2 “Twala Alooni ne batabani be,+ n’ebyambalo,+ n’amafuta amatukuvu,+ n’ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume ebbiri, n’ekibbo ekirimu emigaati egitali mizimbulukuse,+ 3 era okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.”