LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Bava ku Lusozi Kolebu (1-8)

      • Abaami n’abalamuzi balondebwa (9-18)

      • Obujeemu e Kadesi-baneya (19-46)

        • Abayisirayiri bagaana okuyingira mu nsi (26-33)

        • Balemererwa okuwamba Kanani (41-46)

Ekyamateeka 1:2

Marginal References

  • +Ma 9:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 9

Ekyamateeka 1:3

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana ba Isirayiri.”

Marginal References

  • +Kbl 32:13; 33:38

Ekyamateeka 1:4

Marginal References

  • +Kbl 21:23, 24; Yos 12:1, 2
  • +Kbl 21:33-35
  • +Yos 13:8, 12

Ekyamateeka 1:5

Marginal References

  • +Ma 4:8; 17:18; Nek 8:7

Ekyamateeka 1:6

Marginal References

  • +Kuv 19:1; Kbl 10:11, 12

Ekyamateeka 1:7

Footnotes

  • *

    Kirabika mu nsozi za Lebanooni.

Marginal References

  • +Lub 15:16
  • +Yos 12:2, 3
  • +Yos 9:1, 2
  • +Yos 13:1, 5; 1Sk 9:19
  • +Lub 15:18

Ekyamateeka 1:8

Marginal References

  • +Lub 26:3
  • +Lub 28:13
  • +Lub 12:7; 13:14, 15; 17:1, 7

Ekyamateeka 1:9

Marginal References

  • +Kuv 18:17, 18

Ekyamateeka 1:10

Marginal References

  • +Lub 15:1, 5; Kuv 32:13; Kbl 26:51; Ma 10:22

Ekyamateeka 1:11

Marginal References

  • +1Sk 3:8
  • +Lub 12:1-3; 22:15, 17; 26:3, 4; Kuv 23:25

Ekyamateeka 1:12

Marginal References

  • +Kuv 18:17, 18; Kbl 11:11; 20:3

Ekyamateeka 1:13

Marginal References

  • +Kuv 18:21

Ekyamateeka 1:15

Marginal References

  • +Kuv 18:25

Ekyamateeka 1:16

Marginal References

  • +Kuv 23:8; Ma 16:18; Yok 7:24
  • +Kuv 22:21; Lev 19:34; 24:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1993, lup. 22

Ekyamateeka 1:17

Marginal References

  • +Lev 19:15; Bar 2:11
  • +Kuv 23:3
  • +Nge 29:25
  • +2By 19:6
  • +Kuv 18:25, 26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 9

    3/1/1993, lup. 22

Ekyamateeka 1:19

Marginal References

  • +Kbl 10:12; Ma 8:14, 15; Yer 2:6
  • +Kbl 13:29
  • +Kbl 13:26

Indexes

  • Research Guide

    ‘Ensi Ennungi’, lup. 8-9

Ekyamateeka 1:21

Marginal References

  • +Kuv 23:27; Ma 1:8

Ekyamateeka 1:22

Marginal References

  • +Kbl 13:1, 2

Ekyamateeka 1:23

Marginal References

  • +Kbl 13:3

Ekyamateeka 1:24

Marginal References

  • +Kbl 13:17

Ekyamateeka 1:25

Marginal References

  • +Kbl 13:23-27

Ekyamateeka 1:26

Marginal References

  • +Kbl 14:1-4

Ekyamateeka 1:28

Footnotes

  • *

    Obut., “baleetedde emitima gyaffe okusaanuuka.”

  • *

    Kwe kugamba, bbugwe omuwanvu ennyo.

Marginal References

  • +Kbl 32:9; Yos 14:7, 8
  • +Kbl 13:28, 33
  • +Kbl 13:22; Yos 11:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 11

Ekyamateeka 1:29

Marginal References

  • +Kbl 14:9

Ekyamateeka 1:30

Marginal References

  • +Kuv 14:14; Yos 10:42
  • +Kbl 14:22

Ekyamateeka 1:32

Marginal References

  • +Zb 78:22; 106:24; Beb 3:16, 19; Yud 5

Ekyamateeka 1:33

Marginal References

  • +Kuv 13:21; 40:36; Kbl 10:33, 34; Zb 78:14

Ekyamateeka 1:34

Marginal References

  • +Kbl 14:28, 35; 32:10-12; Ma 2:14; Zb 95:11; Beb 3:11

Ekyamateeka 1:35

Marginal References

  • +Kbl 14:29, 35; 1Ko 10:1, 5; Beb 3:17

Ekyamateeka 1:36

Marginal References

  • +Kbl 14:24; Yos 14:9

Ekyamateeka 1:37

Marginal References

  • +Kbl 20:12; 27:13, 14; Ma 3:26; Zb 106:32

Ekyamateeka 1:38

Footnotes

  • *

    Obut., “ayimirira mu maaso go.”

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda amugumizza.”

Marginal References

  • +Kuv 33:11; Kbl 11:28
  • +Kbl 14:38
  • +Kbl 27:18; Ma 31:7; Yos 1:6, 9

Ekyamateeka 1:39

Marginal References

  • +Kbl 14:3
  • +Kbl 14:30, 31

Ekyamateeka 1:40

Marginal References

  • +Kbl 14:25

Ekyamateeka 1:41

Marginal References

  • +Kbl 14:39-45

Ekyamateeka 1:42

Marginal References

  • +Lev 26:14, 17

General

Ma. 1:2Ma 9:23
Ma. 1:3Kbl 32:13; 33:38
Ma. 1:4Kbl 21:23, 24; Yos 12:1, 2
Ma. 1:4Kbl 21:33-35
Ma. 1:4Yos 13:8, 12
Ma. 1:5Ma 4:8; 17:18; Nek 8:7
Ma. 1:6Kuv 19:1; Kbl 10:11, 12
Ma. 1:7Yos 13:1, 5; 1Sk 9:19
Ma. 1:7Lub 15:18
Ma. 1:7Lub 15:16
Ma. 1:7Yos 12:2, 3
Ma. 1:7Yos 9:1, 2
Ma. 1:8Lub 26:3
Ma. 1:8Lub 28:13
Ma. 1:8Lub 12:7; 13:14, 15; 17:1, 7
Ma. 1:9Kuv 18:17, 18
Ma. 1:10Lub 15:1, 5; Kuv 32:13; Kbl 26:51; Ma 10:22
Ma. 1:111Sk 3:8
Ma. 1:11Lub 12:1-3; 22:15, 17; 26:3, 4; Kuv 23:25
Ma. 1:12Kuv 18:17, 18; Kbl 11:11; 20:3
Ma. 1:13Kuv 18:21
Ma. 1:15Kuv 18:25
Ma. 1:16Kuv 23:8; Ma 16:18; Yok 7:24
Ma. 1:16Kuv 22:21; Lev 19:34; 24:22
Ma. 1:17Lev 19:15; Bar 2:11
Ma. 1:17Kuv 23:3
Ma. 1:17Nge 29:25
Ma. 1:172By 19:6
Ma. 1:17Kuv 18:25, 26
Ma. 1:19Kbl 10:12; Ma 8:14, 15; Yer 2:6
Ma. 1:19Kbl 13:29
Ma. 1:19Kbl 13:26
Ma. 1:21Kuv 23:27; Ma 1:8
Ma. 1:22Kbl 13:1, 2
Ma. 1:23Kbl 13:3
Ma. 1:24Kbl 13:17
Ma. 1:25Kbl 13:23-27
Ma. 1:26Kbl 14:1-4
Ma. 1:28Kbl 32:9; Yos 14:7, 8
Ma. 1:28Kbl 13:28, 33
Ma. 1:28Kbl 13:22; Yos 11:21
Ma. 1:29Kbl 14:9
Ma. 1:30Kuv 14:14; Yos 10:42
Ma. 1:30Kbl 14:22
Ma. 1:32Zb 78:22; 106:24; Beb 3:16, 19; Yud 5
Ma. 1:33Kuv 13:21; 40:36; Kbl 10:33, 34; Zb 78:14
Ma. 1:34Kbl 14:28, 35; 32:10-12; Ma 2:14; Zb 95:11; Beb 3:11
Ma. 1:35Kbl 14:29, 35; 1Ko 10:1, 5; Beb 3:17
Ma. 1:36Kbl 14:24; Yos 14:9
Ma. 1:37Kbl 20:12; 27:13, 14; Ma 3:26; Zb 106:32
Ma. 1:38Kuv 33:11; Kbl 11:28
Ma. 1:38Kbl 14:38
Ma. 1:38Kbl 27:18; Ma 31:7; Yos 1:6, 9
Ma. 1:39Kbl 14:3
Ma. 1:39Kbl 14:30, 31
Ma. 1:40Kbl 14:25
Ma. 1:41Kbl 14:39-45
Ma. 1:42Lev 26:14, 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 1:1-46

Ekyamateeka

1 Bino bye bigambo Musa bye yagamba Isirayiri yonna mu ddungu eriri okumpi ne Yoludaani, eddungu eriri mu maaso ga Sufu wakati wa Palani ne Toferi ne Labbaani ne Kazerosi ne Dizakaba. 2 Waliwo olugendo lwa nnaku 11 okuva e Kolebu okutuuka e Kadesi-baneya+ ng’oyitidde mu kkubo erigenda ku Lusozi Seyiri. 3 Mu mwaka ogw’amakumi ana+ mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olusooka mu mwezi, Musa yagamba Abayisirayiri* ebyo byonna Yakuwa bye yamulagira okubagamba. 4 Kino kyaliwo ng’amaze okuwangula Sikoni+ kabaka w’Abaamoli eyali abeera mu Kesuboni, ne Ogi+ kabaka wa Basani eyali abeera mu Asutaloosi, mu Edereyi.+ 5 Musa yatandika okunnyonnyola Amateeka gano+ mu kitundu kya Yoludaani mu nsi ya Mowaabu, ng’agamba nti:

6 “Yakuwa Katonda waffe yatugamba nga tuli mu Kolebu nti: ‘Mumaze ekiseera kiwanvu mu kitundu kino eky’ensozi.+ 7 Musituke mugende mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi,+ ne mu bitundu ebiriraanyeewo byonna: mu Alaba,+ mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, mu Negebu, ne mu kitundu ekiriraanye ennyanja.+ Mugende mu nsi y’Abakanani, mutuukire ddala e Lebanooni*+ ne ku mugga omunene, Omugga Fulaati.+ 8 Laba ntadde ensi mu maaso gammwe. Muyingire mutwale ensi Yakuwa gye yalayira okuwa bakitammwe, Ibulayimu ne Isaaka+ ne Yakobo,+ n’ezzadde lyabwe.’+

9 “Mu kiseera ekyo nnabagamba nti, ‘Sisobola kubeetikka nzekka.+ 10 Yakuwa Katonda wammwe abaazizza, era kaakano muli bangi ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.+ 11 Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi+ emirundi lukumi okusinga bwe muli, era abawe omukisa nga bwe yabasuubiza.+ 12 Nnyinza ntya okwetikka nzekka omugugu gwammwe era n’okugumira ebizibu byammwe n’okuyomba kwammwe?+ 13 Mulonde mu bika byammwe abasajja ab’amagezi, abategeevu, era abalina obumanyirivu, mbafuule bakulembeze bammwe.’+ 14 Ne munziramu nti, ‘Ekintu ky’otugambye okukola kirungi.’ 15 Awo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, abasajja ab’amagezi era abalina obumanyirivu, ne mbafuula abakulembeze bammwe, abaami ab’enkumi n’abaami ab’ebikumi n’abaami ab’amakumi ataano n’abaami ab’ekkumi n’abaami abalala ab’omu bika byammwe.+

16 “Era mu kiseera ekyo nnalagira abalamuzi bammwe ne mbagamba nti, ‘Bwe munaabanga muwuliriza ensonga za baganda bammwe, mulamulenga mu butuukirivu+ omuntu ne muganda we oba n’omugwira.+ 17 Bwe munaabanga mulamula temusalirizanga.+ Atali wa kitiibwa mumuwulirizenga mu ngeri y’emu nga bwe muwuliriza ow’ekitiibwa.+ Temutyanga bantu+ kubanga omusango mugusala ku lwa Katonda;+ era ensonga enaabakaluubiriranga mugireetanga gye ndi ne ngiwulira.’+ 18 Era mu kiseera ekyo nnabalagira ebintu byonna bye musaanidde okukola.

19 “Oluvannyuma twava mu Kolebu ne tutambula mu ddungu eryo lyonna eddene era ery’entiisa+ lye mwalaba nga tugenda mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi,+ nga Yakuwa Katonda waffe bwe yatulagira; era oluvannyuma twatuuka e Kadesi-baneya.+ 20 Awo ne mbagamba nti, ‘Mutuuse mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi Yakuwa Katonda waffe ky’agenda okutuwa. 21 Laba, Yakuwa Katonda wammwe abagabudde ensi. Mwambuke mugitwale nga Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba.+ Temutya era temutekemuka.’

22 “Kyokka mmwenna mwajja gye ndi ne muŋŋamba nti, ‘Ka tusindikeyo abasajja batukulemberemu banoonyereze ku nsi, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu era n’ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’+ 23 Nnalaba ng’ekyo kirungi era ne nnonda abasajja 12 mu mmwe, omu omu okuva mu buli kika.+ 24 Ne bagenda ne bambuka mu kitundu eky’ensozi+ ne batuuka mu Kiwonvu Esukoli ne baketta ensi. 25 Ne banoga ebimu ku bibala eby’omu nsi eyo ne babireeta gye tuli, era ne batugamba nti, ‘Ensi Yakuwa Katonda waffe gy’agenda okutuwa nnungi.’+ 26 Naye mwagaana okugenda, era ne mujeemera ekiragiro kya Yakuwa Katonda wammwe.+ 27 Mwemulugunyiza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Yakuwa yatuggya mu nsi ya Misiri okutuwaayo mu mikono gy’Abaamoli batuzikirize olw’okuba yali tatwagala. 28 Wa eyo gye tulaga? Baganda baffe batuterebudde*+ nga bagamba nti, “Abantu baayo ba maanyi era bawanvu okutusinga, n’ebibuga binene era biriko bbugwe atuukira ddala ku ggulu,*+ ate era twalabyeyo n’abaana b’Abaanaki.”’+

29 “Awo ne mbagamba nti, ‘Temutekemuka era temubatya.+ 30 Yakuwa Katonda wammwe ajja kubakulembera, era ajja kubalwanirira+ nga bwe yakola e Misiri nga mulaba.+ 31 Era ne mu ddungu mwalaba engeri Yakuwa Katonda wammwe gye yabasitulanga buli yonna gye mwalaganga, ng’omuntu bw’asitula omwana we, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.’ 32 Wadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, temwesiga Yakuwa Katonda wammwe,+ 33 eyali abakulembera mu kkubo okubanoonyeza ekifo eky’okusiisiramu. Ekiro yakozesanga omuliro ate emisana n’akozesa ekire okubalaga ekkubo lye mwalina okutambuliramu.+

34 “Yakuwa yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala era n’alayira+ ng’agamba nti, 35 ‘Tewali n’omu ku basajja ab’omulembe guno omubi aliraba ensi ennungi gye nnalayira okuwa bakitammwe,+ 36 okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye aligiraba, era ye n’abaana be ndibawa ekitundu mu nsi gye yatambulamu, kubanga agoberedde Yakuwa n’omutima gwe gwonna.+ 37 (Era nange Yakuwa yansunguwalira olw’okubeera mmwe n’aŋŋamba nti, “Naawe toligiyingiramu.+ 38 Yoswa mutabani wa Nuuni omuweereza wo*+ y’aligiyingiramu.’+ Mugumye*+ kubanga y’alikulemberamu Isirayiri okutwala ensi eyo.”) 39 Abaana bammwe be mugambye nti: “Bajja kufuuka munyago!”+ ne batabani bammwe abatamanyi kirungi na kibi, be baligiyingiramu, era be ndigiwa bagitwale.+ 40 Naye mmwe mukyuke muyite mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu+ mugende mu ddungu.’

41 “Awo ne munziramu nti, ‘Twonoonye eri Yakuwa. Tujja kugenda tulwane nga Yakuwa Katonda waffe bw’atulagidde!’ Era buli omu ku mmwe yayambalira eby’okulwanyisa bye nga mulowooza nti kyangu okwambuka ku lusozi.+ 42 Naye Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Bagambe nti: “Temwambuka kugenda kulwana, kubanga sijja kuba nammwe;+ bwe munaagenda abalabe bammwe bajja kubawangula.”’ 43 Nnabagamba naye ne mutawuliriza. Mwajeemera ekiragiro kya Yakuwa ne mwetulinkiriza ne mugezaako okwambuka ku lusozi. 44 Awo Abaamoli abaali babeera ku lusozi olwo ne bajja okubaŋŋanga, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babasaasaanya mu Seyiri okutuukira ddala e Koluma. 45 Oluvannyuma mwakomawo ne mukaabira mu maaso ga Yakuwa, naye Yakuwa n’atabawuliriza wadde okubategera okutu. 46 Eyo ye nsonga lwaki e Kadesi mwamalayo ebbanga ddene.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share