LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Miriyamu ne Alooni bawakanya obukulembeze bwa Musa (1-3)

        • Musa y’asinga obuwombeefu (3)

      • Yakuwa awolereza Musa (4-8)

      • Miriyamu akubwa ebigenge (9-16)

Okubala 12:1

Marginal References

  • +Kuv 2:16, 21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2009, lup. 20

    8/1/2004, lup. 30-31

Okubala 12:2

Marginal References

  • +Kuv 4:14-16, 30; 15:20; 28:30; Mi 6:4
  • +Kbl 11:1

Okubala 12:3

Footnotes

  • *

    Oba, “yali mwetoowaze okusinga abantu bonna.”

Marginal References

  • +Mat 11:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2019, lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 8

    4/1/2003, lup. 20

Okubala 12:5

Marginal References

  • +Kuv 34:5; Kbl 11:25

Okubala 12:6

Marginal References

  • +Lub 15:1; 46:2; Kuv 24:9-11
  • +Lub 31:10, 11

Okubala 12:7

Footnotes

  • *

    Obut., “Mu nnyumba yange yonna akiraze nti mwesigwa.”

Marginal References

  • +Beb 3:2, 5

Okubala 12:8

Footnotes

  • *

    Obut., “Kamwa ku kamwa.”

Marginal References

  • +Kuv 33:11; Ma 34:10

Okubala 12:10

Marginal References

  • +Ma 24:9
  • +2By 26:19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2004, lup. 31

Okubala 12:13

Marginal References

  • +Kuv 32:11; Yak 5:16

Okubala 12:14

Marginal References

  • +Lev 13:45, 46; Kbl 5:2

Okubala 12:15

Marginal References

  • +Ma 24:9

Okubala 12:16

Marginal References

  • +Kbl 11:35; 33:18
  • +Kbl 10:12

General

Kubal. 12:1Kuv 2:16, 21
Kubal. 12:2Kuv 4:14-16, 30; 15:20; 28:30; Mi 6:4
Kubal. 12:2Kbl 11:1
Kubal. 12:3Mat 11:29
Kubal. 12:5Kuv 34:5; Kbl 11:25
Kubal. 12:6Lub 15:1; 46:2; Kuv 24:9-11
Kubal. 12:6Lub 31:10, 11
Kubal. 12:7Beb 3:2, 5
Kubal. 12:8Kuv 33:11; Ma 34:10
Kubal. 12:10Ma 24:9
Kubal. 12:102By 26:19
Kubal. 12:13Kuv 32:11; Yak 5:16
Kubal. 12:14Lev 13:45, 46; Kbl 5:2
Kubal. 12:15Ma 24:9
Kubal. 12:16Kbl 11:35; 33:18
Kubal. 12:16Kbl 10:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 12:1-16

Okubala

12 Miriyamu ne Alooni ne batandika okwogera obubi ku Musa olw’omukazi Omukuusi+ gwe yali awasizza. 2 Ne bagamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu Musa yekka? Tayogera ng’ayitira ne mu ffe?”+ Yakuwa yali awulira.+ 3 Musa ye yali asingayo okuba omuwombeefu mu bantu bonna*+ abaali ku nsi.

4 Amangu ago Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni ne Miriyamu nti: “Mufulume mwensatule mugende ku weema ey’okusisinkaniramu.” Awo bonsatule ne bafuluma ne bagenda. 5 Yakuwa n’akkira mu mpagi y’ekire+ n’ayimirira ku mulyango gwa weema n’ayita Alooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda. 6 N’abagamba nti: “Muwulirize ebigambo byange. Singa wabaawo nnabbi wa Yakuwa mu mmwe, nneemanyisa gy’ali mu kwolesebwa,+ era njogera naye mu kirooto.+ 7 Naye si bwe kiri eri omuweereza wange Musa! Akwasiddwa ennyumba yange yonna.*+ 8 Njogera naye maaso ku maaso,*+ mu ngeri etegeerekeka obulungi so si mu ngero; era Yakuwa yeeyoleka mu maaso ge. Kati lwaki temutidde kwogera bubi ku muweereza wange Musa?”

9 Awo Yakuwa n’abasunguwalira nnyo, era n’avaawo. 10 Ekire ne kiva ku weema, era laba! Miriyamu yali akubiddwa ebigenge ebyali ebyeru ng’omuzira.+ Alooni n’akyuka n’atunuulira Miriyamu n’alaba ng’akubiddwa ebigenge.+ 11 Amangu ago Alooni n’agamba Musa nti: “Nkwegayiridde Mukama wange! Totuvunaana kibi kino! Kye tukoze kibadde kya busirusiru. 12 Nkwegayiridde tomuleka kubeera ng’omwana azaalibwa ng’afudde, azaalibwa ng’omubiri gwe guliiriddwako ekitundu!” 13 Awo Musa n’akaabirira Yakuwa n’amugamba nti: “Ai Katonda, nkwegayiridde muwonye!”+

14 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Singa kitaawe amuwandulidde amalusu mu maaso, teyandibadde na buswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggibwe mu lusiisira abeere ebweru waalwo+ okumala ennaku musanvu, oluvannyuma alyoke akomezebwewo.” 15 Bw’atyo Miriyamu n’aggibwa mu lusiisira n’abeera ebweru waalwo okumala ennaku musanvu,+ era abantu tebaava mu kifo ekyo okutuusa Miriyamu lwe yakomezebwawo. 16 Oluvannyuma abantu baava e Kazerosi+ ne basiisira mu ddungu ly’e Palani.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share