Yobu
8 Awo Birudaadi+ Omusuuki+ n’addamu nti:
2 “Onootuusa wa okwogera bw’otyo?+
Ebigambo byo biringa embuyaga!
3 Katonda anaakola ekitali kya bwenkanya,
Oba Omuyinza w’Ebintu Byonna anaaleka obutuukirivu?
4 Abaana bo bwe baba nga baayonoona mu maaso ge,
Yabaleka ne babonerezebwa olw’obujeemu bwabwe;*
5 Naye singa odda eri Katonda,+
Ne weegayirira Omuyinza w’Ebintu Byonna akukwatirwe ekisa,
6 Era singa oli mulongoofu era mugolokofu,+
Yandibadde akufaako,
N’akuzza mu kifo kye walimu mu kusooka.
7 Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
Ebiseera byo eby’omu maaso byandibadde birungi nnyo.+
8 Nkusaba weebuuze ku b’emirembe egyayita,
Olowooze ku ebyo bajjajjaabwe bye baazuula.+
9 Kubanga ffe twazaaliddwa jjo, tetulina kye tumanyi,
N’ennaku ze tumala ku nsi ziringa ekisiikirize.
10 Tebaakuyigirize
Ne bakubuulira bye bamanyi?*
11 Ekitoogo kiyinza okukula ne kiwanvuwa awatali lutobazi?
N’olumuli luyinza okuwanvuwa awatali mazzi?
12 Ne bwe biba tebinnamulisa era nga tebinnatemebwa,
Bye bisooka ebimera ebirala byonna okuwotoka.
14 Oyo ateeka obwesige bwe mu bintu ebitaliimu nsa,
Era nga bye yeesiga biringa ennyumba ya nnabbubi.
15 Ajja kwesigama ku nnyumba ye, naye ejja kugwa;
Ajja kugezaako okugyekwatako, naye tejja kusigala ng’eyimiridde.
16 Alinga ekimera ekiriko amazzi ekiri mu kasana,
Amatabi ge gabuna mu nnimiro.+
17 Emirandira gye gyezingirazingira mu ntuumu y’amayinja;
Anoonya ennyumba mu mayinja.*
20 Mazima ddala, Katonda talyabulira abo abakuuma obugolokofu;*
Era taliyamba* bantu babi,
21 Kubanga akamwa ko ajja kukajjuza enseko,
N’emimwa gyo ajja kugijjuza amaloboozi ag’essanyu.
22 Abakukyawa bajja kuswala,
Ne weema z’ababi zijja kusaanawo.”