LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abayisirayiri benda ku bakazi Abamowaabu (1-5)

      • Ekikolwa kya Fenekaasi (6-18)

Okubala 25:1

Marginal References

  • +Yos 2:1; Mi 6:5
  • +Kbl 31:16; 1Ko 10:8; Kub 2:14

Okubala 25:2

Marginal References

  • +Kuv 34:15; 1Ko 10:20
  • +Kuv 20:5

Okubala 25:3

Marginal References

  • +Ma 4:3; Yos 22:17; Zb 106:28, 29; Kos 9:10

Okubala 25:4

Footnotes

  • *

    Obut., “mu maaso g’enjuba.”

Okubala 25:5

Marginal References

  • +Kuv 18:21
  • +Kuv 22:20; 32:25, 27; Ma 13:6-9

Okubala 25:6

Marginal References

  • +Kbl 25:14, 15

Okubala 25:7

Marginal References

  • +Kuv 6:25; Yos 22:30

Okubala 25:8

Marginal References

  • +Zb 106:30

Okubala 25:9

Marginal References

  • +Kbl 25:4; Ma 4:3; 1Ko 10:8

Indexes

  • Research Guide

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 98

Okubala 25:11

Marginal References

  • +Kbl 25:7
  • +Zb 106:30, 31
  • +Kuv 20:5; 34:14; Ma 4:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2004, lup. 32

Okubala 25:13

Marginal References

  • +1By 6:4; Ezr 7:1, 5; 8:1, 2
  • +1Sk 19:10

Okubala 25:15

Marginal References

  • +Kbl 31:7, 8; Yos 13:21
  • +1By 1:32, 33

Okubala 25:17

Marginal References

  • +Kbl 31:1, 2

Okubala 25:18

Marginal References

  • +Kbl 25:3; 31:16
  • +Kbl 25:8, 15
  • +Kbl 25:9

General

Kubal. 25:1Yos 2:1; Mi 6:5
Kubal. 25:1Kbl 31:16; 1Ko 10:8; Kub 2:14
Kubal. 25:2Kuv 34:15; 1Ko 10:20
Kubal. 25:2Kuv 20:5
Kubal. 25:3Ma 4:3; Yos 22:17; Zb 106:28, 29; Kos 9:10
Kubal. 25:5Kuv 18:21
Kubal. 25:5Kuv 22:20; 32:25, 27; Ma 13:6-9
Kubal. 25:6Kbl 25:14, 15
Kubal. 25:7Kuv 6:25; Yos 22:30
Kubal. 25:8Zb 106:30
Kubal. 25:9Kbl 25:4; Ma 4:3; 1Ko 10:8
Kubal. 25:11Kbl 25:7
Kubal. 25:11Zb 106:30, 31
Kubal. 25:11Kuv 20:5; 34:14; Ma 4:24
Kubal. 25:131By 6:4; Ezr 7:1, 5; 8:1, 2
Kubal. 25:131Sk 19:10
Kubal. 25:15Kbl 31:7, 8; Yos 13:21
Kubal. 25:151By 1:32, 33
Kubal. 25:17Kbl 31:1, 2
Kubal. 25:18Kbl 25:3; 31:16
Kubal. 25:18Kbl 25:8, 15
Kubal. 25:18Kbl 25:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 25:1-18

Okubala

25 Isirayiri bwe yali mu Sitimu,+ abantu ne batandika okwenda ku bawala ba Mowaabu.+ 2 Abakazi baayita abantu ku ssaddaaka za bakatonda baabwe,+ era abantu ne balya ku ssaddaaka, ne bavunnamira ne bakatonda baabwe.+ 3 Bw’atyo Isirayiri ne yeetaba mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli;+ Yakuwa n’asunguwalira Isirayiri. 4 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Twala abo bonna abakulembeddemu abantu bano obawanike mu maaso ga Yakuwa emisana ttuku,* obusungu bwa Yakuwa buve ku Isirayiri.” 5 Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri+ nti: “Buli omu ku mmwe atte abasajja be abeetabye mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli.”+

6 Awo mu kiseera ekyo omu ku Bayisirayiri n’aleeta mu baganda be omukazi Omumidiyaani+ nga Musa n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri balaba, bwe baali nga bakaabira ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 7 Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, amangu ago n’asituka n’ava mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe, 8 n’agoberera omusajja Omuyisirayiri mu weema, n’abafumita bombi, omusajja Omuyisirayiri, n’omukazi mu bitundu bye eby’ekyama. Awo ekirwadde ekyali kibaluseewo mu Bayisirayiri ne kikomezebwa.+ 9 Abo abaafa ekirwadde baali 24,000.+

10 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 11 “Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye obusungu bwange ku bantu ba Isirayiri olw’okuba tagumiikirizza mu bo butali bwesigwa gye ndi.+ Kyenvudde sisaanyaawo Bayisirayiri, wadde nga njagala okunneemalirako.+ 12 Olw’ensonga eyo mugambe nti, ‘nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 Ejja kuba ndagaano ey’obwakabona obw’olubeerera eri ye n’eri ezzadde lye eririmuddirira,+ olw’okuba tagumiikirizza butali bwesigwa eri Katonda we,+ n’atangirira abantu ba Isirayiri.’”

14 Omusajja Omuyisirayiri eyattibwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali ayitibwa Zimuli, mutabani wa Salu, era yali mwami mu emu ku nnyumba za bakitaabwe b’Abasimiyoni. 15 Ate omukazi Omumidiyaani eyattibwa yali ayitibwa Kozebi, muwala wa Zuuli;+ Zuuli yali mukulu wa kika kya kitaawe mu Midiyaani.+

16 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa nti: 17 “Mukijjanye Abamidiyaani era mubatte,+ 18 kubanga baabaleetera emitawaana nga babasendasenda mu ngeri ey’olukujjukujju, ne babaleetera okwonoona ku bikwata ku Pyoli.+ Era baabasendasenda okwonoona nga bayitira mu Kozebi, muwala w’omwami Omumidiyaani, mwannyinaabwe eyattibwa+ ku lunaku ekirwadde lwe kyabajjira olw’ebyo ebikwata ku Pyoli.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share