-
Okubala 12:14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Singa kitaawe amuwandulidde amalusu mu maaso, teyandibadde na buswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggibwe mu lusiisira abeere ebweru waalwo+ okumala ennaku musanvu, oluvannyuma alyoke akomezebwewo.”
-
-
2 Bassekabaka 7:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Waaliwo abagenge bana abaatuulanga ku mulyango oguyingira mu kibuga;+ awo ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa?
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Azaliya kabona omukulu ne bakabona abalala bonna bwe baamutunuulira, ne balaba nga yali akubiddwa ebigenge mu kyenyi! Awo ne banguwa okumufulumya, era naye n’ayanguwa okufuluma kubanga Yakuwa yali amukubye ebigenge.
21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa. Waaliwo ennyumba ey’enjawulo mwe yabeeranga olw’okuba yali mugenge,+ era yali takyakkirizibwa kugenda ku nnyumba ya Yakuwa. Yosamu mutabani we ye yali alabirira eby’ennyumba* ya kabaka, era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+
-