Olubereberye
10 Bino bye byafaayo bya batabani ba Nuuwa bano: Seemu,+ Kaamu, ne Yafeesi.
Oluvannyuma lw’Amataba baatandika okuzaala abaana.+ 2 Abaana ba Yafeesi be bano: Gomeri,+ Magoogi,+ Madayi, Yavani, Tubali,+ Meseki,+ ne Tirasi.+
3 Abaana ba Gomeri be bano: Asukenaazi,+ Lifasi, ne Togaluma.+
4 Abaana ba Yavani be bano: Erisa,+ Talusiisi,+ Kittimu,+ ne Dodanimu.
5 Mu bano mwe mwasibuka abantu b’oku bizinga abaasaasaanira mu bitundu byabwe okusinziira ku nnimi zaabwe, ku bika mwe basibuka, ne ku mawanga gaabwe.
6 Abaana ba Kaamu be bano: Kuusi, Mizulayimu,+ Puti,+ ne Kanani.+
7 Abaana ba Kuusi be bano: Seeba,+ Kavira, Sabuta, Laama,+ ne Sabuteka.
Abaana ba Laama be bano: Seba ne Dedani.
8 Kuusi yazaala Nimuloodi. Ono ye yasooka okuba ow’amaanyi ku nsi. 9 Yali muyizzi wa maanyi aziyiza Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki waliwo enjogera egamba nti: “Nga Nimuloodi omuyizzi ow’amaanyi aziyiza Yakuwa.” 10 Obwakabaka bwe bwatandikira* Babeeri,+ Ereki,+ Akadi, n’e Kalune, mu nsi ya Sinaali.+ 11 Yava mu nsi eyo n’agenda e Bwasuli+ n’azimba Nineeve,+ Lekobosi-yira, Kala, 12 ne Leseni, ekyali wakati wa Nineeve ne Kala: Kino kye kibuga ekinene.*
13 Mizulayimu yazaala Ludimu,+ Anamimu, Lekabimu, Nafutukimu,+ 14 Pasulusimu,+ Kasulukimu (mu ono mwe mwasibuka Abafirisuuti),+ ne Kafutolimu.+
15 Kanani yazaala Sidoni+ omwana we omubereberye, ne Keesi,+ 16 n’Abayebusi,+ n’Abaamoli,+ n’Abagirugaasi, 17 n’Abakiivi,+ n’Abaluki, n’Abasiini, 18 n’Abaluvadi,+ n’Abazemali, n’Abakamasi.+ Oluvannyuma ebika by’Abakanani byasaasaana. 19 Ensalo y’Abakanani yali eva Sidoni n’eyolekera Gerali+ ekiriraanye Gaaza,+ n’etuuka e Sodomu, Ggomola,+ Aduma, n’e Zeboyimu,+ okuliraana Lasa. 20 Abo be bazzukulu ba Kaamu okusinziira ku bika mwe baasibuka, ku nnimi zaabwe, ku bitundu gye babeera ne ku mawanga gaabwe.
21 Seemu muto wa Yafeesi,* era jjajja w’abaana ba Eberi+ bonna, naye yazaala abaana. 22 Abaana ba Seemu be bano: Eramu,+ Asuli,+ Alupakusaadi,+ Ludi, ne Alamu.+
23 Abaana ba Alamu be bano: Uzzi, Kuuli, Geseri, ne Masi.
24 Alupakusaadi yazaala Seera,+ Seera n’azaala Eberi.
25 Eberi yazaala abaana babiri ab’obulenzi. Omu yali ayitibwa Peregi,*+ kubanga mu kiseera kye ensi yayawulibwamu. Muganda we yali ayitibwa Yokutaani.+
26 Yokutaani yazaala Alumodaadi, Serefu, Kazalumavesi, Yera,+ 27 Kadolaamu, Uzali, Dikula, 28 Obali, Abimayeeri, Seba, 29 Ofiri,+ Kavira, ne Yobabu. Abo bonna baali baana ba Yokutaani.
30 Ekitundu kye baali babeeramu kyali kiva Mesa ne kituuka e Sefali, ensi ey’ensozi ey’Ebuvanjuba.
31 Abo be bazzukulu ba Seemu okusinziira ku bika mwe baasibuka, n’ennimi zaabwe, ng’ebitundu byabwe n’amawanga gaabwe bwe byali.+
32 Bino bye bika by’abaana ba Nuuwa okusinziira ku buzaale bwabwe ne ku mawanga gaabwe. Mu bano mwe mwava amawanga agaasaasaana mu nsi oluvannyuma lw’Amataba.+