LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp22 Na. 1 lup. 6-7
  • 1 | Weewale Okusosola Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1 | Weewale Okusosola Abalala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli Ky’Egamba:
  • Kye Kitegeeza:
  • Ky’Oyinza Okukola:
  • 3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Engeri Gye Tuyinza Okweggyamu Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Yakuwa “Tasosola”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
wp22 Na. 1 lup. 6-7
Omusajja omuddugavu ng’akutte ekifaananyi ky’omusajja omuzungu omusanyufu. Omusajja omuzungu naye akutte ekifaananyi ky’omusajja omuddugavu omusanyufu. Emabega eriyo ebifaananyi by’abantu abatali basanyufu.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

1 | Weewale Okusosola Abalala

Bayibuli Ky’Egamba:

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—EBIKOLWA 10:34, 35.

Kye Kitegeeza:

Yakuwaa Katonda tatulamula ng’asinziira ku ggwanga lyaffe, langi yaffe, oba obuwangwa bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, atunuulira ekyo kye tuli munda. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”​—1 Samwiri 16:7.

Ky’Oyinza Okukola:

Wadde nga tetusobola kulaba kiri mu mitima gya balala, tusobola okufuba okukoppa Katonda ne twewala okusosola abalala. Buli muntu mutunuulire ng’omuntu kinnoomu, so si okumulamula ng’osinziira ku kiti mw’agwa. Bw’okiraba nti olina endowooza etali nnungi ku balala, oboolyawo aba langi endala oba eggwanga eddala, saba Katonda akuyambe okweggyamu endowooza eyo. (Zabbuli 139:23, 24) Bw’omusaba mu bwesimbu akuyambe okweggyamu obusosoze, awatali kubuusabuusa ajja kuddamu essaala yo.​—1 Peetero 3:12.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.

“Nnali situulangako wamu na muzungu nga tuli mu mirembe . . . Kati nnali nfuye baganda bange okuva mu mawanga ag’enjawulo.”​—TITUS

Ekyokulabirako​—TITUS

Yasobola Okweggyamu Obukyayi

Titus.

Titus yali mu kibinja ky’abantu abaakolanga ebikolwa eby’obukambwe olw’obutakkiriziganya na mateeka gavumenti mu nsi ye ge yali etaddewo agaali gatumbula obusosoze. Agamba nti: “Twagendanga mu bifo ebitali bimu mu kibuga ebyali bitakkirizibwamu baddugavu, gamba nga wooteeri, amabbaala, nga tulina ekigendererwa eky’okusosonkereza abalala tusobole okulwana nabo.” Titus yakiraba nti obukyayi bwe bwali bumuleetera okukola ekyo, era agamba nti: “Bwe nnafunanga obutakkaanya n’omuntu yenna k’abe musajja oba mukazi, nze nnasookanga okumukuba.”

Titus yatandika okukola enkyukakyuka bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Ebyo bye yasoma mu Bayibuli byamuyamba nnyo. Okusingira ddala yakwatibwako nnyo bwe yakimanya nti mu biseera eby’omu maaso, “okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Mu kusooka Titus tekyamubeerera kyangu kweggyamu bukyayi. Agamba nti: “Kyambeerera kizibu nnyo okukyusa endowooza yange, n’enneeyisa yange.” Naye ebyo Titus bye yasoma mu Ebikolwa 10:34, 35, byamuyamba nnyo. Ennyiriri ezo ziraga nti Katonda tasosola.

Biki ebyavaamu? Titus agamba nti: “Bwe nnalaba engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye balagaŋŋanamu okwagala ka babe ba ggwanga ki oba langi ki, kyandeetera okukakasa nti ddala be bali mu ddiini ey’amazima. Ne bwe nnali nga sinnaba kubatizibwa, Omujulirwa wa Yakuwa omu omuzungu, yampita ewuwe tuliireko wamu. Ekyo kyalinga ekirooto gye ndi. Nnali situulangako wamu na muzungu nga tuli mu mirembe, oba okuliirako awamu naye mu maka ge. Kati nnali nfunye baganda bange okuva mu mawanga ag’enjawulo.”

Okumanya ebisingawo ebikwata ku Titus, laba Watchtower eya Agusito 1, 2009, olupapula 28-29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share