Ekyamateeka
30 “Ebigambo bino byonna bwe birimala okukutuukako, omukisa n’ebikolimo bye ntadde mu maaso go,+ n’obijjukira*+ ng’oli mu mawanga gonna Yakuwa Katonda wo gy’aliba akusaasaanyirizza,+ 2 n’okomawo eri Yakuwa Katonda wo+ n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna,+ n’owuliriza eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero, ggwe n’abaana bo, 3 Yakuwa Katonda wo alikomyawo abawambe bo+ n’akusaasira+ era n’akukuŋŋaanya okuva mu mawanga gonna Yakuwa Katonda wo gy’aliba akusaasaanyirizza.+ 4 Abantu bo ne bwe balisaasaana okutuukira ddala ensi gy’ekoma, Yakuwa Katonda wo alikukuŋŋaanya n’akukomyawo.+ 5 Yakuwa Katonda wo alikuleeta mu nsi bakitaabo gye baafuna, era oligitwala; alikukolera ebirungi era alikwaza okusinga bakitaabo.+ 6 Yakuwa Katonda wo alirongoosa* omutima gwo n’ogw’ezzadde lyo,+ osobole okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, olyoke obeere mulamu.+ 7 Ebikolimo bino byonna Yakuwa Katonda wo alibireeta ku balabe bo abaakukyawa era abaakuyigganya.+
8 “Era oliddamu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, era n’okwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero. 9 Yakuwa Katonda wo alikuwa ebintu bingi okuva mu mirimu gyonna egy’emikono gyo,+ n’ayaza abaana bo n’ensolo zo n’ebibala by’ettaka lyo, kubanga Yakuwa aliddamu okukusanyukira n’akukolera ebirungi nga bwe yasanyukira bajjajjaabo.+ 10 Kubanga oliwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’okwata ebiragiro bye n’amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky’Amateeka, era olikomawo eri Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna.+
11 “Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.+ 12 Tekiri mu ggulu nti onoogamba nti, ‘Ani anaalinnya mu ggulu akituleetere, tusobole okukiwulira era tukikolereko?’+ 13 Era tekiri mitala wa nnyanja nti onoogamba nti, ‘Ani anaagenda emitala w’ennyanja akituleetere, tusobole okukiwulira era tukikolereko?’ 14 Ekigambo kiri kumpi nnyo naawe, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo,+ osobole okukikolerako.+
15 “Laba, nteeka leero mu maaso go obulamu n’ebirungi, okufa n’ebibi.+ 16 Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wo bye nkuwa leero, n’oyagalanga Yakuwa Katonda wo,+ n’otambuliranga mu makubo ge, era n’okwatanga ebiragiro bye n’amateeka ge, onooba mulamu+ era onooyala, era Yakuwa Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy’ogenda okutwala.+
17 “Naye omutima gwo bwe gulikyuka+ n’otowuliriza, era n’osendebwasendebwa n’ovunnamira bakatonda abalala n’obaweereza,+ 18 mbagamba leero nti mujja kusaanawo.+ Temujja kuwangaala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani. 19 Mpita eggulu n’ensi okuba abajulizi gye muli leero nti ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo;+ weeroboze obulamu olyoke obeere mulamu+ ggwe ne bazzukulu bo,+ 20 ng’oyagala Yakuwa Katonda wo,+ ng’owuliriza eddoboozi lye, era ng’omunywererako,+ kubanga ye bwe bulamu bwo, era ku bubwe ojja kuwangaala mu nsi Yakuwa gye yalayira okuwa bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.”+