35 ‘Ebikolwa eby’obukambwe ebinkoleddwako ka bibeere ku Babulooni!’ bw’agamba oyo abeera mu Sayuuni.+
‘Era omusaayi gwange ka gubeere ku abo ababeera mu Bukaludaaya!’ bw’ayogera Yerusaalemi.”
36 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba nkuwoleza omusango gwo,+
Nja kuwoolera eggwanga ku lulwo.+
Nja kukaliza ennyanja ye era nkalize n’enzizi ze.+