-
Okubala 32:16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Oluvannyuma ne bamutuukirira ne bamugamba nti: “Ka tuzimbire wano ensolo zaffe ebiyumba eby’amayinja era tuzimbire n’abaana baffe ebibuga.
-
-
Okubala 32:34-38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
34 Abaana ba Gaadi ne bazimba* Diboni+ ne Atalosi+ ne Aloweri,+ 35 ne Atulosu-sofani ne Yazeri+ ne Yogubeka,+ 36 ne Besu-nimira+ ne Besu-kalani,+ ebibuga ebyaliko bbugwe, era ne bazimba n’ebiyumba by’ensolo eby’amayinja. 37 N’abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni+ ne Ereyale+ ne Kiriyasayimu,+ 38 ne Nebo+ ne Bbaali-myoni+ (amannya gaabyo gaakyusibwa) ne Sibima; era ebibuga bye baazimba baabituuma amannya amalala.
-