LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 24:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 Awo Yekoyakimu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ mutabani we Yekoyakini n’amusikira ku bwakabaka.

  • 2 Bassekabaka 24:8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 8 Yekoyakini+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 18, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.+ Nnyina yali ayitibwa Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi.

  • 2 Bassekabaka 24:15
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 15 Bw’atyo n’atwala Yekoyakini+ mu buwaŋŋanguse e Babulooni;+ yatwala ne maama wa kabaka, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu b’omu lubiri lwe, n’abasajja abatutumufu ab’omu nsi. Yabaggya mu Yerusaalemi n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni.

  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:9, 10
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 Yekoyakini+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 18, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu n’ennaku kkumi; yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa.+ 10 Ku ntandikwa y’omwaka, Kabaka Nebukadduneeza yatuma abasajja be bamutwale e Babulooni+ era batwale n’ebintu eby’omuwendo eby’omu nnyumba ya Yakuwa.+ Era yaddira Zeddeekiya muganda wa kitaawe n’amufuula kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.+

  • Yeremiya 22:24
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 24 “‘Nga bwe ndi omulamu,’ Yakuwa bw’agamba, ‘Koniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ ne bwe yandibadde nga ye mpeta eramba eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nnandimunaanuddeko!

  • Yeremiya 22:30
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 30 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

      ‘Muwandiike nti omusajja ono talina baana,

      Era nti tajja kutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwe,*

      Kubanga tewali muzzukulu we n’omu

      Ajja kutuula ku ntebe ya Dawudi era ajja kuddamu kufuga mu Yuda.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share