LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 7/15 lup. 32
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Ebibira
    Zuukuka!—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 7/15 lup. 32
Ekibira Biriya mu Ggaliraaya

Ekibira Biriya mu Ggaliraaya (wansi)

OBADDE OKIMANYI?

Isiraeri ey’edda yalimu ebibira bingi nga Bayibuli bw’ekiraga?

BAYIBULI egamba nti ebitundu ebimu eby’Ensi Ensuubize byalimu ebibira n’emiti mingi nnyo. (Yos. 17:15, 18; 1 Bassek. 10:27) Kyokka, abantu abamu bwe batunuulira ebitundu ebisinga obungi mu nsi eyo leero, beebuuza obanga ddala ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu.

Ebibala by’omusukamooli

Ebibala by’omusukamooli

Ekitabo ekiyitibwa Life in Biblical Israel kigamba nti “ebibira ebyali mu Isiraeri mu biseera by’edda byali bigazi okusinga bwe kiri leero.” Ensozi z’omu Isiraeri okusingira ddala zaaliko emiti gya falaawo (Pinus halepensis), emiti gy’emiyovu (Quercus calliprinos), n’emiti gy’emyera (Pistacia palaestina). Mu Sefera, ekitundu eky’ensozi ekiri wakati w’ensozi za Yuda n’Ennyanja Meditereniyani, waaliyo emiti gy’emisukamooli (Ficus sycomorus) mingi.

Ekitabo ekiyitibwa Plants of the Bible kigamba nti ebitundu ebimu ebya Isiraeri tebikyalimu miti. Lwaki? Nga kiraga nti emiti egyali mu bitundu ebyo gyagenda gisaanyizibwawo mpolampola, ekitabo ekyo kigamba nti: “Abantu bagenze nga basaanyaawo ebibira okusobola okufuna aw’okulimira, aw’okulundira, eby’okuzimbisa, n’enku.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share