Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu ngeri ki okufa kw’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gye kuli ‘okw’omuwendo omungi mu maaso ge’?
▪ Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: ‘Okufa kw’abatukuvu ba Yakuwa kwa muwendo mungi mu maaso ge.’ (Zab. 116:15) Buli muweereza wa Yakuwa wa muwendo nnyo mu maaso ge. Naye ebigambo ebyo ebiri mu Zabbuli 116 tebyogera ku kufa kw’abaweereza ba Yakuwa kinnoomu.
Bwe tuba tuwa emboozi ku mukolo gw’okuziika, tekiba kituufu kukozesa Zabbuli 116:15 nga twogera ku muntu aba afudde, ne bw’aba ng’abadde muweereza wa Yakuwa mwesigwa. Lwaki? Kubanga ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebyo birina amakulu agasingawo. Ebigambo ebyo bitegeeza nti Katonda atwala okufa kw’abaweereza be abeesiga bonna ng’ekibiina nga kwa muwendo nnyo ne kiba nti tasobola kukukkiriza kubaawo.—Laba Zabbuli 72:14; 116:8.
Zabbuli 116:15 watukakasa nti Yakuwa tasobola kukkiriza baweereza be bonna abali ku nsi kusaanyizibwawo. Mu butuufu, ebizibu eby’amaanyi n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi bye tuyiseemu biraga nti Katonda tasobola kutuleka kusaanyizibwawo ffenna.
Olw’okuba Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi era ng’ekigendererwa kye tekisobola kulemwa kutuukirira, tasobola kutuleka kusaanyizibwawo mulundi gumu ffenna. Singa ekyo Yakuwa akireka okubaawo kiba kiraga nti abalabe be bamusinzizza amaanyi, so ng’ate ekyo tekisobokera ddala! Ekigendererwa kya Yakuwa eky’abantu abeesigwa okubeera ku nsi nakyo kiba tekijja kutuukirira, so ng’ate n’ekyo tekisoboka. (Is. 45:18; 55:10, 11) Singa abaweereza be bonna basaanyizibwawo, waba tewakyaliwo kusinza kwa mazima ku nsi okuva bwe kiri nti waba tewakyaliwo muntu yenna asinza Yakuwa mu luggya lwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo! Era ekyo kiba kiraga nti omusingi ‘gw’ensi empya,’ nga bano be bantu abasiimibwa Katonda abanaafugibwa “eggulu eriggya,” nagwo tegujja kubaawo. (Kub. 21:1) Ate era Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi buba tebujja kubaawo singa waba tewali bantu be bunaafuga.—Kub. 20:4, 5.
Singa Katonda aleka abalabe be okusaanyaawo abantu be bonna ku nsi ekyo kiyinza okuleetawo okubuusabuusa obanga ddala ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Era olw’okuba Yakuwa yeewa ekitiibwa era nga n’erinnya lye alitwala nga kkulu nnyo, tasobola kukkiriza bantu be ng’ekibiina kusaanyizibwawo. Yakuwa era ‘taliimu butali bwenkanya,’ bwe kityo tasobola kuleka baweereza be abeesigwa kusaanyizibwawo. (Ma. 32:4, NW; Lub. 18:25) Ate era singa Yakuwa akkiriza abaweereza be okusaanyizibwawo, ekyo kiba kikontana n’Ekigambo kye. Bayibuli egamba nti: “Mukama taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu.” (1 Sam. 12:22) Mu butuufu, “Mukama talisuula bantu be, so talireka busika bwe.”—Zab. 94:14.
Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya Yakuwa tasobola kukkiriza bantu be ng’ekibiina kusaanyizibwawo ku nsi! N’olwekyo ka tube bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda n’okwongera okukkiririza mu kisuubizo kye kino: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi.”—Is. 54:17.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 22]
Katonda tasobola kuleka bantu be bonna ng’ekibiina kusaanyizibwawo