-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Era Nebukadduneeza yatwala e Babulooni ebimu ku bintu by’omu nnyumba ya Yakuwa n’abiteeka mu lubiri lwe e Babulooni.+
-
-
Ezera 1:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Era Kabaka Kuulo yaggyayo ebintu eby’omu nnyumba ya Yakuwa Nebukadduneeza bye yali aggye mu Yerusaalemi n’abiteeka mu nnyumba ya katonda we.+
-
-
Yeremiya 51:34Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Anfudde ng’ekibya ekitaliimu kintu.
Ammize ng’omusota omunene;+
Olubuto lwe alujjuzza ebintu byange ebirungi.
Anjiiridde amazzi ne gantwala.
-
-
Danyeri 1:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
1 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu+ kabaka wa Yuda, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yagenda e Yerusaalemi n’akizingiza.+ 2 Yakuwa n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe,+ awamu n’ebimu ku bintu by’omu nnyumba* ya Katonda ow’amazima, n’abireeta mu nsi ya Sinaali*+ mu nnyumba* ya katonda we, n’abiteeka mu ggwanika lya katonda we.+
-