29 Muyite abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
Abo bonna abaweta omutego.+
Musiisire wonna okumwetoolola; ka waleme kubaawo n’omu adduka.
Mumusasule nga bye yakola bwe biri.+
Mumukole nga bwe yakola.+
Kubanga yeekulumbaliza ku Yakuwa,
Ku Mutukuvu wa Isirayiri.+