-
Nekkemiya 6:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Oluvannyuma bbugwe yaggwa okuzimbibwa ku lunaku olw’abiri mu ettaano olw’omwezi gwa Eruli;* yazimbibwa mu nnaku 52.
16 Abalabe baffe bonna olwakiwulira era n’ab’amawanga gonna agaali gatuliraanye olwakiraba, obuswavu ne bujula okubatta,+ era ne bakitegeera nti Katonda waffe ye yatuyamba okukola omulimu ogwo.
-
-
Eseza 6:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Kamani bwe yabuulira mukazi we Zeresi+ ne mikwano gye bonna ebintu byonna ebyali bimutuuseeko, abasajja be abagezigezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti: “Otandise okutoowazibwa mu maaso ga Moluddekaayi, era Moluddekaayi oyo bw’aba nga wa mu lulyo lw’Abayudaaya, tojja kumusinga, wabula ojja kuwangulwa mu maaso ge.”
-
-
Zabbuli 137:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Ai Yakuwa, jjukira
Abeedomu bye baayogera ku lunaku Yerusaalemi lwe kyagwa:
“Mukisuule! Mukisuule okutuukira ddala ku misingi gyakyo!”+
-