LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 5/15 lup. 24-25
  • Ensonga Lwaki Obulamu Bwaffe Bulina Ekigendererwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensonga Lwaki Obulamu Bwaffe Bulina Ekigendererwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA AFUUKA ‘KIGO KYAFFE EKIWANVU’
  • OBULAMU BWAFFE BULINA EKIGENDERERWA
  • Engeri gy’Osobola Okuba n’Emirembe Wadde nga Waliwo Entalo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
  • Owulira ng’Eby’Okukola Bikuyitiriddeko?
    Zuukuka!—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 5/15 lup. 24-25

EBYAFAAYO

Ensonga Lwaki Obulamu Bwaffe Bulina Ekigendererwa

Byayogerwa Patricia Smith

BWE nnazaala mutabani wange Gary mu 1958, nnakirabirawo nti yaliko ekikyamu. Naye abasawo kyabatwalira emyezi kkumi okutegeera obulwadde bwe yalina. Nga wayise emyaka ettaano, abakugu mu London baakakasa nti obulwadde abasawo bwe baazuula ddala yali abulina. Kyannakuwaza nnyo bwe nnakitegeera nti ne muwala wange Louise, gwe nnazaala nga wayise emyaka mwenda oluvannyuma lw’okuzaala Gary, naye yalina obulwadde obwo.

Omusawo yaŋŋamba nti abaana bange bombi baalina obulwadde obuyitibwa Laurence-Moon-Bardet-Biedl (LMBB),a era nti obulwadde obwo tebuwona. Mu kiseera ekyo, obulwadde obwo bwali tebumanyiddwa nnyo. Omuntu bw’aba n’obulwadde obwo atera okugejja ennyo, okuba nga talaba bulungi, okuba n’obugere oba engalo ezisukka mu ttaano, okukula empola, okuba n’obulwadde bwa sukaali, okulumwa amagumba, okuba ng’ensigo ze tezikola bulungi, era oluusi n’obusimu bw’omubiri gwe buba tebukola bulungi. Nnakirabirawo nti kyali tekijja kumbeerera kyangu kulabirira baana bange abo. Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti omuntu omu ku buli bantu 125,000 mu Bungereza alina obulwadde obwo. Kyokka waliwo n’abantu abalala bangi abalina obulwadde obwo naye nga tebubayisa bubi nnyo.

YAKUWA AFUUKA ‘KIGO KYAFFE EKIWANVU’

Bwe nnali nnaakafumbirwa, waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyambuulira ebikwata ku Bayibuli era ne nkiraba nti nnali nzudde amazima. Kyokka ye omwami wange yali tayagala kuyiga Bayibuli. Olw’okuba omulimu gwe yali akola gwatwetaagisanga okusengukasenguka, tekyanyanguyiranga kugenda mu nkuŋŋaana. Wadde kyali kityo, nneeyongera okusoma Bayibuli n’okusaba Yakuwa. Kyanzizzaamu nnyo amaanyi bwe nnasoma ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Yakuwa anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, ekigo ekiwanvu mu biro eby’ennaku, era talireka abo abamunoonya.’​—Zab. 9:9, 10.

Olw’okuba Gary yali talaba bulungi, bwe yaweza emyaka omukaaga, yatwalibwa mu ssomero ery’ekisulo erisomesa abantu abaliko obulemu erisangibwa mu bukiikaddyo bwa Bungereza. Yateranga okunkubira essimu n’ambuulira ebimweraliikiriza, era nnamuyambanga okutegeera emisingi gya Bayibuli. Bwe nnamala okuzaala Louise, waayitawo emyaka mitono nange ne ndwala obulwadde obuyitibwa multiple sclerosis ne fibromyalgia. Gary yakomawo awaka nga wa myaka 16. Kyokka amaaso ge geeyongera okulwala era mu 1975 gaaziba. Mu 1977 mwami wange yatwabulira.

Gary bwe yakomawo awaka, twatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, era mu 1974 nnabatizibwa. Omukadde omu mu kibiina kyaffe yayamba Gary okwolekagana n’enkyukakyuka ezibaawo mu myaka egy’obuvubuka. Ab’oluganda abalala mu kibiina nabo baatuyambangako ku mirimu gy’awaka. Ekiseera kyatuuka ab’obuyinza mu kitundu kyaffe ne balonda ab’oluganda bataano okutukolerangako ku mirimu gy’awaka era be baabasasulanga. Ab’oluganda abo batuyambye nnyo!

Gary yeeyongera okukulaakulana era n’abatizibwa mu 1982. Yali ayagala nnyo okuweereza nga payoniya omuwagizi, era okumala emyaka egiwerako nnagendanga naye okubuulira. Nga wayise ekiseera omulabirizi w’ekitundu bwe yatukyalira yabuuza Gary nti, “Wali olowoozezza ku ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo?” Ekyo kyazzaamu nnyo Gary amaanyi, era mu 1990 yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.

Gary yaakalongoosebwa bbunwe emirundi ebiri, mu 1999 ne mu 2008. Kyokka ye Louise obulwadde bwa LMBB bwamuyisa bubi nnyo okusinga Gary. Yazaalibwa muzibe, era bwe nnalaba ng’alina obugere mukaaga ku kigere ekimu, nnakitegeererawo nti yalina obulwadde obwo. Abasawo bwe beeyongera okumwekebejja, baakizuula nti ebitundu bye eby’omunda ebisinga obungi byali bikoseddwa. Alongooseddwa emirundi mingi, era ng’etaano ku gyo abadde alongoosebwa nsigo. Ate era, okufaananako Gary, alina n’obulwadde bwa sukaali.

Olw’okuba amanyi obuzibu obuyinza okubaawo ng’omuntu alongoosebwa, Louise bw’aba tannalongoosebwa, asooka n’ayogerako n’abasawo awamu n’abakulu b’eddwaliro n’abannyonnyola ensonga lwaki takkiriza kuteekebwako musaayi. Ekyo kimuyambye okukolagana obulungi n’abo abamujjanjaba.

OBULAMU BWAFFE BULINA EKIGENDERERWA

Waliwo ebintu bingi bye tukola awaka okusinza Yakuwa. Edda nnamalanga ebiseera bingi nga nsomera Gary ne Louise, naye kati olw’okuba ekibiina kya Yakuwa kituwadde CD, DVD, awamu n’omukutu gwa Intaneeti ogwa www.pr418.com, kati buli omu ku ffe asobola okusoma Bayibuli ng’ali yekka, n’okutegeka by’anaddamu mu nkuŋŋaana.

Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okuyiga amazima agali mu Kigambo kye!

Ebyo Gary by’addamu ebiseera ebimu abikwata bukwasi mu mutwe, ate bw’aba alina emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, by’ayogera tasoma bisome. Mu 1995 Gary yatandika okuweereza ng’omuweereza mu kibiina. Afuba nnyo okwaniriza abantu ababa bazze mu nkuŋŋaana era akola ne ku byuma by’amaloboozi.

Ab’oluganda batera okubuulirako ne Gary. Olw’okuba ennyingo zimuluma, ebiseera ebisinga bamusindikira mu kagaali k’abalema. Waliwo ow’oluganda ayambye Gary okubaako omusajja gw’ayigiriza Bayibuli. Gary era aliko ow’oluganda eyali amaze emyaka 25 nga tabuulira era nga tagenda mu nkuŋŋaana gwe yazzaamu amaanyi. Kati omusajja oyo n’ow’oluganda oyo babeerawo mu nkuŋŋaana.

Louise bwe yali nga wa myaka mwenda, jjajjaawe yamuyigiriza okutunga, ate nze n’omu ku b’oluganda abaali batuyambako ku mirimu gy’awaka twamuyigiriza okutonaatona engoye. Olw’okuba Louise anyumirwa nnyo okutunga, atera okutungira abaana abawere awamu ne bannamukadde abali mu kibiina bulangiti ezirabika obulungi. Era akola ne bukaadi n’abuteekako ebifaananyi. Abo b’abuwa babwagala nnyo. Bwe yali mu myaka gye egy’obutiini, Louise yayiga okukuba tayipu. Kati atera okuwandiikira mikwano gye amabaluwa ng’akozesa kompyuta. Louise yabatizibwa ng’alina emyaka 17. Bwe wabaawo kaweefube ow’enjawulo, nze ne Louise tutera okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Okufaananako Gary, Louise naye akwata ebyawandiikibwa mu mutwe bw’atyo n’asobola okubuulirako abalala ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya omutajja kuba bazibe ba maaso wadde abalwadde.​—Is. 33:24; 35:5.

Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okuyiga amazima agali mu Kigambo kye! Ate era tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abatuyambye mu ngeri ezitali zimu, kubanga awatali bo ebintu ebisinga obungi bye tukola mu buweereza bwaffe tetwandisobodde kubikola. Tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa atuyambye okuba n’obulamu obulina ekigendererwa.

a Erinnya ly’obulwadde buno lyagibwa mu mannya ana ag’abasawo abaabuzuula, era obulwadde obwo omuntu asikira busikire. Leero abantu abasinga obungi babuyita Bardet-Biedl. Obulwadde buno tebulina ddagala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share