Olubereberye
11 Ensi yonna yalina olulimi lumu era ng’ekozesa ebigambo bye bimu. 2 Awo abantu bwe baali bagenda ebuvanjuba, baasanga olusenyi mu nsi ya Sinaali+ ne batandika okubeera omwo. 3 Ne bagambagana nti: “Ka tukube amatoffaali tugookye.” Ne bakozesa amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kemali* ng’obudongo. 4 Ne bagamba nti: “Mujje twezimbire ekibuga n’omunaala ogutuuka ku ggulu, era twekolere erinnya tuleme okusaasaana mu nsi yonna.”+
5 Yakuwa n’akka okulaba ekibuga n’omunaala abaana b’abantu bye baali bazimbye. 6 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Laba! Bali omuntu omu era bonna boogera olulimi lumu,+ era kino kye batandise okukola. Kaakano tewali kintu kye bayinza kulowooza kukola kinaabalema. 7 Tukke+ tutabuletabule olulimi lwabwe buli omu aleme kutegeera lulimi lwa munne.” 8 Bw’atyo Yakuwa n’abasaasaanya okuva awo ne babuna ensi yonna,+ ne balekera awo okuzimba ekibuga. 9 Eyo ye nsonga lwaki kyatuumibwa Babeeri,*+ kubanga eyo Yakuwa gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna era n’asaasaanya abantu okuva eyo ne babuna ensi yonna.
10 Bino bye byafaayo bya Seemu.+
Seemu yalina emyaka 100 we yazaalira Alupakusaadi,+ era waali wayise emyaka ebiri oluvannyuma lw’Amataba. 11 Oluvannyuma lw’okuzaala Alupakusaadi, Seemu yawangaala emyaka emirala 500. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.+
12 Alupakusaadi bwe yaweza emyaka 35 n’azaala Seera.+ 13 Oluvannyuma lw’okuzaala Seera, Alupakusaadi yawangaala emyaka emirala 403. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
14 Seera bwe yaweza emyaka 30 n’azaala Eberi.+ 15 Oluvannyuma lw’okuzaala Eberi, Seera yawangaala emyaka emirala 403. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
16 Eberi bwe yaweza emyaka 34 n’azaala Peregi.+ 17 Oluvannyuma lw’okuzaala Peregi, Eberi yawangaala emyaka emirala 430. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
18 Peregi bwe yaweza emyaka 30 n’azaala Leewu.+ 19 Oluvannyuma lw’okuzaala Leewu, Peregi yawangaala emyaka emirala 209. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
20 Leewu bwe yaweza emyaka 32 n’azaala Serugi. 21 Oluvannyuma lw’okuzaala Serugi, Leewu yawangaala emyaka emirala 207. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
22 Serugi bwe yaweza emyaka 30 n’azaala Nakoli. 23 Oluvannyuma lw’okuzaala Nakoli, Serugi yawangaala emyaka emirala 200. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
24 Nakoli bwe yaweza emyaka 29 n’azaala Teera.+ 25 Oluvannyuma lw’okuzaala Teera, Nakoli yawangaala emyaka emirala 119. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.
26 Teera bwe yaweza emyaka 70 n’azaala Ibulaamu,+ Nakoli,+ ne Kalani.
27 Bino bye byafaayo bya Teera.
Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; ate Kalani n’azaala Lutti.+ 28 Kalani yafiira mu nsi gye yazaalibwamu, mu Uli+ eky’Abakaludaaya+ nga kitaawe Teera akyali mulamu. 29 Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa abakazi. Mukazi wa Ibulaamu yali ayitibwa Salaayi,+ ate owa Nakoli yali ayitibwa Mirika+ muwala wa Kalani. Kalani ye yali kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 Salaayi yali mugumba;+ teyalina mwana.
31 Oluvannyuma Teera yatwala Ibulaamu mutabani we, ne Lutti muzzukulu we,+ omwana wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bava naye mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kanani.+ Oluvannyuma ne batuuka mu Kalani+ ne babeera eyo. 32 Teera yawangaala emyaka 205, oluvannyuma n’afiira mu Kalani.