OBADDE OKIMANYI?
Yeekaalu y’omu Yerusaalemi yaddamu okuzimbibwa oluvannyuma lw’omwaka gwa 70 E.E.?
YESU yagamba nti tewali jjinja lya yeekaalu ya Yakuwa lyandisigadde ku jjinja linnaalyo. Obunnabbi obwo bwatuukirira amagye ga Rooma, nga gaduumirwa Tito, bwe gaazikiriza Yerusaalemi mu mwaka gwa 70 E.E. (Mat. 24:2) Nga wayise ekiseera, Empula Julian yayagala okuddamu okuzimba yeekaalu y’omu Yerusaalemi.
Okusinziira ku byafaayo, Julian ye empula wa Rooma omukaafiiri eyasembayo. Julian yalina oluganda ku Constantine Omukulu era yali ayigiriziddwa abo abaali beetwala okuba Abakristaayo. Naye bwe yamala okufuuka empula mu 361 E.E., yalekera awo okukkiririza mu ebyo bye baali bamuyigirizza ebikwata ku Bukristaayo. Mu bitabo by’ebyafaayo, Julian ayogerwako ng’eyali “Kyewaggula.”
Julian yakyawa abo abaali beeyita Abakristaayo. Ekimu ku bintu ebiyinza okuba nga bye byamuleetera okubakyawa kwe kuba nti bwe yali nga wa myaka mukaaga, yalaba abo abaali beeyita Abakristaayo nga batta kitaawe n’abamu ku b’eŋŋanda ze. Ebitabo ebyogera ku byafaayo by’Ekkereziya biraga nti Julian yagamba Abayudaaya okuddamu okuzimba yeekaalu yaabwe ng’alowooza nti ekyo kyandiraze nti Yesu yali nnabbi wa bulimba.a
Tewali kubuusabuusa nti Julian yali ayagala okuddamu okuzimba yeekaalu. Kyokka tewali bukakafu bulaga nti omulimu ogwo yagutandikako. Ne bwe kiba nti yagutandikako, ekyebuuzibwa kiri nti, Kiki ekyaleetera omulimu ogwo okuyimirira? Ka kibe nti yagutandikako oba nedda, kye tumanyi kiri nti Julian yattibwa nga tannaweza na myaka ebiri ng’afuga nga empula, era enteekateeka ze yalina ez’okuddamu okuzimba yeekaalu zaagwa butaka.
Ekifo yeekaalu we yali; ate waggulu kye kifaananyi ekiraga engeri bw’eyinza okuba nga bwe yali efaanana
a Yesu teyagamba nti yeekaalu teyandizzeemu kuzimbibwa, wabula yagamba nti yandizikiriziddwa, era ekyo kyaliwo mu mwaka gwa 70 E.E.