LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 42
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ebisenge ebiriirwamu (1-14)

      • Enjuyi ennya eza yeekaalu zipimibwa (15-20)

Ezeekyeri 42:1

Marginal References

  • +Ezk 40:2
  • +Ezk 42:13
  • +Ezk 41:12, 15

Ezeekyeri 42:2

Footnotes

  • *

    Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 42:3

Marginal References

  • +Ezk 41:10

Ezeekyeri 42:4

Footnotes

  • *

    Okusinziira ku Septuagint ey’Oluyonaani, “emikono 100 obuwanvu.” Ekiwandiiko ky’Olwebbulaniya kisoma nti: “ekkubo lya mukono gumu.” Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Ezk 42:10, 11

Ezeekyeri 42:10

Marginal References

  • +Ezk 41:12; 42:1

Ezeekyeri 42:11

Marginal References

  • +Ezk 42:4

Ezeekyeri 42:12

Marginal References

  • +Ezk 42:9

Ezeekyeri 42:13

Marginal References

  • +Ezk 42:1
  • +Lev 6:14, 16; 7:1, 6; 10:12, 13; 24:8, 9; Kbl 18:10; Ezk 40:46
  • +Lev 2:3; Kbl 18:9; Nek 13:5

Ezeekyeri 42:14

Marginal References

  • +Kuv 28:40; 29:8, 9; Lev 8:13; Ezk 44:19

Ezeekyeri 42:15

Footnotes

  • *

    Obut., “ennyumba ey’omunda.”

Marginal References

  • +Ezk 40:6

Ezeekyeri 42:16

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 42:20

Marginal References

  • +Ezk 40:5
  • +Ezk 45:1, 2
  • +Lev 10:10; Ezk 44:23; 2Ko 6:17

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 150, 152, 156

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 19

General

Ezk. 42:1Ezk 40:2
Ezk. 42:1Ezk 42:13
Ezk. 42:1Ezk 41:12, 15
Ezk. 42:3Ezk 41:10
Ezk. 42:4Ezk 42:10, 11
Ezk. 42:10Ezk 41:12; 42:1
Ezk. 42:11Ezk 42:4
Ezk. 42:12Ezk 42:9
Ezk. 42:13Ezk 42:1
Ezk. 42:13Lev 6:14, 16; 7:1, 6; 10:12, 13; 24:8, 9; Kbl 18:10; Ezk 40:46
Ezk. 42:13Lev 2:3; Kbl 18:9; Nek 13:5
Ezk. 42:14Kuv 28:40; 29:8, 9; Lev 8:13; Ezk 44:19
Ezk. 42:15Ezk 40:6
Ezk. 42:20Ezk 40:5
Ezk. 42:20Ezk 45:1, 2
Ezk. 42:20Lev 10:10; Ezk 44:23; 2Ko 6:17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 42:1-20

Ezeekyeri

42 Awo n’antwala mu luggya olw’ebweru okwolekera ebukiikakkono,+ n’annyingiza mu kizimbe ekyalimu ebisenge ebiriirwamu ekyali okumpi n’ekibangirizi,+ ebukiikakkono w’ekizimbe ekyali kiriraanyeewo.+ 2 Ekizimbe ekyo kyali emikono* 100 obuwanvu ku ludda olwaliko omulyango ogw’ebukiikakkono, ate obugazi kyali emikono 50. 3 Oluggya olw’omunda lwali emikono 20 obugazi,+ n’ebisenge ebiriirwamu byali wakati w’oluggya olw’omunda n’akabalaza ak’amayinja amaaliire ak’oluggya olw’ebweru. Ebisenge ebiriirwamu byali bya myaliiro essatu era embalaza zaabyo zaali zitunuuliganye. 4 Mu maaso g’ebisenge ebiriirwamu waaliwo olukuubo+ lwa mikono kkumi obugazi n’emikono 100 obuwanvu.* Emiryango gy’ebisenge ebyo gyali ku ludda olw’ebukiikakkono. 5 Ebisenge ebiriirwamu eby’omwaliiro ogwa waggulu byali bifunda okusinga eby’omwaliiro ogwa wakati n’ogwa wansi, olw’okuba embalaza zaabyo zaali nnene. 6 Ekizimbe kyali kya myaliiro esatu, kyokka nga tekirina mpagi ng’ezo ezaali mu mpya. Omwaliiro ogwa waggulu kyegwava guba omutono okusinga ogwa wakati n’ogwa wansi.

7 Ekisenge ky’amayinja eky’ebweru ekyali kiriraanye ebisenge ebiriirwamu okwolekera oluggya olw’ebweru, nga kitunudde mu bisenge ebirala ebiriirwamu, kyali emikono 50 obuwanvu. 8 Ebisenge ebiriirwamu ebyali ku ludda olwaliko oluggya olw’ebweru byali emikono 50 obuwanvu, naye ebyo ebyali bitunudde mu yeekaalu byali emikono 100 obuwanvu. 9 Ekizimbe ekyalimu ebisenge ebiriirwamu kyalina omulyango oguyingira ku ludda olw’ebuvanjuba, mwe baayitiranga okubiyingiramu nga bava mu luggya olw’ebweru.

10 Emabega w’ekisenge eky’amayinja eky’oluggya ekyali ku ludda olw’ebuvanjuba okuliraana ekibangirizi n’ennyumba, nawo waaliwo ebisenge ebiriirwamu.+ 11 Mu maaso gaabyo, waaliwo olukuubo ng’olwo olwali mu maaso g’ebisenge ebiriirwamu eby’oku ludda olw’ebukiikakkono.+ Ebisenge ebyo byali byenkana obuwanvu n’obugazi. Byonna byalina emiryango egifuluma egifaanagana era nga ne pulaani yaabyo y’emu. Emiryango gyabyo 12 gyali ng’egyo egy’ebisenge ebiriirwamu eby’oku ludda olw’ebukiikaddyo. Olukuubo we lutandikira okumpi n’ekisenge eky’amayinja okwolekera ebuvanjuba waaliwo omulyango oguyingira, abantu we baayingiriranga.+

13 Awo n’aŋŋamba nti: “Ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikakkono n’ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikaddyo ebiriraanye ekibangirizi,+ bye bisenge ebiriirwamu ebitukuvu bakabona abagenda mu maaso ga Yakuwa mwe baliira ebiweebwayo ebisinga obutukuvu.+ Omwo mwe bateeka ebiweebwayo ebisinga obutukuvu, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga kifo kitukuvu.+ 14 Bakabona bwe bayingira mu kifo ekitukuvu, tebalina kufuluma kugenda mu luggya olw’ebweru nga tebamaze kwambulamu byambalo bye baweererezaamu,+ kubanga bitukuvu. Balina okwambala engoye endala ne balyoka bagenda mu bifo ebikkirizibwamu abantu abalala.”

15 Bwe yamala okupima munda mu yeekaalu,* n’anfulumya ng’ampisa mu mulyango ogutunudde ebuvanjuba,+ n’apima ekifo kyonna.

16 N’apima oludda olw’ebuvanjuba ng’akozesa olumuli olupima.* Era okusinziira ku lumuli olupima, obuwanvu bwawo bwali emmuli 500 okuva ku ludda olumu okutuuka ku lulala.

17 N’apima oludda olw’ebukiikakkono, era okusinziira ku lumuli olupima, lwali emmuli 500 obuwanvu.

18 N’apima oludda olw’ebukiikaddyo, era okusinziira ku lumuli olupima, lwali emmuli 500 obuwanvu.

19 Ne yeetooloola n’agenda ku ludda olw’ebugwanjuba, n’alupima n’olumuli, era lwali emmuli 500 obuwanvu.

20 N’apima ekifo ekyo kyonna ku njuyi zaakyo ennya. Kyali kyetooloddwa ekisenge+ kya mmuli 500 obuwanvu n’emmuli 500 obugazi,+ okwawula ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share