LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 24:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 24 Mu kiseera kya Yekoyakimu, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yalumba Yuda, Yekoyakimu n’afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, kyokka oluvannyuma n’amujeemera.

  • 2 Bassekabaka 25:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 25 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yagenda n’eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemi.+ Yasiisira okukirwanyisa era n’akizimbako ekigo,+

  • Yeremiya 5:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  6 Empologoma ey’omu kibira kyeva ebalumba,

      Omusege ogw’omu ddungu kyeguva gubasaanyaawo,

      N’engo kyeva eteegera okumpi n’ebibuga byabwe.

      Buli abifuluma agajambulwa.

      Kubanga okwonoona kwabwe kungi nnyo;

      Ebikolwa byabwe eby’obutali bwesigwa biyitiridde obungi.+

  • Yeremiya 50:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 “Abantu ba Isirayiri ndiga ezisaasaanye.+ Empologoma zibasaasaanyizza.+ Okusooka kabaka wa Bwasuli yabalya,+ ate oluvannyuma Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni n’akeketa amagumba gaabwe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share