LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 14:1-7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Omusirusiru* agamba mu mutima gwe nti:

      “Yakuwa taliiyo.”+

      Beeyisa bubi era bye bakola bya muzizo.

      Tewali n’omu akola birungi.+

       2 Naye Yakuwa ayima mu ggulu n’atunuulira abaana b’abantu

      Okulaba obanga waliwo ategeera, okulaba obanga waliwo anoonya Yakuwa.+

       3 Bonna bawabye,+

      Bonna boonoonefu.

      Tewali akola birungi.

      Tewali n’omu bw’ati.

       4 Tewali n’omu ku boonoonyi ategeera?

      Balya abantu bange ng’abalya emmere.

      Tebakoowoola Yakuwa.

       5 Balifuna entiisa ey’amaanyi,+

      Kubanga Yakuwa ali n’omulembe gw’abatuukirivu.

       6 Mmwe aboonoonyi mugezaako okulemesa enteekateeka z’omunaku,

      Naye Yakuwa kye kiddukiro kye.+

       7 Singa nno Isirayiri afuna obulokozi okuva mu Sayuuni!+

      Yakuwa ng’akomezzaawo abantu be abaawambibwa,

      Yakobo k’asanyuke, Isirayiri k’ajaguze.

  • Abaruumi 3:10
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 10 nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali muntu mutuukirivu, wadde omu bw’ati;+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share