Yobu
19 Awo Yobu n’addamu nti:
4 Bwe mba nga nnakola ensobi,
Ensobi eyo eba yange.
5 Bwe mweyongera okunneekulumbalizaako,
Nga mugamba nti ekivume ekindiko kiŋŋwanidde,
6 Mumanye nga Katonda y’ampabizza,
N’ankwasiza mu kitimba kye.
8 Ekkubo lyange alizibye n’ekisenge ky’amayinja, era sirina we mpita;
Amakubo gange agataddemu ekizikiza.+
9 Anzigyeeko ekitiibwa kyange,
Era aggye engule ku mutwe gwange.
10 Ammenyaamenya enjuyi zonna okutuusa lwe nsaanawo;
Essuubi lyange alisiguukuludde ng’omuti.
11 Obusungu bwe bumbuubuukira,
Era antwala ng’omulabe we.+
12 Eggye lye lijja ne linzingiza,
Lisiisira okwetooloola weema yange.
13 Angobyeeko baganda bange,
N’abo abammanyi banjabulidde.+
15 Abo be nnakyazanga mu maka gange+ n’abazaana bange bantwala ng’omuntu gwe batamanyi;
Ndi mugwira gye bali.
16 Mpita omuddu wange, naye tannyanukula;
Mmwegayirira ankwatirwe ekisa.
18 N’abaana abato bannyooma;
Bwe nsituka, bansekerera.
21 Munsaasire, munsaasire mikwano gyange,
Kubanga Katonda ankubye.+
23 Kale singa ebigambo byange biwandiikiddwa,
Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24 Kale singa byoleddwa ku lwazi,
N’ekkalaamu ey’ekyuma n’erisasi ne bibeera okwo emirembe n’emirembe!
26 Wadde ng’olususu lwange lwonooneddwa bwe luti,
Ndiraba Katonda nga nkyalina omubiri gwange,
27 Nze kennyini ndimulaba, so si mulala,+
Amaaso gange galimulaba.
Naye muli mpulira nga ntendewaliddwa!
28 Kubanga mugamba nti, ‘Tumuyigganya tutya?’+
Okuva bwe kiri nti nze nvaako obuzibu.