-
Okubala 3:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Mu weema ey’okusisinkaniramu, abaana ba Gerusoni+ be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira weema,+ n’eky’okubikkako kyayo,+ n’olutimbe+ olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu, 26 n’entimbe+ ez’oluggya, n’olutimbe+ olw’omu mulyango gw’oluggya olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gya weema, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.
-