-
Okubala 4:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 “Alooni ne batabani be bajja kumalirizanga okubikka ku kifo ekitukuvu+ ne ku bintu byonna eby’omu kifo ekitukuvu ng’abantu basitula okugenda, era oluvannyuma abaana ba Kokasi bajja kujjanga babisitule,+ naye tebakwatanga ku kifo ekitukuvu baleme okufa.+ Abaana ba Kokasi be balina obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo ebya weema ey’okusisinkaniramu.
-
-
Okubala 4:20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Tebayingiranga okutunuulira ebintu ebitukuvu wadde akaseera akatono, baleme okufa.”+
-
-
Okubala 16:39, 40Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
39 Awo Eriyazaali kabona n’atwala ebyoterezo eby’ekikomo ebyali bireeteddwa abo abaayokebwa, ne babiweesaamu eby’okubikka ku kyoto, 40 nga Yakuwa bwe yamugamba ng’ayitira mu Musa. Ekyo kyali kya kujjukizanga Abayisirayiri nti tewali muntu mulala yenna atali wa mu zzadde lya Alooni alina kujja kwotereza bubaani mu maaso ga Yakuwa,+ era nti tewalina kubaawo muntu aba nga Koola n’abawagizi be.+
-