-
Yeremiya 42:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
42 Awo abaduumizi b’eggye bonna, ne Yokanani+ mutabani wa Kaleya, ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna, abagagga n’abaavu, n’abato n’abakulu, ne bagenda 2 ne bagamba nnabbi Yeremiya nti: “Tukwegayiridde tukolere kye tukusaba, otusabire eri Yakuwa Katonda wo, osabire bano bonna abasigaddewo, kubanga ku bangi wasigaddewo batono,+ nga bw’olaba.
-