-
Okubala 10:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Awo ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lw’abaana ba Ddaani ne kisimbula okusinziira ku bibinja by’eggye lyakyo, ne kiba nga kye kikuuma ensiisira zonna ku luuyi olw’emabega. Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi ye yali akulira eggye lyakyo.
-