LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 45
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekitundu ekitukuvu n’ekibuga (1-6)

      • Ettaka ly’omwami (7, 8)

      • Abaami balina okuba ab’amazima (9-12)

      • Abantu bye bawaayo; omwami (13-25)

Ezeekyeri 45:1

Footnotes

  • *

    Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Yos 14:1, 2; Ezk 47:21, 22
  • +Ezk 48:20
  • +Ezk 48:8, 9

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 219-220

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1999, lup. 19, 26

Ezeekyeri 45:2

Marginal References

  • +Ezk 42:20
  • +Yos 21:1, 2

Ezeekyeri 45:4

Marginal References

  • +Ezk 48:10, 11
  • +Ezk 40:46

Ezeekyeri 45:5

Marginal References

  • +Ezk 48:13
  • +Ezk 40:17

Ezeekyeri 45:6

Marginal References

  • +Ezk 48:15

Ezeekyeri 45:7

Marginal References

  • +Ezk 48:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2007, lup. 22

    3/1/1999, lup. 19, 26

Ezeekyeri 45:8

Marginal References

  • +Is 32:1; 60:17; Yer 22:17; 23:5; Ezk 22:27; 46:18; Mi 3:1-3
  • +Yos 11:23

Ezeekyeri 45:9

Marginal References

  • +Yer 22:3; Mi 6:8; Zek 8:16
  • +Mi 2:2

Ezeekyeri 45:10

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Lev 19:36; Nge 11:1; Am 8:5; Mi 6:10, 11

Ezeekyeri 45:11

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 45:12

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

  • *

    Laba Ebyong. B14.

  • *

    Oba, “mina.” Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 30:13

Ezeekyeri 45:14

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 45:15

Marginal References

  • +Lev 2:1
  • +Lev 1:10
  • +Lev 3:1
  • +Lev 1:4; 6:30; Beb 9:22

Ezeekyeri 45:16

Marginal References

  • +Kuv 30:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2010, lup. 26

    3/1/1999, lup. 19

Ezeekyeri 45:17

Marginal References

  • +1By 16:2; 2By 30:24
  • +1Sk 8:64
  • +2By 35:7
  • +Is 66:23
  • +Ma 16:16; 2By 8:12, 13; 31:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2010, lup. 26

Ezeekyeri 45:18

Marginal References

  • +Lev 16:16

Ezeekyeri 45:19

Marginal References

  • +Ezk 41:21

Ezeekyeri 45:20

Marginal References

  • +Lev 4:27, 28
  • +Lev 16:20

Ezeekyeri 45:21

Marginal References

  • +Lev 23:5
  • +Kuv 12:18

Ezeekyeri 45:22

Marginal References

  • +Lev 4:13, 14

Ezeekyeri 45:23

Marginal References

  • +Lev 23:8

Ezeekyeri 45:24

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. B14.

Ezeekyeri 45:25

Marginal References

  • +Lev 23:34; Ma 16:13; 2By 7:8; Zek 14:16

General

Ezk. 45:1Yos 14:1, 2; Ezk 47:21, 22
Ezk. 45:1Ezk 48:20
Ezk. 45:1Ezk 48:8, 9
Ezk. 45:2Ezk 42:20
Ezk. 45:2Yos 21:1, 2
Ezk. 45:4Ezk 48:10, 11
Ezk. 45:4Ezk 40:46
Ezk. 45:5Ezk 48:13
Ezk. 45:5Ezk 40:17
Ezk. 45:6Ezk 48:15
Ezk. 45:7Ezk 48:21
Ezk. 45:8Is 32:1; 60:17; Yer 22:17; 23:5; Ezk 22:27; 46:18; Mi 3:1-3
Ezk. 45:8Yos 11:23
Ezk. 45:9Yer 22:3; Mi 6:8; Zek 8:16
Ezk. 45:9Mi 2:2
Ezk. 45:10Lev 19:36; Nge 11:1; Am 8:5; Mi 6:10, 11
Ezk. 45:12Kuv 30:13
Ezk. 45:15Lev 2:1
Ezk. 45:15Lev 1:10
Ezk. 45:15Lev 3:1
Ezk. 45:15Lev 1:4; 6:30; Beb 9:22
Ezk. 45:16Kuv 30:14
Ezk. 45:171By 16:2; 2By 30:24
Ezk. 45:171Sk 8:64
Ezk. 45:172By 35:7
Ezk. 45:17Is 66:23
Ezk. 45:17Ma 16:16; 2By 8:12, 13; 31:3
Ezk. 45:18Lev 16:16
Ezk. 45:19Ezk 41:21
Ezk. 45:20Lev 4:27, 28
Ezk. 45:20Lev 16:20
Ezk. 45:21Lev 23:5
Ezk. 45:21Kuv 12:18
Ezk. 45:22Lev 4:13, 14
Ezk. 45:23Lev 23:8
Ezk. 45:25Lev 23:34; Ma 16:13; 2By 7:8; Zek 14:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 45:1-25

Ezeekyeri

45 “‘Bwe munaagabanyaamu ensi okuba obusika,+ munaawaayo eri Yakuwa ekitundu ku nsi yammwe okuba ekitundu ekitukuvu.+ Ekitundu ekyo kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu, n’emikono* 10,000 obugazi.+ Kyonna kijja kuba kitundu kitukuvu. 2 Mu kyo mujja kubaamu ekitundu ekyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya ekinaabaamu ekifo ekitukuvu; kijja kuba emikono 500 obuwanvu n’emikono 500 obugazi;+ era kijja kuba kyetooloddwa ettaka ery’okulundirako, nga lya mikono 50.+ 3 Ku kitundu ekyo ojja kupimako ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi, era omwo mwe mujja okuba yeekaalu, ekintu ekisingayo obutukuvu. 4 Kijja kuba kitundu kitukuvu nga kya bakabona+ abaweereza mu kifo ekitukuvu, abajja mu maaso ga Yakuwa okumuweereza.+ Omwo mwe mujja okuba ennyumba zaabwe n’ekifo ekitukuvu ekya yeekaalu.

5 “‘Abaleevi, abaweereza b’omu yeekaalu, bajja kuweebwa ettaka lya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi,+ era bajja kuba n’ebisenge ebiriirwamu 20.+

6 “‘Ekibuga mujja kukirekerawo ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu, (ng’obuwanvu bwakyo bwenkana n’obw’ekitundu ekitukuvu) n’emikono 5,000 obugazi.+ Kijja kuba kya nnyumba ya Isirayiri yonna.

7 “‘Omwami ajja kuba n’ettaka ku njuyi zombi ez’ekitundu ekitukuvu era ne ku njuyi zombi ez’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba liriraanye ekitundu ekitukuvu n’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba ku luuyi olw’ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba. Obuwanvu bwalyo okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba, bujja kuba bwenkana n’obuwanvu bw’erimu ku ttaka ly’ebika bya Isirayiri.+ 8 Ettaka eryo lijja kuba lirye mu Isirayiri. Abaami bange tebajja kuddamu kunyigiriza bantu bange,+ era ensi bajja kugigabanyizaamu ab’ennyumba ya Isirayiri ng’ebika byabwe bwe biri.’+

9 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mmwe abaami ba Isirayiri muyitirizza!’

“‘Mukomye ebikolwa byammwe eby’obukambwe n’okunyigiriza abantu, mukole eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu.+ Mulekere awo okunyaga ebintu by’abantu bange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 10 ‘Mukozese minzaani entuufu, n’ebipimo bya efa* ne basi* ebituufu.+ 11 Walina okubaawo ekipimo eky’enkalakkalira ekya efa n’ekya basi. Ekipimo kya basi kirina kuba kimu kya kkumi ekya komeri,* ate efa erina kuba kimu kya kkumi ekya komeri. Komeri y’ejja okuba ekipimo ekinaasinziirwangako okupima. 12 Sekeri*+ ejja kuba yenkana gera* 20. Sekeri 20 gattako sekeri 25 gattako sekeri 15 zijja kuba zenkana maane* emu.’

13 “‘Bino bye munaawangayo: kimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri y’eŋŋaano, n’ekimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri ya ssayiri. 14 Omugabo gw’amafuta g’ezzeyituuni gujja kupimibwanga mu kipimo kya basi. Basi yenkana kimu kya kkumi ekya koro,* era basi kkumi zenkana komeri emu, kubanga komeri emu yenkana basi kkumi. 15 Okuva mu ndiga za Isirayiri mujja kuwangayo endiga emu ku buli ndiga 200. Ezo zijja kuba za kiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa,+ ne ssaddaaka ez’emirembe,+ okusobola okutangirira ebibi by’abantu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.

16 “‘Abantu bonna mu Isirayiri bajja kuwanga omwami wa Isirayiri ebintu ebyo.+ 17 Omwami oyo y’anaavunaanyizibwanga ku biweebwayo ebyokebwa,+ ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,+ n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa mu kiseera ky’embaga,+ ne ku kuboneka kw’omwezi, ne ku Ssabbiiti,+ ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri.+ Y’anaategekanga ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekiweebwayo ekyokebwa, ne ssaddaaka ez’emirembe, okusobola okutangirira ebibi by’ab’ennyumba ya Isirayiri.’

18 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku olusooka, mu mwezi ogusooka, oddiranga ente ento ennume ennamu obulungi, n’otukuza yeekaalu n’evaako ekibi.+ 19 Kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agussa ku mwango gwa yeekaalu+ ne ku nsonda ennya ez’ekitundu ky’ekyoto ekyokusatu, ne ku mwango gw’omulyango ogw’oluggya olw’omunda. 20 Ekyo ky’onookolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lwa buli muntu anaakolanga ekibi mu butamanya oba nga tagenderedde;+ era mujja kutangirira yeekaalu.+

21 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogusooka, munaakwatanga embaga ey’Okuyitako.+ Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.+ 22 Ku lunaku olwo, omwami anaategekanga ente ento ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu Isirayiri.+ 23 Mu nnaku omusanvu ez’embaga, buli lunaku anaategekanga ente ento ennume musanvu n’endiga ennume musanvu ennamu obulungi okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa,+ era buli lunaku anaategekanga embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 24 Era anaategekanga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, efa emu ku buli nte ento ennume, ne efa emu ku buli ndiga ennume, ne yini* emu ey’amafuta g’ezzeyituuni ku buli efa.

25 “‘Ne ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano, mu mwezi ogw’omusanvu, mu nnaku omusanvu ez’embaga,+ anaategekanga ekiweebwayo kye kimu olw’ekibi, ekiweebwayo kye kimu ekyokebwa, ekiweebwayo kye kimu eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ge gamu ag’ezzeyituuni.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share