Engero
30 Obubaka obukulu Aguli mutabani wa Yake bwe yategeeza Isiyeri ne Ukali.
2 Mu bantu bonna nze nsingirayo ddala obutabaako kye mmanyi,+
Era sirina kutegeera omuntu kw’asaanidde okuba nakwo.
3 Siyize magezi,
Era okumanya kw’Oyo Asinga Obutukuvu sikulina.
4 Ani yali alinnye mu ggulu ate n’akka?+
Ani yali akuŋŋaanyirizza empewo mu bibatu bye byombi?
Ani yali asibye amazzi mu kyambalo kye?+
Ani yassaawo* ensalo zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, era erinnya ly’omwana we y’ani, bw’oba omanyi?+
7 Waliwo ebintu bibiri bye nkusaba.
Nsaba obimpe nga sinnafa.
8 Obulimba n’ebigambo ebitali bya mazima biggye we ndi obisse wala.+
Tompa bwavu wadde obugagga.
Ka ndye omugabo gwange ogw’emmere,+
9 Nneme okukkuta ne nkwegaana nga ŋŋamba nti, “Yakuwa y’ani?”+
Era nneme okuba omwavu ne nziba, ne nvumaganya erinnya* lya Katonda wange.
10 Towaayirizanga muweereza eri mukama we,
Kubanga ayinza okukukolimira n’obaako omusango.+
11 Waliwo abantu abakolimira bakitaabwe
Era ne batassa kitiibwa mu bannyaabwe.+
13 Waliwo abantu ab’amaaso ag’amalala,
Era ab’amaaso ageegulumiza.+
14 Waliwo abantu abalina amannyo agalinga ebitala,
Era abalina emba eziringa ebiso;
Balya abanaku ab’oku nsi
N’abantu abaavu.+
15 Ebinoso birina abaana babiri abagamba nti: “Mpa! Mpa!”
Waliwo ebintu bisatu ebitamatira,
Ebintu bina ebitagamba nti, “Kimala!”
17 Omuntu akudaalira kitaawe era atagondera nnyina,+
Nnamuŋŋoona ez’omu kiwonvu* zirimuggyamu eriiso,
Era abaana b’empungu balirirya.+
18 Waliwo ebintu bisatu ebisukkiridde okutegeera kwange,*
Era waliwo bina bye sitegeera:
19 Ekkubo ly’empungu mu bbanga,
Ekkubo ly’omusota ku lwazi,
Ekkubo ly’ekyombo ku nnyanja,
Era n’ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi.
20 Lino lye kkubo ly’omukazi omwenzi:
Alya, n’asangula ku mimwa gye;
Awo n’agamba nti, “Sirina kikyamu kye nkoze.”+
21 Waliwo ebintu bisatu ebikankanya ensi,
Era waliwo ebintu bina by’etayinza kugumiikiriza:
22 Omuddu bw’afuga nga kabaka,+
Omusirusiru bw’aba n’emmere ennyingi,
23 Omukazi atayagalibwa bw’afumbirwa,
Era n’omuweereza omukazi bw’atwala* ekifo ky’omukyala mukama we.+
24 Waliwo ebintu bina ku nsi nga bye bimu ku bisingayo obutono,
29 Waliwo ebintu bisatu; weewaawo bina,
Ebitambula mu ngeri eyeewuunyisa:
30 Empologoma, esinga ensolo zonna amaanyi,
Etedduka muntu yenna;+
31 Embwa enjizzi; embuzi ennume;
Ne kabaka ali n’eggye lye.