2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
33 Manase+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 12, era yafugira emyaka 55 mu Yerusaalemi.+
2 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga Yakuwa ge yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+ 3 Yaddamu okuzimba ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yali amenyeemenye,+ n’azimbira Babbaali ebyoto, n’akola n’ebikondo ebisinzibwa,* era n’avunnamira eggye lyonna ery’oku ggulu n’aliweerezanga.+ 4 Ate era yazimba ebyoto mu nnyumba ya Yakuwa,+ ennyumba Yakuwa gye yayogerako nti: “Erinnya lyange lijja kubeeranga mu Yerusaalemi emirembe gyonna.”+ 5 Yazimbira eggye lyonna ery’oku ggulu ebyoto mu mpya bbiri ez’ennyumba ya Yakuwa.+ 6 Yayokya* abaana be mu muliro+ mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,+ n’akola eby’obufumu,+ eby’obulaguzi, n’eby’obulogo, era n’assaawo abalubaale n’abalaguzi.+ Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.
7 Ekifaananyi ekyole kye yali akoze yakiteeka mu nnyumba ya Katonda ow’amazima,+ Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti: “Mu nnyumba eno era mu Yerusaalemi kye nnonze mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe nja okuteeka erinnya lyange libeere omwo lubeerera.+ 8 Era siriddamu kuggya Bayisirayiri mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, singa banaafubanga okukwata byonna bye nnabalagira, Amateeka gonna, n’ebiragiro ebyabaweebwa okuyitira mu Musa.” 9 Manase yeeyongera okuwabya Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi n’abaleetera okukola ebintu ebibi okusinga amawanga Yakuwa ge yasaanyaawo mu maaso g’Abayisirayiri.+
10 Yakuwa yayogeranga ne Manase n’abantu be naye nga tebafaayo.+ 11 Yakuwa kyeyava abaleetera abakulu b’amagye ga kabaka wa Bwasuli ne bawamba Manase nga bakozesa amalobo ne bamusiba empingu bbiri ez’ekikomo ne bamutwala e Babulooni. 12 Ennaku bwe yamuyitirirako, ne yeegayirira Yakuwa Katonda we amusaasire, era ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 Ne yeeyongera okumusaba, era Katonda n’akkiriza okwegayirira kwa Manase n’awulira bye yamusaba, n’amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe;+ awo Manase n’ategeera nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.+
14 Oluvannyuma lw’ebyo yazimba bbugwe ow’ebweru ku Kibuga kya Dawudi,+ ebuvanjuba wa Gikoni+ mu kiwonvu okutuukira ddala ku Mulyango gw’Eby’ennyanja,+ era n’amwetoolooza okutuuka ku Oferi.+ Yamuzimba nga muwanvu nnyo. Ate era yateeka abakulu b’amagye mu bibuga by’omu Yuda byonna ebyaliko bbugwe. 15 Yaggya bakatonda n’ekifaananyi mu nnyumba ya Yakuwa+ era n’ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi lw’ennyumba ya Yakuwa+ ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16 Yaddaabiriza n’ekyoto kya Yakuwa+ n’atandika okuweerayo ku kyo ssaddaaka ez’emirembe+ ne ssaddaaka ez’okwebaza+ era n’agamba abantu b’omu Yuda okuweereza Yakuwa Katonda wa Isirayiri. 17 Kyokka abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, naye nga baziwaayo eri Yakuwa Katonda waabwe.
18 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Manase, essaala gye yasaba Katonda we, n’ebigambo abo abaamutegeezanga okwolesebwa bye baamugambanga mu linnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu byafaayo bya bakabaka ba Isirayiri. 19 Essaala ye+ n’engeri okwegayirira kwe gye kwaddibwamu, n’ebibi bye byonna n’obutali bwesigwa bwe,+ ne gye yazimba ebifo ebigulumivu n’ateekayo ebikondo ebisinzibwa*+ n’ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza, byawandiikibwa mu bigambo by’abo abaamutegeezanga okwolesebwa. 20 Awo Manase n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika okumpi n’ennyumba ye; mutabani we Amoni n’amusikira ku bwakabaka.+
21 Amoni+ yalina emyaka 22 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.+ 22 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa nga kitaawe Manase bwe yakola,+ n’awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi byonna ebyole kitaawe Manase bye yali akoze,+ era n’abiweerezanga. 23 Naye Amoni teyeetoowaza mu maaso ga Yakuwa+ nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza,+ wabula yeeyongera bweyongezi kwonoona. 24 Oluvannyuma abaweereza be baamukolera olukwe+ ne bamuttira mu nnyumba ye. 25 Naye abantu b’omu Yuda ne batta abo bonna abaakola olukwe okutta Kabaka Amoni,+ era ne bafuula Yosiya+ mutabani we kabaka mu kifo kye.