-
Okubala 3:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Mu Kokasi mwe mwava ab’oluggya lw’Abamulaamu, n’ab’oluggya lw’Abayizukali, n’ab’oluggya lw’Abakebbulooni, n’ab’oluggya lw’Abawuziyeeri. Ezo ze mpya z’Abakokasi.+ 28 Abasajja bonna okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 8,600. Abo be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekifo ekitukuvu.+
-