Yobu
20 Awo Zofali+ Omunaamasi n’addamu nti:
2 “Ebirowoozo byange kyebivudde bimpaliriza okwogera,
Kubanga ndi munakuwavu.
3 Mpulidde okunenya okunnyiizizza;
Okutegeera kwange kumpaliriza okubaako kye nziramu.
4 Mazima ddala, kino wandibadde okimanyi,
Kubanga kibadde bwe kityo kasookedde omuntu* ateekebwa ku nsi,+
5 Nti essanyu ly’omubi liba lya kaseera katono
Era nti essanyu ly’oyo atatya Katonda* liba lya kaseera buseera.+
6 Ekitiibwa kye ne bwe kirinnya okutuuka mu ggulu
N’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7 Alisaanawo emirembe gyonna ng’empitambi ye;
Abo abaamulabanga balyebuuza nti, ‘Ali ludda wa?’
8 Alibulawo ng’ekirooto, ne bataddamu kumulaba;
Aligobebwa ng’okwolesebwa okw’ekiro.
9 Eriiso eryamulabako teririddamu kumulaba,
N’ekifo kye tekiriddamu kumulabako.+
10 Abaana be balyagala okusaasirwa abaavu,
Era aliddiza abalala eby’obugagga byabwe.+
11 Amagumba ge gaali gajjudde amaanyi g’ekivubuka,
Naye amaanyi ago aligalamira nago mu nfuufu.
12 Wadde ng’ekibi kimuwoomera mu kamwa,
N’akikweka wansi w’olulimi lwe,
13 N’akigaaya mpolampola nga tayagala kiggweewo,
Era n’akibatika mu kamwa ke,
14 Ky’alya kijja kwonoonekera munda ye;
Kijja kuba ng’obusagwa* bw’enswera munda ye.
15 Amize eby’obugagga, naye ajja kubisesema;
Byonna Katonda ajja kubiggya mu lubuto lwe.
16 Ajja kunuuna obusagwa bw’enswera;
Amannyo* g’omusota ogw’obusagwa gajja kumutta.
17 Taliraba migga gy’amazzi,
Egy’omubisi gw’enjuki, n’egy’omuzigo.
19 Kubanga amenyeemenye abaavu n’abaleka awo;
Anyaze ennyumba gy’ataazimba.
20 Naye taliba na mirembe;
Eby’obugagga by’alina tebirimuwonya.
21 Tasigazizzaawo kya kulya;
Eyo ye nsonga lwaki eby’obugagga bye tebiriba bya lubeerera.
22 Eby’obugagga bye bwe birisukkirira obungi, alyeraliikirira;
Era alifuna ebizibu bingi.
23 Bw’aliba alya,
Katonda alimwolekeza obusungu bwe,
Bulimutonnyako ne butuuka mu byenda bye.
24 Bw’alidduka eby’okulwanyisa eby’ekyuma,
Obusaale obulasibwa okuva ku mutego ogw’ekikomo bulimufumita.
26 Ekizikiza ekikutte kirindiridde eby’obugagga bye;
Omuliro ogutaliiko awujja gulimwokya;
Akabi kalituuka ku abo bonna abaliwonawo mu weema ye.
27 Eggulu liryanika ekibi kye;
N’ensi erimulwanyisa.
28 Amataba galisaanyaawo ennyumba ye;
Amazzi galiba mangi nnyo ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.*
29 Ogwo gwe mugabo Katonda gw’awa omuntu omubi,
Era bwe busika Katonda bw’amuwa.”