-
Eby’Abaleevi 13:45, 46Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
45 Omuntu alina endwadde y’ebigenge engoye ze zinaabanga njulifuyulifu, taafenga ku nviiri ze, era anaabikkanga ku mimwa gye;* era anaayogereranga waggulu nti, ‘Siri mulongoofu, siri mulongoofu!’ 46 Ekiseera kyonna ky’anaamala ng’alina endwadde eyo, tajja kuba mulongoofu. Olw’okuba si mulongoofu, anaabeeranga yekka. Anaabeeranga wabweru w’olusiisira.+
-