Ekyamateeka
1 Bino bye bigambo Musa bye yagamba Isirayiri yonna mu ddungu eriri okumpi ne Yoludaani, eddungu eriri mu maaso ga Sufu wakati wa Palani ne Toferi ne Labbaani ne Kazerosi ne Dizakaba. 2 Waliwo olugendo lwa nnaku 11 okuva e Kolebu okutuuka e Kadesi-baneya+ ng’oyitidde mu kkubo erigenda ku Lusozi Seyiri. 3 Mu mwaka ogw’amakumi ana+ mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olusooka mu mwezi, Musa yagamba Abayisirayiri* ebyo byonna Yakuwa bye yamulagira okubagamba. 4 Kino kyaliwo ng’amaze okuwangula Sikoni+ kabaka w’Abaamoli eyali abeera mu Kesuboni, ne Ogi+ kabaka wa Basani eyali abeera mu Asutaloosi, mu Edereyi.+ 5 Musa yatandika okunnyonnyola Amateeka gano+ mu kitundu kya Yoludaani mu nsi ya Mowaabu, ng’agamba nti:
6 “Yakuwa Katonda waffe yatugamba nga tuli mu Kolebu nti: ‘Mumaze ekiseera kiwanvu mu kitundu kino eky’ensozi.+ 7 Musituke mugende mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi,+ ne mu bitundu ebiriraanyeewo byonna: mu Alaba,+ mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, mu Negebu, ne mu kitundu ekiriraanye ennyanja.+ Mugende mu nsi y’Abakanani, mutuukire ddala e Lebanooni*+ ne ku mugga omunene, Omugga Fulaati.+ 8 Laba ntadde ensi mu maaso gammwe. Muyingire mutwale ensi Yakuwa gye yalayira okuwa bakitammwe, Ibulayimu ne Isaaka+ ne Yakobo,+ n’ezzadde lyabwe.’+
9 “Mu kiseera ekyo nnabagamba nti, ‘Sisobola kubeetikka nzekka.+ 10 Yakuwa Katonda wammwe abaazizza, era kaakano muli bangi ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.+ 11 Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi+ emirundi lukumi okusinga bwe muli, era abawe omukisa nga bwe yabasuubiza.+ 12 Nnyinza ntya okwetikka nzekka omugugu gwammwe era n’okugumira ebizibu byammwe n’okuyomba kwammwe?+ 13 Mulonde mu bika byammwe abasajja ab’amagezi, abategeevu, era abalina obumanyirivu, mbafuule bakulembeze bammwe.’+ 14 Ne munziramu nti, ‘Ekintu ky’otugambye okukola kirungi.’ 15 Awo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, abasajja ab’amagezi era abalina obumanyirivu, ne mbafuula abakulembeze bammwe, abaami ab’enkumi n’abaami ab’ebikumi n’abaami ab’amakumi ataano n’abaami ab’ekkumi n’abaami abalala ab’omu bika byammwe.+
16 “Era mu kiseera ekyo nnalagira abalamuzi bammwe ne mbagamba nti, ‘Bwe munaabanga muwuliriza ensonga za baganda bammwe, mulamulenga mu butuukirivu+ omuntu ne muganda we oba n’omugwira.+ 17 Bwe munaabanga mulamula temusalirizanga.+ Atali wa kitiibwa mumuwulirizenga mu ngeri y’emu nga bwe muwuliriza ow’ekitiibwa.+ Temutyanga bantu+ kubanga omusango mugusala ku lwa Katonda;+ era ensonga enaabakaluubiriranga mugireetanga gye ndi ne ngiwulira.’+ 18 Era mu kiseera ekyo nnabalagira ebintu byonna bye musaanidde okukola.
19 “Oluvannyuma twava mu Kolebu ne tutambula mu ddungu eryo lyonna eddene era ery’entiisa+ lye mwalaba nga tugenda mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi,+ nga Yakuwa Katonda waffe bwe yatulagira; era oluvannyuma twatuuka e Kadesi-baneya.+ 20 Awo ne mbagamba nti, ‘Mutuuse mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi Yakuwa Katonda waffe ky’agenda okutuwa. 21 Laba, Yakuwa Katonda wammwe abagabudde ensi. Mwambuke mugitwale nga Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba.+ Temutya era temutekemuka.’
22 “Kyokka mmwenna mwajja gye ndi ne muŋŋamba nti, ‘Ka tusindikeyo abasajja batukulemberemu banoonyereze ku nsi, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu era n’ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’+ 23 Nnalaba ng’ekyo kirungi era ne nnonda abasajja 12 mu mmwe, omu omu okuva mu buli kika.+ 24 Ne bagenda ne bambuka mu kitundu eky’ensozi+ ne batuuka mu Kiwonvu Esukoli ne baketta ensi. 25 Ne banoga ebimu ku bibala eby’omu nsi eyo ne babireeta gye tuli, era ne batugamba nti, ‘Ensi Yakuwa Katonda waffe gy’agenda okutuwa nnungi.’+ 26 Naye mwagaana okugenda, era ne mujeemera ekiragiro kya Yakuwa Katonda wammwe.+ 27 Mwemulugunyiza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Yakuwa yatuggya mu nsi ya Misiri okutuwaayo mu mikono gy’Abaamoli batuzikirize olw’okuba yali tatwagala. 28 Wa eyo gye tulaga? Baganda baffe batuterebudde*+ nga bagamba nti, “Abantu baayo ba maanyi era bawanvu okutusinga, n’ebibuga binene era biriko bbugwe atuukira ddala ku ggulu,*+ ate era twalabyeyo n’abaana b’Abaanaki.”’+
29 “Awo ne mbagamba nti, ‘Temutekemuka era temubatya.+ 30 Yakuwa Katonda wammwe ajja kubakulembera, era ajja kubalwanirira+ nga bwe yakola e Misiri nga mulaba.+ 31 Era ne mu ddungu mwalaba engeri Yakuwa Katonda wammwe gye yabasitulanga buli yonna gye mwalaganga, ng’omuntu bw’asitula omwana we, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.’ 32 Wadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, temwesiga Yakuwa Katonda wammwe,+ 33 eyali abakulembera mu kkubo okubanoonyeza ekifo eky’okusiisiramu. Ekiro yakozesanga omuliro ate emisana n’akozesa ekire okubalaga ekkubo lye mwalina okutambuliramu.+
34 “Yakuwa yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala era n’alayira+ ng’agamba nti, 35 ‘Tewali n’omu ku basajja ab’omulembe guno omubi aliraba ensi ennungi gye nnalayira okuwa bakitammwe,+ 36 okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye aligiraba, era ye n’abaana be ndibawa ekitundu mu nsi gye yatambulamu, kubanga agoberedde Yakuwa n’omutima gwe gwonna.+ 37 (Era nange Yakuwa yansunguwalira olw’okubeera mmwe n’aŋŋamba nti, “Naawe toligiyingiramu.+ 38 Yoswa mutabani wa Nuuni omuweereza wo*+ y’aligiyingiramu.’+ Mugumye*+ kubanga y’alikulemberamu Isirayiri okutwala ensi eyo.”) 39 Abaana bammwe be mugambye nti: “Bajja kufuuka munyago!”+ ne batabani bammwe abatamanyi kirungi na kibi, be baligiyingiramu, era be ndigiwa bagitwale.+ 40 Naye mmwe mukyuke muyite mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu+ mugende mu ddungu.’
41 “Awo ne munziramu nti, ‘Twonoonye eri Yakuwa. Tujja kugenda tulwane nga Yakuwa Katonda waffe bw’atulagidde!’ Era buli omu ku mmwe yayambalira eby’okulwanyisa bye nga mulowooza nti kyangu okwambuka ku lusozi.+ 42 Naye Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Bagambe nti: “Temwambuka kugenda kulwana, kubanga sijja kuba nammwe;+ bwe munaagenda abalabe bammwe bajja kubawangula.”’ 43 Nnabagamba naye ne mutawuliriza. Mwajeemera ekiragiro kya Yakuwa ne mwetulinkiriza ne mugezaako okwambuka ku lusozi. 44 Awo Abaamoli abaali babeera ku lusozi olwo ne bajja okubaŋŋanga, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babasaasaanya mu Seyiri okutuukira ddala e Koluma. 45 Oluvannyuma mwakomawo ne mukaabira mu maaso ga Yakuwa, naye Yakuwa n’atabawuliriza wadde okubategera okutu. 46 Eyo ye nsonga lwaki e Kadesi mwamalayo ebbanga ddene.