’ nga tukolera ku nkyukakyuka eziba zikoleddwa era nga tweyongera okugondera Omwana we, “omutwe gw’ekibiina.”​—Bef. 5:23.

16. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asobola bulungi okutuyamba mu kiseera ekituufu?

16 Yakuwa ayagala tumusabe nga tuli bakakafu nti ajja ‘kutuyamba mu kiseera ekituufu.’ (Beb. 4:16) Ekyo kiraga nti Yakuwa atwagala nnyo era atufaako nnyo. (Mat. 6:8; 10:29-31) Tusobola okulaga nti twesiga Yakuwa Katonda nga bulijjo tumusaba atuyambe, nga tufuba okukolera ku ebyo bye tuba tusabye, era nga tukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Ate era tetusaanidde kwerabira kusabira bakkiriza bannaffe.

17, 18. (a) Kiki Yakuwa ky’anaakola abalabe be mu kiseera ekitali kya wala? (b) Kiki kye tusaanidde okwewala?

17 Mu kiseera kino eky’enkomerero, tetusaanidde ‘kusagaasagana mu kukkiriza,’ naye tusaanidde okufuba okunyweza okukkiriza kwaffe. (Bar. 4:20) Sitaani n’abo bonna abali ku ludda lwe bagezaako okutulemesa okukola omulimu Yesu gwe yatulagira okukola. (Mat. 28:19, 20) Wadde ng’Omulyolyomi atuziyiza, tukimanyi nti Yakuwa ye “Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu aba buli ngeri, naddala abeesigwa.” Yakuwa “amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.”​—1 Tim. 4:10; 2 Peet. 2:9.

18 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi. Wadde nga tetumanyidde ddala ngeri ekyo gye kinaakolebwamu n’ekiseera kyennyini we kinaabeererawo, tuli bakakafu nti Kristo ajja kuzikiriza abalabe ba Katonda bonna mu kiseera ekituufu. Olwo nno abantu bonna bajja kumanya nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. N’olwekyo, kiba kya kabi nnyo okwerabira obukulu ‘bw’ebiseera n’ebiro’ bye tulimu! Tusaanidde okwewala okulowooza nti “ebintu byonna biri ddala nga bwe bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.”​—1 Bas. 5:1; 2 Peet. 3:3, 4.

LINDIRIRA YAKUWA

19, 20. Lwaki tusaanidde okulindirira Yakuwa?

19 Yakuwa Katonda yatonda abantu ng’ayagala babeerewo emirembe gyonna nga bayiga ebimukwatako awamu n’ebintu bye yatonda. Omubuulizi 3:11 wagamba nti: “[Yakuwa] yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw’atyo omuntu n’okuyinza n’atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.”

20 Nga tuli basanyufu nnyo okimanya nti ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu tekikyukanga! (Mal. 3:6) Katonda “takyukakyuka ng’ekisiikirize.” (Yak. 1:17) Enjuba bw’egenda etambula, ekisiikirize nakyo kigenda kikyukakyuka. Naye ye Yakuwa takyukakyuka ne bwe wayitawo ekiseera kiwanvu kwenkana wa. Yakuwa ye “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (1 Tim. 1:17) N’olwekyo, ka ffenna tube bamalirivu ‘okulindirira Katonda ow’obulokozi bwaffe.’ (Mi. 7:7) Bayibuli egamba nti: “Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, [mmwe] mwenna abasuubira mu Mukama.”​—Zab. 31:24.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! olupapula 186-195.

b Laba akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! olupapula 94-97.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Danyeri yali mukakafu nti ebisuubizo bya Katonda byali bya kutuukirira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Okozesa bulungi ebiseera byo okukola Katonda by’ayagala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share