Yobu
18 Awo Birudaadi+ Omusuuki n’addamu nti:
2 “Onookoma ddi okwogera bw’otyo?
Sooka okirage nti otegeera, naffe tulyoke twogere.
4 Ne bwe weetaagulataagula olw’obusungu,
Ensi eneeyabulirwa ku lulwo,
Oba olwazi lunaava mu kifo kyalwo?
5 Mu butuufu, ettaala y’omubi ejja kuzikizibwa,
N’omuliro gwe gujja kulekera awo okwaka.+
6 Ekitangaala ky’omu weema ye kijja kufuuka kizikiza,
N’ettaala emumulisa ejja kuzikizibwa.
7 Takyatambuza maanyi,
N’amagezi ge gajja kumusuula.+
8 Ebigere bye bijja kumutwala mu kitimba,
Era ajja kutambula akigwemu.
9 Omutego gujja kumukwata ekisinziiro;
Ekyambika kijja kumunyweza.+
10 Bamuteze omuguwa mu ttaka,
Era bateze omutego mu kkubo lye.
11 Ebitiisa bimwetoolodde enjuyi zonna+
Era bimugoba bugeregere.
13 Olususu lwe luliiriddwa;
Ekirwadde eky’akabi kimulidde* emikono n’amagulu.
14 Asikambulwa mu weema ye+
N’atwalibwa eri kabaka w’entiisa.
16 Emirandira gye gijja kukalira wansi we,
N’amatabi ge gajja kuwotokera waggulu we.
17 Taliddamu kujjukirwa ku nsi,
N’erinnya lye teririmanyibwa* mu nguudo.
18 Ajja kuggibwa mu kitangaala atwalibwe mu kizikiza,
Era ajja kugobebwa mu nsi.
19 Taliba na mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
Era w’abeera* tewalisigalawo muntu n’omu.
20 Olunaku lwe bwe lunaatuuka, abantu b’Ebugwanjuba bajja kuwuniikirira,
N’abantu b’Ebuvanjuba bajja kutya.
21 Ekyo kye kituuka ku weema z’omukozi w’ebibi,
Ne ku kifo ky’oyo atamanyi Katonda.”