-
Yeremiya 41:16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye baagenda n’abantu abalala abaava e Mizupa, be baanunula mu mukono gwa Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya+ mutabani wa Akikamu. Baakomyawo okuva e Gibiyoni abasajja, abasirikale, abakazi, abaana, n’abakungu b’omu lubiri.
-
-
Yeremiya 42:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
42 Awo abaduumizi b’eggye bonna, ne Yokanani+ mutabani wa Kaleya, ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna, abagagga n’abaavu, n’abato n’abakulu, ne bagenda 2 ne bagamba nnabbi Yeremiya nti: “Tukwegayiridde tukolere kye tukusaba, otusabire eri Yakuwa Katonda wo, osabire bano bonna abasigaddewo, kubanga ku bangi wasigaddewo batono,+ nga bw’olaba. 3 Yakuwa Katonda wo k’atubuulire ekkubo lye tugwanidde okutambuliramu ne kye tugwanidde okukola.”
-