Yoswa
15 Ekitundu ekyaweebwa*+ ab’empya z’omu kika kya Yuda, kyatuuka ku nsalo ya Edomu,+ ne ku ddungu lya Zini, ne ku nkomerero ya Negebu ku luuyi olw’ebukiikaddyo. 2 Ensalo yaabwe ey’ebukiikaddyo yali eva ku nkomerero y’Ennyanja ey’Omunnyo,*+ ku kyondo kyayo eky’ebukiikaddyo. 3 Yeeyongerayo ebukiikaddyo n’etuuka ku kkubo eryambuka Akulabbimu+ n’eyita e Zini, n’eva ebukiikaddyo n’eyambuka n’etuuka e Kadesi-baneya+ n’eyita e Kezulooni n’etuuka e Addali ne yeetooloola okwolekera e Kaluka. 4 Era yeeyongerayo n’etuuka e Azumoni,+ ne ku Kiwonvu* ky’e Misiri,+ n’ekoma ku Nnyanja.* Eyo ye yali ensalo yaabwe ey’ebukiikaddyo.
5 Ensalo ey’ebuvanjuba yali eva ku Nnyanja ey’Omunnyo* n’ekoma Omugga Yoludaani we guyiira mu nnyanja, ate ensalo ey’ebukiikakkono yali eva ku kyondo, Omugga Yoludaani+ we guyiira mu nnyanja. 6 Ensalo yayambuka n’etuuka e Besu-kogula+ n’eyita ebukiikakkono wa Besu-alaba,+ n’eyambuka n’etuuka ku jjinja lya Bokani+ mutabani wa Lewubeeni. 7 Ensalo yayambuka n’etuuka e Debiri ku Kiwonvu Akoli+ n’edda ebukiikakkono n’eyolekera Girugaali,+ ekiri mu maaso g’ekkubo eryambuka e Adummimu, eriri ebukiikaddyo w’Ekiwonvu,* era n’eyita ku mazzi g’e Enu-semesi,+ n’ekoma ku Eni-rogeri.+ 8 Ensalo era yayambuka n’etuuka ku Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu+ ku kaserengeto k’Abayebusi+ ku luuyi olw’ebukiikaddyo, kwe kugamba, Yerusaalemi,+ n’eyambuka waggulu ku ntikko y’olusozi oluli ebugwanjuba w’Ekiwonvu kya Kinomu, ku nkomerero y’Ekiwonvu ky’Abaleefa ku luuyi olw’ebukiikakkono. 9 Ensalo yava waggulu ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku nsulo y’amazzi ga Nefutowa,+ ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga ebiri ku Lusozi Efulooni; awo ensalo ne yeeyongerayo e Bbaala, kwe kugamba, e Kiriyasu-yalimu.+ 10 Ensalo yava e Bbaala ne yeetooloola n’eyita ebugwanjuba n’etuuka ku Lusozi Seyiri n’egenda n’etuuka ku kaserengeto k’Olusozi Yeyalimu ku luuyi olw’ebukiikakkono, kwe kugamba, e Kyesaloni, n’ekkirira e Besu-semesi+ n’etuuka e Timuna.+ 11 Ensalo yeeyongerayo ku kaserengeto k’e Ekulooni+ ku luuyi olw’ebukiikakkono, n’egenda e Sikkeroni n’etuuka ku Lusozi Bbaala ne yeeyongerayo e Yabuneeri, era n’ekoma ku nnyanja.
12 Ensalo ey’ebugwanjuba yali eyita ku Nnyanja Ennene*+ ne ku lubalama lwayo. Ezo ze zaali ensalo z’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’empya zaabwe bwe zaali.
13 Awo Yoswa n’awa Kalebu+ mutabani wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda, nga Yakuwa bwe yamulagira. Yamuwa Kebbulooni,+ kwe kugamba, Kiriyasu-aluba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki). 14 Kalebu yagobamu abaana ba Anaki+ abasatu: Sesayi, Akimaani, ne Talumaayi,+ bazzukulu ba Anaki. 15 Awo n’ava eyo, n’agenda n’alwanyisa abantu abaabeeranga mu Debiri.+ (Edda Debiri kyayitibwanga Kiriyasu-seferi.) 16 Kalebu n’agamba nti: “Omusajja anaalwanyisa Kiriyasu-seferi n’akiwamba, nja kumuwa muwala wange Akusa amuwase.” 17 Osuniyeri+ mutabani wa Kenazi,+ muganda wa Kalebu, n’akiwamba, bw’atyo Kalebu n’amuwa Akusa+ muwala we okuba mukazi we. 18 Akusa bwe yali agenda mu maka ga bba, n’agamba bba asabe kitaawe Kalebu ekibanja. Awo Akusa n’ava ku ndogoyi,* Kalebu n’amubuuza nti: “Oyagala ki?”+ 19 N’amugamba nti: “Nkusaba ompe omukisa, kubanga ompadde ekibanja mu bukiikaddyo;* nkusaba ompe ne Gulosu-mayimu.” Awo n’amuwa Gulosu ow’eky’Engulu ne Gulosu ow’eky’Emmanga.
20 Obwo bwe bwali obusika bw’ekika kya Yuda ng’empya zaabwe bwe zaali.
21 Bino bye bibuga ebyali ku nkomerero y’ekitundu kya Yuda okwolekera ensalo ya Edomu+ ku luuyi olw’ebukiikaddyo: Kabuzeeri, Ederi, Yaguli, 22 Kina, Dimona, Adada, 23 Kedesi, Kazoli, Isunani, 24 Zifu, Teremu, Beyalosi, 25 Kazoli-kadatta, Keriyosu-kezulooni, kwe kugamba, Kazoli, 26 Amamu, Seema, Molada,+ 27 Kazali-gadda, Kesumoni, Besupereti,+ 28 Kazali-suwali, Beeru-seba,+ Biziyosiya, 29 Bbaala, Yimu, Ezemu, 30 Erutoladi, Kyesiri, Koluma,+ 31 Zikulagi,+ Madumanna, Sanusanna, 32 Lebayosi, Sirukimu, Ayini, ne Limmoni+—byonna awamu ebibuga 29 n’ebyalo ebibyetoolodde.
33 Bino bye bibuga ebyali mu Sefera:+ Esutawoli, Zola,+ Asuna, 34 Zanowa, Enu-gannimu, Tappuwa, Enamu, 35 Yalamusi, Adulamu,+ Soko, Azeka,+ 36 Saalayimu,+ Adisayimu, Gedera, ne Gederosayimu*—ebibuga 14 n’ebyalo ebibyetoolodde.
37 Zenani, Kadasa, Migudali-gaadi, 38 Dirani, Mizupe, Yokuseeri, 39 Lakisi,+ Bozukasi, Eguloni, 40 Kabboni, Lamamu, Kitulisi, 41 Gederosi, Besu-dagoni, Naama, ne Makkeda+—ebibuga 16 n’ebyalo ebibyetoolodde.
42 Libuna,+ Eseri, Asani,+ 43 Ifuta, Asuna, Nezibu, 44 Keyira, Akuzibu, ne Malesa—ebibuga mwenda n’ebyalo ebibyetoolodde.
45 Ekulooni n’obubuga obukyetoolodde era n’ebyalo ebikyetoolodde; 46 okuva e Ekulooni okudda ebugwanjuba, ekitundu kyonna ekiriraanye Asudodi n’ebyalo byamu.
47 Asudodi,+ n’obubuga obukyetoolodde* era n’ebyalo ebikyetoolodde; Gaaza,+ n’obubuga obukyetoolodde era n’ebyalo ebikyetoolodde, okutuuka ku Kiwonvu* ky’e Misiri, ne ku Nnyanja Ennene* n’ekitundu ekiriraanyeewo.+
48 Bino bye bibuga ebyali mu kitundu eky’ensozi: Samiri, Yattiri,+ Soko, 49 Danna, Kiriyasusanna, kwe kugamba, Debiri, 50 Anabi, Esutemo,+ Animu, 51 Goseni,+ Koloni, ne Giro+—ebibuga 11 n’ebyalo ebibyetoolodde.
52 Alabu, Duma, Esani, 53 Yanimu, Besu-tappuwa, Afeka, 54 Kumuta, Kiriyasu-aluba, kwe kugamba, Kebbulooni,+ ne Ziyoli—ebibuga mwenda n’ebyalo ebibyetoolodde.
55 Mawoni,+ Kalumeeri, Zifu,+ Yuta, 56 Yezuleeri, Yokudeyamu, Zanowa, 57 Kayini, Gibeya, ne Timuna+—ebibuga kkumi n’ebyalo ebibyetoolodde.
58 Kalukuli, Besu-zuli, Gedoli, 59 Maalasi, Besuwanosi, ne Erutekoni—ebibuga mukaaga n’ebyalo ebibyetoolodde.
60 Kiriyasu-bbaali, kwe kugamba, Kiriyasu-yalimu,+ ne Labba—ebibuga bibiri n’ebyalo ebibyetoolodde.
61 Bino bye bibuga ebyali mu ddungu: Besuwalaba,+ Middini, Sekaka, 62 Nibusani, Ekibuga eky’Omunnyo, ne Eni-gedi+—ebibuga mukaaga n’ebyalo ebibyetoolodde.
63 Naye abasajja ba Yuda tebaasobola kugoba+ Bayebusi+ abaali babeera mu Yerusaalemi,+ era Abayebusi bakyabeera wamu n’abantu ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa leero.