-
Yoswa 24:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Kabaka wa Mowaabu, Balaki mutabani wa Zipoli, yayimuka n’alwanyisa Isirayiri. Yatumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire.+
-
-
Nekkemiya 13:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ku lunaku olwo ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira,+ ne kizuulibwa nga kyawandiikibwa nti Omwamoni n’Omumowaabu+ tebalina kujja mu kibiina kya Katonda ow’amazima,+ 2 kubanga tebaawa Bayisirayiri mmere na mazzi, naye baapangisa Balamu abakolimire,+ kyokka Katonda waffe ekikolimo n’akifuula omukisa.+
-