LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Eky’okukola bakyewaggula (1-18)

Ekyamateeka 13:3

Marginal References

  • +Is 8:19; Yer 27:9
  • +Ma 8:2
  • +Ma 6:5; 10:12; Mat 22:37

Ekyamateeka 13:4

Marginal References

  • +Ma 10:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2002, lup. 16-17

Ekyamateeka 13:5

Marginal References

  • +Ma 18:20
  • +Ma 17:2, 3, 7; 1Ko 5:13

Ekyamateeka 13:6

Marginal References

  • +1Sk 11:4; 2Pe 2:1

Ekyamateeka 13:8

Marginal References

  • +Bag 1:8

Ekyamateeka 13:9

Marginal References

  • +Kuv 22:20; 32:27; Kbl 25:5
  • +Ma 17:2, 3, 7

Ekyamateeka 13:10

Marginal References

  • +Lev 20:2, 27

Ekyamateeka 13:11

Marginal References

  • +Ma 17:13; 1Ti 5:20

Ekyamateeka 13:14

Marginal References

  • +Ma 19:15; 1Ti 5:19

Ekyamateeka 13:15

Marginal References

  • +Ma 17:4, 5; 2By 28:6
  • +Kuv 22:20

Ekyamateeka 13:17

Marginal References

  • +Yos 6:18
  • +Lub 22:15, 17; 26:3, 4

Ekyamateeka 13:18

Footnotes

  • *

    Oba, “okuwuliriza eddoboozi lya.”

Marginal References

  • +Ma 6:18

General

Ma. 13:3Is 8:19; Yer 27:9
Ma. 13:3Ma 8:2
Ma. 13:3Ma 6:5; 10:12; Mat 22:37
Ma. 13:4Ma 10:20
Ma. 13:5Ma 18:20
Ma. 13:5Ma 17:2, 3, 7; 1Ko 5:13
Ma. 13:61Sk 11:4; 2Pe 2:1
Ma. 13:8Bag 1:8
Ma. 13:9Kuv 22:20; 32:27; Kbl 25:5
Ma. 13:9Ma 17:2, 3, 7
Ma. 13:10Lev 20:2, 27
Ma. 13:11Ma 17:13; 1Ti 5:20
Ma. 13:14Ma 19:15; 1Ti 5:19
Ma. 13:15Ma 17:4, 5; 2By 28:6
Ma. 13:15Kuv 22:20
Ma. 13:17Yos 6:18
Ma. 13:17Lub 22:15, 17; 26:3, 4
Ma. 13:18Ma 6:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 13:1-18

Ekyamateeka

13 “Bwe wabangawo mu mmwe nnabbi oba omuntu alagula ng’ayitira mu birooto n’akuwa akabonero oba n’abaako ky’alagula, 2 akabonero ako oba ekyo ky’alagudde ne kituukirira, n’akugamba nti, ‘Ka tugoberere bakatonda abalala, bakatonda b’otomanyi era tubaweereze,’ 3 towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo oba omuloosi w’ebirooto+ oyo, kubanga Yakuwa Katonda wammwe abagezesa+ okumanya obanga mwagala Yakuwa Katonda wammwe n’omutima gwammwe gwonna n’obulamu bwammwe bwonna.+ 4 Yakuwa Katonda wammwe gwe muba mugoberera era gwe muba mutya era ebiragiro bye bye muba mukwata era eddoboozi lye lye muba muwuliriza; ye gwe muba muweereza era gwe muba munywererako.+ 5 Naye nnabbi oyo oba omuloosi w’ebirooto oyo attibwanga,+ kubanga anaabanga abagambye okujeemera Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri era eyabanunula mu nnyumba ey’obuddu. Omuntu oyo akuggya mu kkubo Yakuwa Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu; oggyangawo ekibi mu mmwe.+

6 “Singa muganda wo, omwana wa nnyoko, oba mutabani wo oba muwala wo oba mukazi wo gw’oyagala ennyo oba mukwano gwo nfiirabulago, agezaako okukusendasenda mu kyama ng’agamba nti, ‘Tugende tuweereze bakatonda abalala,’+ bakatonda b’otomanyi era ne bajjajjaabo be baali batamanyi, 7 abamu ku bakatonda b’amawanga agakwetoolodde, ka gabe ago agakuli okumpi oba ago agakuli ewala, okuva ku luuyi olumu olw’ensi okutuuka ku lulala, 8 tokkirizanga by’akugamba era tomuwulirizanga;+ tomukwatirwanga kisa, era tomusaasiranga wadde okumuzibira, 9 naye omuttanga.+ Ggwe onoosookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja.+ 10 Omukubanga amayinja n’afa,+ kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa okuva ku Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu. 11 Kale Isirayiri yonna eneewuliranga n’etya, era tewali n’omu mu mmwe aliddamu kukola kintu kibi ng’ekyo.+

12 “Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga byo Yakuwa Katonda wo by’agenda okukuwa obeeremu nga bagamba nti, 13 ‘Abasajja abatalina mugaso bavudde mu mmwe okukyamya abantu b’omu kibuga kyabwe nga bagamba nti: “Ka tugende tuweereze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyi,’ 14 oneekenneenyanga n’onoonyereza era n’obuuliriza n’obwegendereza ku nsonga eyo;+ era bwe kinaakakasibwanga nti kituufu, nti ekintu ekyo eky’omuzizo kikoleddwa wakati mu ggwe, 15 ottanga abantu b’omu kibuga ekyo n’ekitala.+ Ekibuga ne byonna ebikirimu n’ensolo zaamu obizikirizanga.+ 16 Okuŋŋaanyizanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu kibangirizi kyakyo n’oyokya ekibuga, era omunyago gwakyo gunaabanga ekiweebwayo ekiramba eri Yakuwa Katonda wo. Ekibuga kijja kufuuka ntuumu ya bifunfugu emirembe n’emirembe. Tekiddangamu okuzimbibwa nate. 17 Totwalanga ku bintu ebiba byawuddwawo okuzikirizibwa,+ Yakuwa alyoke akomye obusungu bwe, akukwatirwe ekisa, akusaasire, era akwaze nga bwe yalayirira bajjajjaabo.+ 18 Kubanga olina okugondera* Yakuwa Katonda wo ng’okwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero, osobole okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share